1 Samwiri
16 Awo Yakuwa n’agamba Samwiri nti: “Olituusa wa okunakuwala olwa Sawulo,+ nga mmaze okumuggyako obwakabaka bwa Isirayiri?+ Jjuza ejjembe lyo amafuta+ nkutume ewa Yese+ Omubesirekemu, kubanga nnonze kabaka mu batabani be.”+ 2 Naye Samwiri n’agamba nti: “Nnyinza ntya okugenda? Sawulo bw’anaakiwulira ajja kunzita.”+ Awo Yakuwa n’amugamba nti: “Twala ente ento ogambe nti, ‘Nzize kuwaayo ssaddaaka eri Yakuwa.’ 3 Ojja kuyita Yese ajje ku kuwaayo ssaddaaka, oluvannyuma nja kukubuulira ky’onookola. Ojja kufuka amafuta ku oyo gwe nnaakulaga.”+
4 Samwiri n’akola ekyo Yakuwa kye yamugamba. Bwe yatuuka e Besirekemu+ abakadde b’omu kibuga ne batya nnyo nga bamusisinkanye, ne bamubuuza nti: “Ozze lwa mirembe?” 5 N’abaddamu nti: “Nzize lwa mirembe. Nzize kuwaayo ssaddaaka eri Yakuwa. Mwetukuze, mujje tugende ku kuwaayo ssaddaaka.” Oluvannyuma n’atukuza Yese ne batabani be, n’abayita ku kuwaayo ssaddaaka. 6 Bwe baali bayingira, n’alaba Eriyaabu,+ n’agamba nti: “Mazima ddala ono Yakuwa gw’alonze.”* 7 Naye Yakuwa n’agamba Samwiri nti: “Totunuulira ndabika ye na buwanvu bwe,+ kubanga si gwe nnonze. Kubanga engeri abantu gye balabamu ebintu Katonda si bw’abiraba; abantu balaba ekyo amaaso gaabwe kye gasobola okulaba, naye Yakuwa alaba ekiri mu mutima.”+ 8 Awo Yese n’aleeta Abinadaabu+ mu maaso ga Samwiri, naye Samwiri n’agamba nti: “N’oyo Yakuwa tamulonze.” 9 Yese n’aleeta Samma,+ naye Samwiri n’agamba nti: “Oyo naye Yakuwa tamulonze.” 10 Bw’atyo Yese n’aleeta batabani be musanvu mu maaso ga Samwiri, naye Samwiri n’agamba Yese nti: “Ku abo tekuli n’omu Yakuwa gw’alonze.”
11 Awo Samwiri n’abuuza Yese nti: “Bano bokka be batabani bo?” N’amuddamu nti: “Ekyasigaddeyo asembayo obuto;+ alunda ndiga.”+ Samwiri n’agamba Yese nti: “Mutumye, kubanga tetujja kutuula kulya okutuusa ng’azze wano.” 12 Awo n’amutumya ne bamuleeta. Yali wa maaso malungi era ng’alabika bulungi.+ Yakuwa n’agamba Samwiri nti: “Yimuka omufukeko amafuta, kubanga ye wuuyo!”+ 13 Awo Samwiri n’akwata ejjembe eryalimu amafuta,+ n’amufukako amafuta nga baganda be balaba. Okuva ku lunaku olwo omwoyo gwa Yakuwa ne gutandika okukolera ku Dawudi.+ Oluvannyuma Samwiri n’ayimuka n’agenda e Laama.+
14 Omwoyo gwa Yakuwa gwali gumaze okuva ku Sawulo,+ era omwoyo omubi okuva eri Yakuwa gwatandika okumuteganya.+ 15 Abaweereza ba Sawulo ne bamugamba nti: “Olaba nti omwoyo omubi okuva eri Katonda gukuteganya. 16 Mukama waffe, tukwegayiridde lagira abaweereza bo abali mu maaso go bagende banoonye omuntu omukugu mu kukuba entongooli.+ Omwoyo omubi okuva eri Katonda bwe gunaakujjangako, anaakubanga entongooli, era onoobanga bulungi.” 17 Awo Sawulo n’agamba abaweereza be nti: “Munoonye omuntu amanyi okukuba obulungi entongooli, mumundeetere.”
18 Awo omu ku baweereza be n’agamba nti: “Nnalaba nga mutabani wa Yese Omubesirekemu mukugu mu kukuba entongooli; mulwanyi muzira, wa maanyi,+ mwogezi mulungi, alabika bulungi,+ era Yakuwa ali naye.”+ 19 Awo Sawulo n’atuma ababaka eri Yese ng’agamba nti: “Mpeereza Dawudi mutabani wo alunda endiga.”+ 20 Yese n’addira emigaati, ensawo ey’eddiba eyalimu omwenge, n’embuzi ento, n’abissa ku ndogoyi, n’atuma Dawudi mutabani we abitwalire Sawulo. 21 Bw’atyo Dawudi n’agenda eri Sawulo n’atandika okumuweereza.+ Sawulo yamwagala nnyo, era Dawudi yafuuka omusituzi w’eby’okulwanyisa bye. 22 Sawulo n’aweereza Yese obubaka ng’agamba nti: “Nsaba Dawudi asigale nange yeeyongere okumpeereza, kubanga mmusiimye.” 23 Omwoyo omubi okuva eri Katonda bwe gwajjanga ku Sawulo, nga Dawudi akwata entongooli ng’agikuba, nga Sawulo akkakkana, era ng’aba bulungi, era omwoyo omubi gwamuvangako.+