Olubereberye
28 Awo Isaaka n’ayita Yakobo n’amuwa omukisa era n’amulagira nti: “Towasanga mukazi mu bawala ba Kanani.+ 2 Genda e Padanalaamu mu nnyumba ya Besweri taata wa nnyoko, eyo gy’oba owasa omukazi ku bawala ba Labbaani+ kojja wo. 3 Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna ajja kukuwa omukisa, akuwe abaana, akwaze, era awatali kubuusabuusa ojja kufuuka ekibiina ky’abantu.+ 4 Era ajja kukuwa omukisa gwa Ibulayimu,+ ggwe n’ezzadde lyo, otwale ensi gy’obadde obeeramu ng’omugwira, ensi Katonda gye yawa Ibulayimu.”+
5 Bw’atyo Isaaka n’asindika Yakobo n’agenda e Padanalaamu ewa Labbaani mutabani wa Besweri Omwalameeya,+ era mwannyina wa Lebbeeka+ maama wa Yakobo ne Esawu.
6 Esawu n’alaba nga Isaaka awadde Yakobo omukisa era n’amusindika e Padanalaamu awase eyo omukazi, era nga bwe yali amuwa omukisa yamulagira nti, “Towasanga mukazi mu bawala b’omu Kanani,”+ 7 era nti Yakobo yali agondedde kitaawe ne nnyina n’agenda e Padanalaamu.+ 8 Awo Esawu n’akitegeera nti abawala ba Kanani tebasanyusa kitaawe Isaaka,+ 9 bw’atyo n’agenda ewa Isimayiri omwana wa Ibulayimu n’awasa muwala we Makalasi mwannyina wa Nebayosi, n’amwongera ku bakazi be abalala.+
10 Yakobo n’ava e Beeru-seba n’ayolekera e Kalani.+ 11 Oluvannyuma lw’ekiseera n’atuuka mu kifo ekimu n’ateekateeka okusula awo kubanga enjuba yali egudde. N’addira erimu ku mayinja agaali mu kifo ekyo n’alyezizika ne yeebaka awo.+ 12 N’aloota, era laba! waaliwo amadaala* nga gasimbiddwa ku nsi, ng’entikko yaago etuukira ddala mu ggulu, nga bamalayika ba Katonda bagambukirako era nga bagakkirako.+ 13 Era Laba! Yakuwa yali waggulu waago, n’agamba nti:
“Nze Yakuwa Katonda wa Ibulayimu jjajjaawo era Katonda wa Isaaka.+ Ensi gy’ogalamiddeko ŋŋenda kugikuwa ggwe n’ezzadde lyo.+ 14 Era ezzadde lyo liriba ng’enfuufu y’ensi,+ era balibuna ebugwanjuba n’ebuvanjuba n’ebukiikakkono n’ebukiikaddyo, era okuyitira mu ggwe ne mu zzadde lyo, ebika byonna eby’oku nsi biriweebwa omukisa.*+ 15 Era ndi wamu naawe, nja kukukuuma yonna gy’onoogendanga era nja kukukomyawo mu nsi eno.+ Sirikuleka era ndikola byonna bye nkusuubizza.”+
16 Awo Yakobo n’azuukuka n’agamba nti: “Mazima ddala Yakuwa ali mu kifo kino, naye nze mbadde sikimanyi.” 17 N’atya era n’agamba nti: “Ekifo kino nga kya ntiisa! Ddala eno nnyumba ya Katonda+ era guno gwe mulyango gw’eggulu.”+ 18 Yakobo n’agolokoka ku makya ennyo, n’addira ejjinja lye yali yeezizise n’alisimba okuba ekijjukizo, n’aliyiwako amafuta.+ 19 Ekifo ekyo n’akituuma Beseri,* naye mu kusooka ekibuga ekyo kyali kiyitibwa Luuzi.+
20 Yakobo ne yeeyama ng’agamba nti: “Katonda bw’aneeyongera okubeera nange n’ankuuma mu lugendo lwange, era n’ampa emmere n’eby’okwambala, 21 ne nkomawo mirembe mu nnyumba ya kitange, ddala Yakuwa ajja kuba akiraze nti ye Katonda wange. 22 Era ejjinja lino lye nsimbye okuba ekijjukizo lirifuuka ennyumba ya Katonda,+ era ku buli kintu ky’onompanga nnaakuwangako kimu kya kkumi.”