Isaaya
14 Yakuwa alisaasira Yakobo,+ era aliddamu okulonda Isirayiri.+ Alibateeka* mu nsi yaabwe;+ bannaggwanga balibeegattako era balyekwata ku nnyumba ya Yakobo.+ 2 Abantu b’amawanga balibaleeta mu kifo kyabwe, era ennyumba ya Isirayiri eribafuula baddu na bazaana+ mu nsi ya Yakuwa. Baliwamba abo abaali baabawamba, era balifuga abo abaabakakanga okukola emirimu.*
3 Ku lunaku Yakuwa lw’alikuggyako obulumi n’okweraliikirira okw’amaanyi n’emirimu egy’obuddu gye baakuwalirizanga okukola,+ 4 olyogera olugero luno ku* kabaka wa Babulooni:
“Oyo eyakakanga abalala okukola emirimu naye atuuse ku nkomerero ye!
Okunyigirizibwa kukomye!+
5 Yakuwa amenye omuggo gw’ababi,
Oluga lw’abafuzi,+
6 Ogwakubanga amawanga olutata n’obusungu obungi,+
Ogwafuganga amawanga n’obusungu nga gugayigganya olutatadde.+
7 Ensi yonna kaakano ewummudde, tewali kigitawaanya.
Abantu boogerera waggulu olw’essanyu.+
8 N’emiti gy’emiberosi gisanyuka olw’ekyo ekyakutuukako,
Era n’emiti gy’entolokyo egy’omu Lebanooni.
Gigamba nti, ‘Okuva lwe wagwa,
Tewali yali azze kututema.’
9 N’amagombe* gye gali wansi eyo gagolokose
Okukusisinkana ng’ozze.
Ku lulwo gazuukusa abaafa,
Abafuzi* b’ensi bonna abaabonyaabonyanga abalala.
Galeetera bakabaka bonna ab’amawanga okuyimuka ku nnamulondo zaabwe.
10 Bonna boogera era bakugamba nti,
‘Naawe ofuuse munafu nga ffe?
Naawe ofuuse nga ffe?
Envunyu ze ziringa obuliri bwo,
Era ensiriŋŋanyi ze weebisse.’
12 Ogudde okuva mu ggulu,
Ggwe ayakaayakana, ggwe omwana w’emmambya!
Otemeddwa n’osuulibwa ku nsi,
Ggwe eyafufuggaza amawanga!+
13 Wayogera mu mutima gwo nti, ‘Ndirinnya mu ggulu.+
Ndiwanika entebe yange ey’obwakabaka waggulu+ w’emmunyeenye za Katonda,
Ndituula ku lusozi olukuŋŋaanirwako,
Mu bitundu eby’ebukiikakkono ebisingayo okuba ewala.+
14 Ndirinnya ne ŋŋenda waggulu w’ebire;
Ndyefaanaanyiriza ng’oyo Asingayo Okuba Waggulu.’
15 Naye olissibwa wansi emagombe,*
Mu bitundu by’ekinnya ebisingayo okuba ebya wansi.
16 Abo abalikulaba balikwekaliriza;
Balikwekenneenya ne bagamba nti,
‘Ono ye musajja eyayuuguumyanga ensi,
Eyakankanyanga obwakabaka,+
17 Eyafuula ensi okuba ng’eddungu
N’asaanyaawo ebibuga byayo,+
Era eyagaananga abasibe be okudda ewaabwe?’+
19 Naye ggwe osuuliddwa eri n’otoziikibwa mu ntaana,
Okufaananako omutunsi* ogutaagalibwa,
Oyambaziddwa abafu abattibwa n’ekitala,
Abagenda wansi mu kinnya ekijjudde amayinja,
Olinga omutulumbi ogulinnyiriddwa.
20 Tolibeegattako mu ntaana,
Kubanga wazikiriza ensi yo,
Watta abantu bo.
Amannya g’ezzadde ly’abakozi b’ebibi tegaliddamu kwogerwako.
21 Muteeketeeke aw’okuttira abaana be
Olw’ebibi bya bajjajjaabwe,
Baleme okugolokoka batwale ensi
Bagijjuze ebibuga byabwe.”
22 “Ndibalwanyisa,”+ Yakuwa ow’eggye bw’agamba.
“Ndiggirawo ddala mu Babulooni erinnya, n’abaliba basigaddewo, n’abazzukulu, n’abo abaliddawo,”+ Yakuwa bw’agamba.
23 “Ndikifuula kifo kya nnamunnungu era olutobazzi, era ndikyera n’olweyo lw’okuzikiriza,”+ Yakuwa ow’eggye bw’agamba.
24 Yakuwa ow’eggye alayidde nti:
“Nga bwe nnateekateeka, bwe kityo bwe kiriba,
Era nga bwe nnasalawo, bwe kityo bwe kirituukirira.
25 Ndimenyeramenyera Omwasuli mu nsi yange,
Era ndimulinnyirira ku nsozi zange.+
Ekikoligo kye kiriggibwa ku bantu bange,
N’omugugu gwe guliggibwa ku bibegaabega byabwe.”+
26 Kino kye kisaliddwawo okuba nti kituuka ku nsi yonna,
Era guno gwe mukono ogugoloddwa eri* amawanga gonna.
27 Kubanga Yakuwa ow’eggye asazeewo,
Ani ayinza okukiremesa?+
Omukono gwe gugoloddwa,
Ani ayinza okuguzzaayo?+
28 Mu mwaka Kabaka Akazi gwe yafiiramu,+ Katonda yaweereza obubaka buno:
29 “Tosanyuka ggwe Bufirisuuti, tewaba n’omu ku mmwe asanyuka,
Olw’okuba omuggo gw’oyo abakuba gumenyese.
Kubanga mu kikolo ky’omusota+ mulivaamu omusota ogw’obusagwa,+
Era ezzadde lyagwo liribeera omusota ogubuuka ogw’omuliro.*
30 Omwana omubereberye ow’omunaku bw’aliba alya,
Nga n’omwavu agalamidde mu mirembe,
Ndireetera ekikolo kyo enjala ne kifa,
N’abalisigalawo mu ggwe balittibwa.+
31 Kuba ebiwoobe, ggwe omulyango! Leekaana, ggwe ekibuga!
Wenna oliggwaamu amaanyi, ggwe Bufirisuuti!
Kubanga omukka guva ebukiikakkono,
Era tewali n’omu mu magye g’omulabe asoonooka.”
32 Ababaka b’eggwanga babaanukule batya?
Nti Yakuwa ataddewo omusingi gwa Sayuuni,+
Era nti abanaku ab’omu bantu be baliddukira mu kyo.