Yoswa
24 Awo Yoswa n’akuŋŋaanyiza ebika byonna ebya Isirayiri e Sekemu era n’ayita abakadde b’Abayisirayiri, n’abaali babakulira, n’abalamuzi, n’abaami baabwe,+ ne bayimirira mu maaso ga Katonda ow’amazima. 2 Yoswa n’agamba abantu bonna nti: “Bw’ati Yakuwa Katonda wa Isirayiri bw’agamba, ‘Edda ennyo bajjajjammwe+ baabeeranga+ mitala w’Omugga*—Teera, kitaawe wa Ibulayimu era kitaawe wa Nakoli—era baaweerezanga bakatonda abalala.+
3 “‘Oluvannyuma lw’ekiseera, nnaggya Ibulayimu jjajjammwe+ emitala w’Omugga* ne mmutambuza mu nsi ya Kanani yonna, n’enjaza ezzadde lye.+ Nnamuwa Isaaka,+ 4 Isaaka ne mmuwa Yakobo ne Esawu.+ Oluvannyuma Esawu nnamuwa Olusozi Seyiri okuba obusika bwe;+ era Yakobo n’abaana be baaserengeta e Misiri.+ 5 Nga wayiseewo ekiseera, nnatuma Musa ne Alooni+ ne ndeetera Misiri ebibonyoobonyo+ era ne mbaggyayo. 6 Bwe nnali nzigya bakitammwe e Misiri+ ne batuuka ku nnyanja, Abamisiri baabawondera n’amagaali ag’olutalo n’abeebagadde embalaasi okutuukira ddala ku Nnyanja Emmyufu.+ 7 Bankoowoola nze Yakuwa,+ era ne nteekawo ekizikiza wakati waabwe n’Abamisiri era ne ndeetera ennyanja okubuutikira+ Abamisiri; amaaso gammwe gaalaba kye nnakola e Misiri.+ Oluvannyuma mwabeera mu ddungu okumala emyaka* mingi.+
8 “‘Ate era nnabaleeta mu nsi y’Abaamoli abaabeeranga emitala wa Yoludaani,* ne babalwanyisa.+ Naye nnabawaayo mu mukono gwammwe, musobole okutwala ensi yaabwe, era nnabasaanyaawo mu maaso gammwe.+ 9 Kabaka wa Mowaabu, Balaki mutabani wa Zipoli, yayimuka n’alwanyisa Isirayiri. Yatumya Balamu mutabani wa Byoli abakolimire.+ 10 Naye saayagala kuwuliriza Balamu.+ Bw’atyo yabawa omukisa enfunda n’enfunda,+ era nnabanunula mu mukono gwe.+
11 “‘Oluvannyuma mwasomoka Yoludaani+ ne mutuuka e Yeriko.+ Abakulembeze*+ b’omu Yeriko, Abaamoli, Abaperizi, Abakanani, Abakiiti, Abagirugaasi, Abakiivi, n’Abayebusi, baabalwanyisa, naye nnabawaayo mu mukono gwammwe. 12 Nnasindika entiisa n’ebakulemberamu, n’ebagoba mu maaso gammwe+—nga bwe kyali ku bakabaka babiri ab’Abaamoli. Ekyo tekyabaawo lwa kitala kyammwe oba lwa mutego gwammwe.+ 13 Bwe ntyo ne mbawa ensi gye mutaateganira n’ebibuga bye mutaazimba,+ ne mubibeeramu. Mulya ku mizabbibu ne ku mizeyituuni gye mutaasimba.’+
14 “N’olwekyo mutye Yakuwa era mumuweerezenga mu bugolokofu* n’obwesigwa,*+ era muggyeewo bakatonda bajjajjammwe be baaweerezanga emitala w’Omugga* ne mu Misiri,+ muweerezenga Yakuwa. 15 Bwe kiba nga kibi mu maaso gammwe okuweereza Yakuwa, mweronderewo leero gwe munaaweerezanga,+ oba bakatonda bajjajjammwe be baaweerezanga emitala w’Omugga*+ oba bakatonda b’Abaamoli ab’omu nsi gye mulimu.+ Naye nze n’ab’omu nnyumba yange tunaaweerezanga Yakuwa.”
16 Awo abantu ne baddamu nti: “Kikafuuwe ffe okuva ku Yakuwa ne tuweereza bakatonda abalala. 17 Kubanga Yakuwa Katonda waffe ye yatuggya ffe ne bakitaffe mu nsi ya Misiri,+ mu nnyumba y’obuddu,+ era ye yakola ebyamagero ebyo eby’amaanyi mu maaso gaffe+ n’atukuuma mu kkubo lyonna lye twayitamu ne mu mawanga gonna ge twayitangamu.+ 18 Yakuwa yagoba amawanga gonna mu maaso gaffe, nga mw’otwalidde n’Abaamoli abaabeeranga mu nsi eno. N’olwekyo, naffe tunaaweerezanga Yakuwa, kubanga ye Katonda waffe.”
19 Awo Yoswa n’agamba abantu nti: “Ddala munaasobola okweyongera okuweereza Yakuwa? Kubanga ye Katonda omutukuvu;+ ye Katonda ayagala abantu okumwemalirako.+ Tajja kubasonyiwa byonoono byammwe* na bibi byammwe.+ 20 Bwe munaava ku Yakuwa ne muweereza bakatonda abalala, naye ajja kubeesamba era abazikirize oluvannyuma lw’okubakolera ebirungi.”+
21 Awo abantu ne bagamba Yoswa nti: “Tujja kuweerezanga Yakuwa!”+ 22 Yoswa n’abagamba nti: “Mmwe mmwennyini mwewaddeko obujulirwa nti mmwe mulonzeewo ku lwammwe okuweereza Yakuwa.”+ Ne baddamu nti: “Twewaddeko obujulirwa.”
23 “Kale muggyeewo bakatonda abalala abali mu mmwe, emitima gyammwe mugizze eri Yakuwa Katonda wa Isirayiri.” 24 Awo abantu ne bagamba Yoswa nti: “Tujja kuweerezanga Yakuwa Katonda waffe, era tujja kumugonderanga!”
25 Bw’atyo Yoswa n’akola endagaano n’abantu ku lunaku olwo, n’abawa etteeka n’ekiragiro e Sekemu. 26 Yoswa n’awandiika ebigambo ebyo mu kitabo ky’Amateeka ga Katonda,+ n’atwala ejjinja eddene+ n’alisimba wansi w’omuti omunene ennyo oguli okumpi n’ekifo kya Yakuwa ekitukuvu.
27 Awo Yoswa era n’agamba abantu bonna nti: “Ejjinja lino linaabanga mujulirwa gye tuli,+ kubanga liwulidde ebigambo byonna Yakuwa by’atugambye, era linaabanga mujulirwa abalumiriza mmwe, muleme okwegaana Katonda wammwe.” 28 Awo Yoswa n’asiibula abantu, buli omu n’addayo mu kitundu eky’obusika bwe.+
29 Oluvannyuma lw’ebyo, Yoswa mutabani wa Nuuni, omuweereza wa Yakuwa, n’afa ng’aweza emyaka 110.+ 30 Ne bamuziika mu kitundu ky’obusika bwe mu Timunasu-sera,+ ekiri mu kitundu kya Efulayimu eky’ensozi, ebukiikakkono w’Olusozi Gaasi. 31 Abayisirayiri beeyongera okuweereza Yakuwa ennaku zonna eza Yoswa n’ennaku zonna ez’abakadde abaasigalawo nga Yoswa amaze okufa era abaali bamanyi byonna Yakuwa bye yakolera Isirayiri.+
32 Amagumba ga Yusufu,+ Abayisirayiri ge baggya e Misiri, baagaziika e Sekemu mu kibanja Yakobo kye yagula ebitundu bya ffeeza 100+ okuva ku baana ba Kamoli+ kitaawe wa Sekemu; era kyafuuka busika bwa baana ba Yusufu.+
33 Eriyazaali mutabani wa Alooni naye yafa.+ Baamuziika ku Lusozi lwa Fenekaasi mutabani we+ lwe yali aweereddwa mu kitundu kya Efulayimu eky’ensozi.