Ekyamateeka
5 Awo Musa n’ayita Isirayiri yonna n’abagamba nti: “Wulira ggwe Isirayiri ebiragiro n’amateeka bye mbabuulira leero; mubiyige era mufube okubikwata. 2 Yakuwa Katonda waffe yakola naffe endagaano mu Kolebu.+ 3 Endagaano eyo Yakuwa teyagikola na bajjajjaffe, wabula yagikola naffe ffenna abaliwo leero. 4 Yakuwa yayogera nammwe maaso ku maaso ku lusozi ng’ayima wakati mu muliro.+ 5 Mu kiseera ekyo nnayimirira wakati wa Yakuwa+ nammwe okubabuulira ekigambo kya Yakuwa, kubanga mwali mutidde olw’omuliro era temwayambuka ku lusozi.+ Yagamba nti,
6 “‘Nze Yakuwa Katonda wo eyakuggya mu nsi ya Misiri, mu nnyumba ey’obuddu.+ 7 Tobanga na bakatonda balala okuggyako nze.+
8 “‘Teweekoleranga kifaananyi ekyole+ oba ekintu kyonna ekyefaanaanyiriza ekintu ekiri waggulu ku ggulu oba ekiri wansi ku nsi oba ekiri mu mazzi agali ku nsi. 9 Tobivunnamiranga era tobiweerezanga+ kubanga nze Yakuwa Katonda wo ndi Katonda ayagala abantu okunneemalirako,+ abonereza abaana n’abazzukulu n’abaana b’abazzukulu olw’ensobi za bakitaabwe abankyawa,+ 10 naye alaga okwagala okutajjulukuka okutuukira ddala ku mulembe ogw’olukumi ogw’abo abanjagala era abakwata ebiragiro byange.
11 “‘Tokozesanga linnya lya Yakuwa Katonda wo mu ngeri etasaana,+ kubanga Yakuwa talirema kubonereza oyo yenna akozesa erinnya lye mu ngeri etasaana.+
12 “‘Okwatanga olunaku lwa Ssabbiiti era olutwalanga nga lutukuvu, nga Yakuwa Katonda wo bwe yakulagira.+ 13 Emirimu gyo gyonna ojja kugikoleranga mu nnaku mukaaga.+ 14 Naye olunaku olw’omusanvu ssabbiiti eri Yakuwa Katonda wo.+ Tokolanga mulimu gwonna,+ ggwe, wadde mutabani wo, wadde muwala wo, wadde omuddu wo omusajja, wadde omuddu wo omukazi, wadde ente yo, wadde endogoyi yo, wadde ensolo yo yonna, wadde omugwira ali mu bibuga* byo;+ omuddu wo omusajja n’omuddu wo omukazi nabo basobole okuwummula nga ggwe.+ 15 Jjukira nti wali muddu mu nsi ya Misiri Yakuwa Katonda wo n’akuggyayo n’omukono ogw’amaanyi era ogugoloddwa.+ Eyo ye nsonga lwaki Yakuwa Katonda wo yakulagira okukwatanga olunaku lwa Ssabbiiti.
16 “‘Kitaawo ne nnyoko+ obassangamu ekitiibwa nga Yakuwa Katonda wo bwe yakulagira, olyoke owangaale era obeere bulungi mu nsi Yakuwa Katonda wo gy’agenda okukuwa.+
17 “‘Tottanga.+
18 “‘Toyendanga.+
19 “‘Tobbanga.+
20 “‘Towanga bujulizi bwa bulimba ku munno.+
21 “‘Teweegombanga mukazi wa munno.+ Teweegombanga nnyumba ya munno, newakubadde ennimiro ye, newakubadde omuddu we omusajja, newakubadde omuddu we omukazi, newakubadde ente ye, newakubadde endogoyi ye, newakubadde ekintu kyonna eky’omuntu omulala.’+
22 “Ebiragiro* bino Yakuwa yabyogera mu ddoboozi ery’omwanguka eri ekibiina kyammwe kyonna ku lusozi ng’ayima wakati mu muliro n’ekire ekikutte,+ era teyayongerako kintu kyonna; oluvannyuma yabiwandiika ku bipande by’amayinja bibiri n’abimpa.+
23 “Bwe mwawulira eddoboozi nga liva mu kizikiza, ng’olusozi lwakako omuliro,+ abakulu b’ebika byammwe bonna n’abakadde ne bajja gye ndi. 24 Era mwaŋŋamba nti, ‘Laba, Yakuwa Katonda waffe atulaze ekitiibwa kye n’obuyinza bwe, era tuwulidde eddoboozi lye nga liva wakati mu muliro.+ Olwa leero tulabye nti Katonda asobola okwogera n’omuntu, omuntu n’asigala nga mulamu.+ 25 Kale kaakano lwaki tufa? Omuliro guno ogw’amaanyi guyinza okutusaanyaawo. Bwe tuneeyongera okuwulira eddoboozi lya Yakuwa Katonda waffe, tujja kufa. 26 Kubanga ani mu bantu bonna eyali awulidde eddoboozi lya Katonda omulamu nga lyogerera wakati mu muliro nga ffe bwe tuliwulidde, n’asigala nga mulamu? 27 Ggwe oba osembera owulire byonna Yakuwa Katonda waffe by’anaagamba; ggwe ojja okutubuulira byonna Yakuwa Katonda waffe by’anaakugamba era naffe tujja kubiwulira era tubikolereko.’+
28 “Yakuwa yawulira ebigambo bye mwaŋŋamba, era Yakuwa n’aŋŋamba nti, ‘Mpulidde ebigambo abantu bano bye bakugambye. Byonna bye bagambye birungi.+ 29 Singa banaabanga n’omutima oguntya+ era ogukwata ebiragiro byange byonna,+ bo n’abaana baabwe bajja kubeera bulungi emirembe n’emirembe.+ 30 Genda obagambe nti: “Muddeeyo mu weema zammwe.” 31 Naye ggwe sigala wano nange nkubuulire ebiragiro byonna n’amateeka by’olina okubayigiriza era bye balina okukwata nga bali mu nsi gye mbawa.’ 32 Mufeeyo nnyo okukola byonna Yakuwa Katonda wammwe by’abalagidde.+ Temukyukanga kudda ku ddyo oba ku kkono.+ 33 Mutambulirenga mu makubo gonna Yakuwa Katonda wammwe g’abalagidde+ mulyoke mube abalamu era mubeere bulungi era muwangaale ennaku nnyingi mu nsi gye mugenda okutwala.+