Lukka
23 Awo ekibiina ky’abantu kyonna ne kisituka ne kimutwala ewa Piraato.+ 2 Ne bamulumiriza+ nga bagamba nti: “Omusajja ono twamusanga ng’ajeemesa eggwanga lyaffe, ng’agaana abantu okuwa Kayisaali omusolo,+ era ng’agamba nti ye kennyini ye Kristo kabaka.”+ 3 Piraato n’amubuuza nti: “Ggwe Kabaka w’Abayudaaya?” N’addamu nti: “Ggwe kennyini okyogedde.”+ 4 Awo Piraato n’agamba bakabona abakulu n’ekibiina ky’abantu nti: “Siraba musango muntu ono gw’azzizza.”+ 5 Naye ne bakalambira nga bagamba nti: “Ajagalaza abantu olw’ebyo by’ayigiriza mu Buyudaaya yonna; yatandikira Ggaliraaya n’atuuka wano.” 6 Piraato bwe yawulira ebyo n’abuuza obanga Yesu yali Mugaliraaya. 7 Bwe yamala okukitegeera nti yali wa mu kitundu Kerode ky’atwala,+ n’amusindika eri Kerode, era nga naye yali mu Yerusaalemi mu kiseera ekyo.
8 Kerode bwe yalaba Yesu n’asanyuka nnyo. Yali amaze ekiseera kiwanvu ng’ayagala okumulaba olw’okuba yali alina bingi bye yali amuwuliddeko,+ era yali asuubira okulaba ebimu ku byamagero by’akola. 9 Bw’atyo n’amubuuza ebibuuzo bingi, naye n’atamuddamu.+ 10 Naye bakabona abakulu n’abawandiisi ne bayimuka enfunda n’enfunda ne bamulumiriza nga basunguwavu nnyo. 11 Awo Kerode wamu n’abasirikale be ne bamuweebuula;+ n’amwambaza ekyambalo ekimasamasa ng’amukudaalira,+ era n’amuzzaayo ewa Piraato. 12 Kerode ne Piraato ne bafuuka ba mukwano ku lunaku olwo, kubanga ng’ebyo tebinnabaawo buli omu yali mulabe wa munne.
13 Awo Piraato n’ayita bakabona abakulu n’abafuzi, era n’abantu, 14 n’abagamba nti: “Mwaleese omusajja ono gye ndi nga mugamba nti ajeemesa abantu. Naye laba! mmuwozesezza mu maaso gammwe naye tewali na kimu ku ebyo bye mumulumiriza kye nzudde nga kituufu.+ 15 Mu butuufu ne Kerode naye talina ky’azudde, kubanga amukomezzaawo gye tuli. Talina kye yakola kimugwanyiza kufa. 16 N’olwekyo, ŋŋenda kumubonereza,+ n’oluvannyuma mmute.” 17 *— 18 Naye ekibiina kyonna ne kyogerera waggulu nti: “Omusajja ono mutte* otuteere Balabba!”+ 19 (Balabba yali asibiddwa mu kkomera olw’okuleetera abantu okujeemera gavumenti mu kibuga, n’olw’obutemu.) 20 Piraato n’addamu n’ayogera gye bali kubanga yali ayagala kuta Yesu.+ 21 Ne batandika okuleekaana nga bagamba nti: “Mukomerere ku muti! Mukomerere ku muti!”*+ 22 N’abagamba omulundi ogw’okusatu nti: “Lwaki? Kibi ki omusajja ono kye yakola? Nze sirina kye nzudde kimugwanyiza kufa; n’olwekyo nja kumubonereza mmute.” 23 Ne beeyongera okuleekaana ennyo nga bagamba nti akomererwe. Baaleekaana nnyo,+ 24 bw’atyo Piraato n’akkiriza kye baasaba. 25 Yata omusajja gwe baali bamugamba okuta, eyali asibiddwa mu kkomera olw’okukuma omuliro mu bantu okujeemera gavumenti n’olw’obutemu, naye n’awaayo Yesu attibwe nga bwe baali baagala.
26 Bwe baali bamutwala ne bakwata Simooni ow’e Kuleene eyali ava mu kyalo, ne bamussaako omuti ogw’okubonaabona* agwetikke ng’avaako Yesu emabega.+ 27 Abantu bangi ne bamugoberera nga mulimu n’abakazi abaali bamukaabira era nga bwe baaziirana. 28 Yesu n’akyuka n’agamba abakazi nti: “Abawala ba Yerusaalemi, mulekere awo okunkaabira. Mwekaabire era mukaabire n’abaana bammwe;+ 29 kubanga laba! ekiseera kijja abantu lwe baligamba nti, ‘Balina essanyu abakazi abagumba, n’abo abatazaalangako era n’abo abatayonsangako!’+ 30 Baligamba ensozi nti, ‘Mutugweko!’ n’obusozi nti, ‘Mutubuutikire!’+ 31 Kubanga we bakoledde ebintu bino ng’omuti mubisi, kiriba kitya nga gukaze?”
32 Waaliwo abasajja abalala babiri abamenyi b’amateeka abaali batwalibwa okuttibwa awamu naye.+ 33 Bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa Ekiwanga+ ne bamukomerera wamu nabo, omu ku mukono gwe ogwa ddyo ate omulala ku gwa kkono.+ 34 Naye Yesu n’agamba nti: “Kitange, basonyiwe kubanga tebamanyi kye bakola.” Ate era baakuba akalulu okugabana ebyambalo bye.+ 35 Awo abantu ne bayimirira awo ne batunula. Naye abafuzi ne bamukudaalira nga bagamba nti: “Yalokolanga abalala; naye ka yeerokole bw’aba nga ye Kristo wa Katonda, Omulonde.”+ 36 Abasirikale nabo ne bamukudaalira, ne bajja ne bamuwa envinnyo enkaatuufu,+ 37 era ne bagamba nti: “Bw’oba nga gwe Kabaka w’Abayudaaya, weerokole.” 38 Waggulu waaliwo akapande okwali kuwandiikiddwa nti: “Ono ye Kabaka w’Abayudaaya.”+
39 Awo omu ku bamenyi b’amateeka abaali bawanikiddwa n’atandika okumukudaalira+ ng’agamba nti: “Si ggwe Kristo? Weerokole naffe otulokole.” 40 Naye oli omulala n’amunenya ng’agamba nti: “Totya Katonda n’akatono ng’ate naawe oli ku kibonerezo kye kimu? 41 Ffe ekibonerezo ekituweereddwa kitugwanira kubanga tufunye ekyo ekigwana bye twakola; naye omusajja ono talina kye yakola.” 42 Awo n’agamba nti: “Yesu, onzijukiranga ng’otuuse mu Bwakabaka bwo.”+ 43 N’amuddamu nti: “Mazima nkugamba leero nti, oliba nange mu Lusuku lwa Katonda.”+
44 Awo essaawa zaali nga mukaaga,* kyokka ekizikiza ne kikwata ku nsi eyo yonna okutuusa ku ssaawa mwenda,*+ 45 kubanga enjuba yalekera awo okwaka, era olutimbe lw’omu yeekaalu+ ne luyulikamu wakati.+ 46 Yesu n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti: “Kitange, nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo.”+ Bwe yamala okwogera bw’atyo, n’afa.*+ 47 Omukulu w’ekibinja ky’abasirikale bwe yalaba ebyali bibaddewo, n’agulumiza Katonda ng’agamba nti: “Mazima ddala omusajja ono abadde mutuukirivu.”+ 48 Era abantu bonna abaali bakuŋŋaanye okwerolera, bwe baalaba ebyali bibaddewo ne baddayo ewaabwe nga bakuba mu bifuba olw’ennaku. 49 Abo bonna abaali bamumanyi baali bayimiridde walako, era n’abakazi abaali bamugoberedde okuva e Ggaliraaya nabo baali awo nga balaba ebigenda mu maaso.+
50 Waaliwo omusajja ayitibwa Yusufu, eyali omukiise mu Lukiiko Olukulu; yali musajja mulungi era nga mutuukirivu.+ 51 (Omusajja oyo teyakkiriziganya ne banne mu lukwe lwabwe ne mu ekyo kye baakola.) Yali wa mu kibuga ky’Abayudaaya eky’e Alimasaya, era yali alindirira Obwakabaka bwa Katonda. 52 Omusajja oyo yagenda ewa Piraato n’amusaba omulambo gwa Yesu. 53 Yaguwanulayo ku muti,+ n’aguzinga mu lugoye olwa kitaani, n’aguteeka mu ntaana eyasimibwa mu lwazi,+ eyali teteekebwangamu muntu yenna. 54 Lwali lunaku lwa Kuteekateeka,+ era Ssabbiiti+ yali eneetera okutandika. 55 Naye abakazi abaali bavudde naye e Ggaliraaya baagenda ne balaba entaana n’engeri omulambo gye gwagalamizibwamu,+ 56 era ne baddayo ne bateekateeka eby’akaloosa n’amafuta agawunya obulungi. Naye ku Ssabbiiti ne bawummula+ ng’etteeka bwe lyali liragira.