Engero
3 Mwana wange teweerabiranga bye nkuyigiriza,*
Era omutima gwo gukwatenga ebiragiro byange,
2 Olyoke owangaale emyaka mingi,
Era obe n’emirembe.+
3 Obwesigwa* n’okwagala okutajjulukuka tobiganyanga kukuvaako.+
Bisibe mu bulago bwo;
Biwandiike ku mutima gwo;+
4 Olwo lw’ojja okusiimibwa era omanyibwe ng’omuntu omutegeevu
Mu maaso ga Katonda n’abantu.+
7 Teweetwalanga kuba wa magezi.+
Tya Yakuwa oleke ebibi.
8 Ekyo kijja kuwonya omubiri gwo*
Era kijja kuweweeza amagumba go.
9 Ossangamu Yakuwa ekitiibwa n’omuwa ku bintu byo eby’omuwendo,+
N’ebibala ebibereberye* eby’amakungula go gonna;+
10 Olwo amaterekero go lwe ganajjula,+
Era n’amatogero* go lwe ganajjula ne gabooga omwenge omusu.
11 Mwana wange, togaananga kukangavvula kwa Yakuwa,+
Era teweetamwanga by’akugamba ng’akunenya,+
12 Kubanga abo Yakuwa b’ayagala abanenya,+
Nga taata bw’anenya omwana amusanyusa.+
13 Alina essanyu oyo afuna amagezi,+
N’oyo afuna okutegeera;
14 Okufuna amagezi kisinga okufuna ffeeza,
Okuba nago kisinga okuba ne zzaabu.+
15 Ga muwendo okusinga amayinja ag’omuwendo ag’omu nnyanja;*
Tewali kintu ky’oyinza kwegomba ekiyinza okugenkana.
16 Mu mukono gwago ogwa ddyo mulimu okuwangaala;
Ne mu mukono gwago ogwa kkono mulimu obugagga n’ekitiibwa.
17 Amakubo gaago malungi,
Era empenda zaago zonna za mirembe.+
18 Amagezi muti gwa bulamu eri abo abagafuna,
Era abo abaganywererako bajja kuyitibwa basanyufu.+
19 Emisingi gy’ensi Yakuwa yagisimbisa magezi.+
Eggulu yalinyweza na kutegeera.+
20 Olw’okumanya kw’alina yayawulamu amazzi,
Era ebire byatonnya enkuba.+
21 Mwana wange, ebyo* tobiggyangako maaso.
Amagezi n’obusobozi bw’okulowooza obulungi tobiganyanga kukuvaako;
22 Bijja kukuwa obulamu
Era bijja kuba ng’omukuufu omulungi mu bulago bwo;
23 Olwo ojja kutambulira mu kkubo lyo mirembe,
28 Togambanga munno nti, “Genda; ojja kukomawo edda. Nja kukikuwa enkya,”
Ng’ate osobola okukimuweerawo.
29 Tokolanga lukwe okutuusa akabi ku munno+
Ng’ate akwesiga.
31 Omuntu akola eby’obukambwe tomukwatirwanga nsaalwa,+
Era tokolanga ebyo by’akola,
32 Kubanga Yakuwa akyayira ddala omuntu omukuusa,+
Naye abagolokofu abafuula mikwano gye egy’oku lusegere.+
35 Ab’amagezi bajja kufuna ekitiibwa,
Naye abasirusiru beenyumiririza mu ebyo ebimalamu ekitiibwa.+