Ebikolwa
1 Munnange Tewofiro, mu kitabo ekyasooka nnawandiika ebintu byonna Yesu bye yakolanga ne bye yayigirizanga+ 2 okutuusa ku lunaku lwe yatwalibwa mu ggulu.+ Nga tannatwalibwa, yawa abatume be yalonda+ ebiragiro ng’ayitira mu mwoyo omutukuvu. 3 Oluvannyuma lw’okubonaabona yeeraga gye bali mu ngeri nnyingi ezaabakakasa nti mulamu.+ Baamulaba okumala ennaku 40, era yayogeranga ku Bwakabaka bwa Katonda.+ 4 Bwe yali abasisinkanye yabalagira nti: “Temuva mu Yerusaalemi,+ naye mulindirire ekyo Kitange ky’asuubizza,+ kye nnabagambako; 5 Yokaana yabatiza na mazzi, naye mmwe mujja kubatizibwa n’omwoyo omutukuvu+ mu nnaku ntono oluvannyuma lwa bino.”
6 Bwe baali bakuŋŋaanye, ne bamubuuza nti: “Mukama waffe, ogenda kuzzaawo obwakabaka bwa Isirayiri mu kiseera kino?”+ 7 N’abagamba nti: “Si kwammwe okumanya ebiseera oba ebiro Kitange by’atadde mu buyinza bwe.+ 8 Naye mujja kufuna amaanyi, omwoyo omutukuvu bwe gunaabakkako,+ era mujja kuba bajulirwa bange+ mu Yerusaalemi,+ mu Buyudaaya mwonna, mu Samaliya,+ n’okutuuka mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba eby’ewala.”*+ 9 Bwe yamala okwogera ebintu ebyo, n’atwalibwa waggulu nga balaba, era ekire ne kimubikka ne baba nga tebakyasobola kumulaba.+ 10 Bwe baali nga bakyatunudde waggulu ng’agenda, abasajja babiri abaali bambadde engoye enjeru+ ne bayimirira we baali, 11 ne babagamba nti: “Abasajja b’e Ggaliraaya, lwaki muyimiridde nga mutunudde waggulu? Yesu ono abaggiddwako n’atwalibwa waggulu alidda mu ngeri y’emu nga bwe mumulabye ng’agenda waggulu.”
12 Awo ne bava ku Lusozi olw’Emizeyituuni oluli okumpi n’e Yerusaalemi, ne baddayo e Yerusaalemi,+ era waaliwo ebbanga nga lya kitundu kya mayiro. 13 Bwe baatuuka, ne bayingira mu kisenge ekya waggulu gye baali babeera. Kwaliko Peetero, Yokaana, Yakobo, Andereya, Firipo, Tomasi, Battolomaayo, Matayo, Yakobo mutabani wa Alufaayo, Simooni omunyiikivu, ne Yuda mutabani wa Yakobo.+ 14 Nga balina ekigendererwa kimu, bonna baanyiikirira okusaba nga bali wamu n’abakazi abamu,+ ne Maliyamu maama wa Yesu, ne baganda ba Yesu.+
15 Mu nnaku ezo, Peetero yayimirira wakati mu b’oluganda (bonna awamu* baali nga 120) n’agamba nti: 16 “Ab’oluganda, kyali kyetaagisa ekyawandiikibwa okutuukirizibwa, omwoyo omutukuvu kye gwayogera edda okuyitira mu Dawudi ku bikwata ku Yuda+ eyakulemberamu abo abaakwata Yesu.+ 17 Yali omu ku ffe+ era yaweererezanga wamu naffe. 18 (Empeera etali ya butuukirivu,+ omusajja oyo yagigulamu ekibanja, era n’agwa omwo ng’asoosaawo mutwe, n’ayabikamu,* ebyenda bye byonna ne biyiika.+ 19 Kino kyamanyibwa abatuuze b’omu Yerusaalemi bonna, era ekibanja ekyo ne bakituuma Akerudama mu lulimi lwabwe, ekitegeeza, “Ekibanja ky’Omusaayi.”) 20 Kubanga kyawandiikibwa mu kitabo kya Zabbuli nti, ‘Ennyumba ye k’efuuke kifulukwa, era ka waleme kubaawo agibeeramu,’+ era ‘Omulimu gwe ogw’obulabirizi omulala k’agutwale.’+ 21 N’olwekyo, kyetaagisa omu ku basajja abaabanga awamu naffe mu kiseera kyonna Mukama waffe Yesu kye yamala ng’akola emirimu gye* mu ffe, adde mu kifo kye. 22 Omusajja oyo ateekwa okuba nga yali naffe okuva Yesu lwe yabatizibwa Yokaana+ okutuusa ku lunaku lwe yatuggibwako.+ Asaanidde okuba nga mujulirwa ow’okuzuukira kwe awamu naffe.”+
23 Awo ne basimbawo abantu babiri, Yusufu ayitibwa Balusabba era eyatuumibwa Yusito, ne Matiya. 24 Awo ne basaba nga bagamba nti: “Ai Yakuwa,* ggwe amanyi emitima gya bonna,+ tulage ku bano ababiri gw’olonze 25 okutwala obuweereza n’omulimu gw’obutume Yuda bye yaleka n’akwata ekkubo lye.”+ 26 Ne bakuba akalulu,+ akalulu ne kagwa ku Matiya, era n’abalirwa wamu n’abatume ekkumi n’omu.