2 Samwiri
22 Dawudi yayimbira Yakuwa oluyimba luno+ ku lunaku Yakuwa lwe yamununula mu mukono gw’abalabe be bonna+ ne mu mukono gwa Sawulo.+ 2 Yagamba nti:
“Yakuwa lwe lwazi lwange era kye kigo kyange;+ y’annunula.+
3 Katonda wange lwe lwazi lwange+ mwe nzirukira,
Ye ngabo yange+ era lye jjembe* lyange ery’obulokozi;* kye kiddukiro kyange,+
Kye kifo mwe nzirukira,+ era ye mulokozi wange;+ ggwe omponya ebikolwa eby’obukambwe.
4 Nkoowoola Yakuwa, oyo agwanidde okutenderezebwa,
Era nja kununulibwa mu mukono gw’abalabe bange.
7 Mu nnaku yange nnakoowoola Yakuwa,+
Nnakoowoola Katonda wange.
Yawulira eddoboozi lyange ng’ali mu yeekaalu ye,
Era amatu ge gaawulira okuwanjaga kwange.+
8 Ensi yatandika okukankana n’okuyuuguuma;+
Emisingi gy’eggulu gyakankana;+
Gyakankana kubanga yali asunguwadde.+
11 Yeebagala kerubi+ n’ajja ng’abuuka mu bbanga.
Yalabibwa ng’ali ku biwaawaatiro by’ekitonde eky’omwoyo.*+
12 Awo ne yeebikka ekizikiza,+
Era yali yeetooloddwa ebire ebikutte era ebijjudde amazzi.
13 Mu kwakaayakana okwali mu maaso ge mwali muvaamu amanda agaaka ennyo.
16 Entobo z’ennyanja zaalabika;+
Emisingi gy’ensi gyeyerula olw’okuboggola kwa Yakuwa,
Olw’okubwatuka kw’omukka ogw’omu nnyindo ze.+
17 Yayima waggulu n’agolola omukono gwe,
N’ankwata n’anzigya mu mazzi amawanvu.+
18 Yannunula mu mukono gw’omulabe wange ow’amaanyi,+
Yannunula mu mukono gw’abo abatanjagala era abaali bansinga amaanyi.
19 Bannumba ku lunaku lwe nnali mu buzibu,+
Naye Yakuwa yannyamba.
22 Kubanga ntambulidde mu makubo ga Yakuwa,
Era ekibi eky’okuva ku Katonda wange sikikoze.
26 Eri omwesigwa naawe oba mwesigwa;+
Eri oyo ataliiko kya kunenyezebwa, ow’amaanyi, naawe olaga nti toliiko kya kunenyezebwa;+
27 Eri omulongoofu olaga nti oli mulongoofu,+
Naye eri atali mugolokofu olaga nti oli mugezi nnyo.+
30 Bw’onnyamba nsobola okulwanyisa ekibinja ky’abazigu;
Olw’amaanyi ga Katonda nsobola okulinnya bbugwe.+
Ngabo eri abo bonna abamufuula ekiddukiro kyabwe.+
32 Ani Katonda okuggyako Yakuwa?+
Era ani lwazi okuggyako Katonda waffe?+
33 Katonda ow’amazima kye kigo kyange ekinywevu,+
Era ajja kutereereza ddala ekkubo lyange,+
34 Ebigere byange abifuula ng’eby’empeewo;
Ansobozesa okuyimirira ku bifo ebigulumivu.+
35 Ayigiriza emikono gyange okulwana entalo;
Emikono gyange gisobola okuweta omutego ogw’ekikomo.
38 Nja kuwondera abalabe bange mbasaanyeewo;
Sijja kudda okutuusa nga basaanyeewo.
39 Nja kubazikiriza mbabetente baleme okusituka;+
Bajja kugwa mbalinnyeko.
42 Bawanjaga, naye tewali abataasa;
Bakaabirira ne Yakuwa, naye tabaddamu.+
43 Nja kubasekulasekula bafuuke ng’enfuufu y’ensi;
Nja kubabetenta mbalinnyirire ng’ebisooto eby’omu nguudo.
44 Ojja kumponya okwemulugunya kw’abantu bange.+
45 Abagwira bajja kujja gye ndi nga bakankana;+
Bye banaawulira ebinkwatako bijja kubaleetera okuŋŋondera.
46 Abagwira bajja kuggwaamu amaanyi;*
Bajja kuva mu bigo byabwe bajje nga bakankana.
47 Yakuwa mulamu! Olwazi lwange+ lutenderezebwe!
Katonda wange, olwazi olundokola, agulumizibwe.+
48 Katonda ow’amazima awoolera eggwanga ku lwange;+
Assa amawanga wansi w’obuyinza bwange;+
49 Annunula mu mukono gw’abalabe bange.