Isaaya
33 Zikusanze ggwe azikiriza abalala, naye nga ggwe tozikirizibwanga;+
Ggwe alyamu abalala olukwe naye nga ggwe toliibwangamu lukwe!
Bw’olimala okuzikiriza abalala, naawe olizikirizibwa.+
Bw’olimala okulyamu abalala olukwe, naawe oliriibwamu olukwe.
2 Ai Yakuwa, tukwatirwe ekisa.+
Essuubi lyaffe liri mu ggwe.
3 Amawanga bwe gawulira oluyoogaano gadduka.
Bw’oyimuka, amawanga gasaasaana.+
4 Ng’enzige ezirya ennyo bwe zikuŋŋaana, n’omunyago gwammwe bwe gutyo bwe gulikuŋŋaanyizibwa;
Abantu baliguyiikira nga balinga ebibinja by’enzige.
5 Yakuwa aligulumizibwa,
Kubanga abeera waggulu nnyo.
Alijjuza Sayuuni obwenkanya n’obutuukirivu.
6 Y’aleetawo obutebenkevu mu biseera byammwe;
Obulokozi obw’amaanyi,+ amagezi, okumanya, n’okutya Yakuwa+
—Obwo bwe bugagga bwe.
7 Laba! Abantu baabwe abazira bakaabira mu nguudo;
Ababaka abatumiddwa okuteesa wabeewo emirembe bakaaba nnyo.
8 Enguudo teziriimu bantu;
Mu makubo temuli muntu n’omu.
9 Ensi ekungubaga* era eggwaawo.
Lebanooni eswadde;+ evunze.
Saloni kifuuse ng’eddungu,
Basani ne Kalumeeri bikunkumula ebikoola byabyo.+
10 “Kaakano ŋŋenda kusituka,” Yakuwa bw’agamba,
“Kaakano ŋŋenda kwegulumiza;+
Kaakano ŋŋenda kulaga nga bwe ndi ow’ekitiibwa.
11 Muba embuto ez’ebisubi ebikalu ne muzaala ebisusunku.
Endowooza yammwe eribasaanyaawo ng’omuliro.+
12 Era amawanga galiba ng’ennoni gye bookezza.
Okufaananako amaggwa agatemeddwa, amawanga ago galyokebwa omuliro.+
13 Mmwe abali ewala, muwulire kye ŋŋenda okukola!
Nammwe abali okumpi, mukkirize nti ndi wa maanyi!
14 Aboonoonyi b’omu Sayuuni bali mu kutya;+
Bakyewaggula bakankana era bagamba nti:
‘Ani ku ffe ayinza okubeera awali omuliro ogusaanyaawo?+
Ani ku ffe ayinza okubeera awamu n’ennimi z’omuliro ezitazikira?’
15 Oyo atambulira mu butuukirivu obutaggwaawo,+
Ayogera ebituufu,+
Eyeewala okufuna ebintu mu makubo amakyamu, mu bukumpanya,
Atakkiriza mikono gye kukwata nguzi,+
Aziba amatu ge galeme kuwulira mboozi ezikwata ku kuyiwa musaayi,
Azibiriza amaaso ge galeme kutunuulira bintu bibi
16 —Alibeera waggulu mu nsozi;
Ekifo kye eky’okuddukiramu kiribeera mu bigo eby’amayinja,
Aliweebwa emmere ye,
Era ne w’aliba aggya amazzi tewalikalira.”+
17 Amaaso go galiraba kabaka mu kitiibwa kye;
Galiraba ensi ey’ewala.
18 Mu mutima gwo olijjukira entiisa:*
“Omuwandiisi ali ludda wa?
Oyo eyagerekanga omusolo ali ludda wa?+
Oyo eyabalanga eminaala ali ludda wa?”
19 Toliddamu kulaba bantu batawa balala kitiibwa,
Abantu aboogera olulimi oluzibu ennyo, lw’otosobola kutegeera,
Aboogera ng’abanaanaagira nga tosobola kutegeera bye boogera.+
20 Laba Sayuuni, ekibuga mwe tukwatira embaga zaffe!+
Amaaso go galiraba Yerusaalemi ng’ekifo ekitebenkevu ekibeerwamu,
Weema etaliggibwawo.+
Enninga za weema yaakyo tezirisimbulwa,
Era tewaliba na gumu ku miguwa gyayo ogulikutulwamu.
21 Naye eyo, Yakuwa ow’Ekitiibwa,
Aliba gye tuli ng’ekitundu ekirimu emigga, ekirimu emikutu emigazi,
Omutaliyita bibinja bya maato
Era omutaliyita byombo binene.
23 Emiguwa girisumulukuka;
Tegirisobola kuwanirira mulongooti wadde okuwanika amatanga.
Mu kiseera ekyo omunyago mungi guligabanyizibwamu;
N’abalema balitwala omunyago mungi.+
24 Tewaliba muntu* mu nsi eyo aligamba nti: “Ndi mulwadde.”+
Abantu abalibeerayo baliba basonyiyiddwa ebyonoono byabwe.+