Engero
3 Obusirusiru bw’omuntu bwe bwonoona ekkubo lye,
Kyokka omutima gwe ne gusunguwalira Yakuwa.
4 Omugagga aba n’emikwano mingi,
Naye omwavu, ne mukwano gwe amwabulira.+
6 Bangi baagala okuganja eri omuntu ow’ekitiibwa,*
Era buli muntu aba mukwano gw’oyo agaba ebirabo.
Abeegayirira bamuyambe, naye tewali amufaako.
8 Oyo afuna amagezi* aba ayagala obulamu bwe.+
N’oyo ayagala okutegeera, ebintu bijja kumugendera bulungi.*+
9 Awa obujulizi obw’obulimba taaleme kubonerezebwa,
N’oyo ayogera obulimba ajja kuzikirizibwa.+
10 Omusirusiru tasaanira kuba mu bulamu bwa kwejalabya;
Olwo ate omuddu ayinza atya okufuga abalangira?+
12 Obusungu bwa kabaka buba ng’okuwuluguma kw’empologoma,+
Naye okusiima kwe kuba ng’omusulo ku muddo.
13 Omwana omusirusiru aleetera kitaawe ennaku,+
14 Ennyumba n’eby’obugagga abantu babisikira kuva ku bakitaabwe,
Naye omukyala omutegeevu ava eri Yakuwa.+
15 Obugayaavu buleeta otulo tungi,
Era omuntu omugayaavu ajja kulumwa enjala.+
19 Omuntu ow’obusungu ajja kuliwa;
Singa ogezaako okumutaasa, kijja kukwetaagisa okukikola enfunda n’enfunda.+
21 Omuntu aba n’enteekateeka nnyingi mu mutima gwe,
Naye ekigendererwa kya Yakuwa kye kijja okutuukirira.+
22 Ekintu ekyegombebwa mu muntu kwe kwagala kwe okutajjulukuka;+
Era okuba omwavu kisinga okuba omulimba.
24 Omugayaavu ateeka omukono gwe mu kibya,
Naye n’alemererwa okuguggyamu okuguzza ku mumwa.+
25 Kuba omukudaazi,+ omuntu atalina bumanyirivu afuuke wa magezi,+
Era nenya omuntu omutegeevu asobole okuba n’okumanya okusingawo.+
26 Oyo ayisa obubi kitaawe era n’agoba nnyina
Aba mwana aswaza era akwasa ensonyi.+
27 Mwana wange, bw’onoolekera awo okuwuliriza ebikuyigirizibwa,
Ojja kuwaba ove ku bigambo eby’amagezi.