Eby’Abaleevi
18 Yakuwa era n’ayogera ne Musa n’amugamba nti: 2 “Yogera n’Abayisirayiri obagambe nti, ‘Nze Yakuwa Katonda wammwe.+ 3 Temweyisanga ng’abantu bwe beeyisa mu nsi ya Misiri gye mwabeerangamu, era temukolanga ebyo ebikolebwa mu nsi ya Kanani gye mbatwalamu;+ era temutambuliranga mu mateeka gaabwe. 4 Mugobererenga ebiragiro byange era mukwatenga amateeka gange era mugatambulirengamu.+ Nze Yakuwa Katonda wammwe. 5 Mukwatenga amateeka gange n’ebiragiro byange; omuntu yenna anaabikwatanga anaabanga mulamu olw’ebyo.+ Nze Yakuwa.
6 “‘Tewabanga n’omu ku mmwe asemberera oyo gw’alinako oluganda olw’okumpi okwegatta naye.*+ Nze Yakuwa. 7 Teweegattanga na kitaawo era teweegattanga na nnyoko. Oyo maama wo; teweegattanga naye.
8 “‘Teweegattanga na muka kitaawo.+ Ekyo kiweebuula kitaawo.*
9 “‘Teweegattanga na mwannyoko, k’abe muwala wa kitaawo oba muwala wa nnyoko, k’abe nga yazaalibwa mu maka ge gamu naawe oba nedda.+
10 “‘Teweegattanga na muwala wa mutabani wo oba na muwala wa muwala wo, kubanga ekyo kikuweebuula.
11 “‘Teweegattanga na muwala wa muka kitaawo, kitaawo gw’azaala, kubanga oyo mwannyoko.
12 “‘Teweegattanga na ssenga wo. Alina oluganda olw’omusaayi ku kitaawo.+
13 “‘Teweegattanga na muganda wa maama wo, kubanga alina oluganda olw’omusaayi ku maama wo.
14 “‘Toweebuulanga muganda wa kitaawo* nga weegatta ne mukazi we. Oyo maama wo omuto.+
15 “‘Teweegattanga na muka mwana wo.+ Oyo muka mutabani wo, era teweegattanga naye.
16 “‘Teweegattanga na muka muganda wo,+ kubanga ekyo kiweebuula muganda wo.*
17 “‘Teweegattanga na mukazi era ne muwala we.+ Totwalanga muwala wa mutabani we ne muwala wa muwala we ne weegatta nabo. Omukazi oyo abalinako oluganda olw’okumpi; ekyo kikolwa kya bugwenyufu.*
18 “‘Towasanga muganda wa mukazi wo kumufuula muggya we,+ ne weegatta naye nga muganda we akyali mulamu.
19 “‘Tosembereranga omukazi okwegatta naye ng’ali mu nsonga kubanga taba mulongoofu.+
20 “‘Teweegattanga na muka munno* n’ofuuka atali mulongoofu.+
21 “‘Towangayo mwana wo yenna eri Moleki.+ Tovvoolanga linnya lya Katonda wo mu ngeri eyo.+ Nze Yakuwa.
22 “‘Teweegattanga na musajja munno nga bwe weegatta n’omukazi.+ Ekyo kikolwa kya muzizo.
23 “‘Omusajja teyeegattanga na nsolo n’afuuka atali mulongoofu olw’ekikolwa ekyo. Era n’omukazi teyeegattanga na nsolo.+ Ekyo si kya buzaaliranwa.
24 “‘Temufuukanga batali balongoofu olw’okukola ekimu ku bintu ebyo, kubanga amawanga ge ngoba mu maaso gammwe gafuuse agatali malongoofu olw’okukola ebintu ebyo byonna.+ 25 N’olwekyo, ensi efuuse etali nnongoofu, era nja kugibonereza olw’ensobi zaayo, era ejja kusesema abo abagibeeramu.+ 26 Naye mmwe mukwatenga amateeka gange n’ebiragiro byange,+ era temukolanga kintu na kimu ku by’omuzizo ebyo byonna, k’abe Omuyisirayiri oba omugwira abeera mu mmwe.+ 27 Abantu abaabasooka okubeera mu nsi eyo baakolanga ebintu ebyo byonna eby’omuzizo,+ era kaakano ensi si nnongoofu. 28 Naye bwe munaakwata amateeka gange n’ebiragiro byange, ensi tejja kubasesema olw’okugyonoona nga bw’egenda okusesema amawanga agaabasooka okugibeeramu. 29 Omuntu yenna anaakolanga ekimu ku by’omuzizo ebyo, abantu abo bonna ababikola banattibwanga. 30 Mukwatenga ebiragiro byange muleme okukola ekintu kyonna eky’omuzizo ekyakolebwanga abo abaabasooka,+ muleme kufuuka abatali balongoofu olw’ebintu ebyo. Nze Yakuwa Katonda wammwe.’”