Olubereberye
30 Laakeeri bwe yalaba nga tazaalidde Yakobo baana, n’akwatirwa muganda we obuggya, n’agamba Yakobo nti: “Mpa abaana, oba si ekyo nja kufa.” 2 Awo Yakobo n’asunguwalira Laakeeri n’amugamba nti: “Nze Katonda akulemesezza okuzaala abaana?”* 3 Laakeeri n’amugamba nti: “Omuzaana wange Biruka+ wuuyo, weegatte naye anzaalire abaana,* nange nfune abaana okuyitira mu ye.” 4 N’amuwa Biruka omuweereza we abe mukazi we, era Yakobo ne yeegatta naye.+ 5 Biruka n’aba olubuto, n’azaalira Yakobo omwana ow’obulenzi. 6 Awo Laakeeri n’agamba nti: “Katonda y’abadde omulamuzi wange era awulirizza eddoboozi lyange n’ampa omwana ow’obulenzi.” Kyeyava amutuuma Ddaani.*+ 7 Biruka omuweereza wa Laakeeri n’aba olubuto nate, n’azaalira Yakobo omwana ow’obulenzi ow’okubiri. 8 Laakeeri n’agamba nti: “Mmegganye ne muganda wange okumeggana okw’amaanyi era mpangudde!” Bw’atyo n’amutuuma Nafutaali.*+
9 Leeya bwe yalaba ng’alekedde awo okuzaala, n’awa Yakobo omuweereza we Zirupa abe mukazi we.+ 10 Zirupa omuweereza wa Leeya n’azaalira Yakobo omwana ow’obulenzi. 11 Awo Leeya n’agamba nti: “Nga guno mukisa gwa maanyi!” Bw’atyo n’amutuuma Gaadi.*+ 12 Oluvannyuma Zirupa omuweereza wa Leeya n’azaalira Yakobo omwana ow’obulenzi ow’okubiri. 13 Leeya n’agamba nti: “Nga kya ssanyu! Kubanga abakazi banampitanga musanyufu.”+ Bw’atyo n’amutuuma Aseri.*+
14 Awo Lewubeeni+ bwe yali atambulatambula mu kiseera eky’okukungula eŋŋaano, n’asanga amadudayimu mu nnimiro n’agaleetera Leeya, nnyina. Laakeeri n’agamba Leeya nti: “Mpa ku madudayimu* ga mutabani wo.” 15 Leeya n’amugamba nti: “Okuntwalako baze+ kyali kitono? Ate kaakano oyagala na kutwala madudayimu ga mutabani wange?” Awo Laakeeri n’amugamba nti: “Kale ajja kusula naawe ekiro kino ompe amadudayimu ga mutabani wo.”
16 Yakobo bwe yali ava ku ttale akawungeezi, Leeya n’agenda okumusisinkana n’amugamba nti: “Ogenda kwebaka nange kubanga mpaddeyo amadudayimu ga mutabani wange osule nange.” Awo ne yeebaka naye ekiro ekyo. 17 Katonda n’awuliriza Leeya, Leeya n’aba olubuto n’azaalira Yakobo omwana ow’obulenzi ow’okutaano. 18 Awo Leeya n’agamba nti: “Katonda ampadde empeera kubanga nnawa baze omuweereza wange.” Bw’atyo n’amutuuma Isakaali.*+ 19 Leeya n’aba olubuto nate, n’azaalira Yakobo omwana ow’obulenzi ow’omukaaga.+ 20 Leeya n’agamba nti: “Katonda ampadde ekirabo ekirungi. Kaakano baze anangumiikiriza,+ kubanga mmuzaalidde abaana ab’obulenzi mukaaga.”+ Bw’atyo n’amutuuma Zebbulooni.*+ 21 Oluvannyuma n’azaala omwana ow’obuwala n’amutuuma Dina.+
22 Ku nkomerero, Katonda n’ajjukira Laakeeri, n’amuwulira era n’amuddamu n’amusobozesa okufuna olubuto.*+ 23 N’aba olubuto n’azaala omwana ow’obulenzi, n’agamba nti: “Katonda aggyeewo ekivume kyange!”+ 24 N’amutuuma Yusufu*+ ng’agamba nti: “Yakuwa annyongedde omwana omulala ow’obulenzi.”
25 Laakeeri olwamala okuzaala Yusufu, Yakobo n’agamba Labbaani nti: “Nsiibula ŋŋende ewaffe mu nsi yange.+ 26 Mpa bakazi bange be nkuweererezza era n’abaana bange ŋŋende; kubanga omanyi bulungi engeri gye nkuweerezzaamu.”+ 27 Labbaani n’amugamba nti: “Bwe kiba nti nsiimibwa mu maaso go, nkusaba osigale kubanga obubonero bundagudde* nti Yakuwa ampa omukisa ku lulwo.” 28 N’agattako nti: “Mbuulira empeera gye mba nkuwa era nja kugikuwa.”+ 29 N’amuddamu nti: “Omanyi engeri gye nkuweerezzaamu, era n’ebisolo byo bwe bibadde nga mbirabirira.+ 30 Walina ebintu bitono nga sinnajja naye kaakano ebisolo byo byeyongedde nnyo, era okuva lwe nnajja Yakuwa akuwadde omukisa. Kale ddi nange lwe ndibaako kye nkolera ab’omu nnyumba yange?”+
31 Awo n’amubuuza nti: “Nkuwe ki?” Yakobo n’addamu nti: “Tobaako ky’ompa! Naye bw’ononkolera kino nja kweyongera okulunda n’okukuuma ebisibo byo:+ 32 Ka tuyite mu kisibo kyo kyonna leero oggyemu buli ndiga eya bujjagijjagi n’eya bitanga, na buli ndiga ento ennume eya kitaka, na buli mbuzi enkazi eya bitanga oba eya bujjagijjagi. Okuva leero ezo ze zinaabanga empeera yange.+ 33 Era ku lunaku lwonna lw’olijja okulaba empeera yange obutuukirivu* bwange bulinjogerera; buli mbuzi nkazi etali ya bujjagijjagi oba ya bitanga, na buli ndiga ento ennume etali ya kitaka erisangibwa mu zange eritwalibwa ng’enzibe.”
34 Labbaani n’agamba nti: “Ekyo kirungi! Ka kibeere nga bw’ogambye.”+ 35 Ku lunaku olwo Labbaani n’aggyamu embuzi ennume eza kiwuuga n’eza bitanga n’embuzi zonna enkazi eza bujjagijjagi n’eza bitanga, n’ezo zonna ezaaliko ebbala eryeru na buli ndiga ento ennume eya kitaka, n’azikwasa batabani be. 36 Ebyo bwe byaggwa, n’azitwala mu kifo ekyesudde okuva Yakobo we yali ebbanga lya lugendo lwa nnaku ssatu, Yakobo n’alunda ebisibo bya Labbaani ebyasigalawo.
37 Yakobo n’addira obuti obubisi obw’omulivine, n’obw’omuloozi, n’obw’omwalamoni, n’abususumbulako ekikuta mu bifo ebimu, ebitundu ebyeru eby’omunda ne birabika. 38 Oluvannyuma obuti bwe yali asusumbudde yabuteeka mu maaso g’ensolo, mu byesero ensolo mwe zaanyweranga amazzi, zisobole okusalira mu maaso gaabwo nga zizze okunywa amazzi.
39 Ensolo zaasalanga nga ziri mu maaso g’obuti era ne zizaala eza kiwuuga, eza bujjagijjagi, n’eza bitanga. 40 Yakobo n’ayawula endiga ento ennume, n’addira ensolo n’azitunuza eri ezo eza kiwuuga n’eza kitaka zonna mu nsolo za Labbaani. Oluvannyuma n’ayawula ensolo ze n’atazigatta na za Labbaani. 41 Era buli nsolo ez’amaanyi lwe zaasalanga nga Yakobo ateeka obuti mu byesero, mu maaso g’ebisibo, zisobole okusala nga ziri mu maaso g’obuti obwo. 42 Naye ensolo bwe zaabanga ennafu ng’obuti tabussaamu. Bwe kityo ennafu zaabanga za Labbaani, naye ez’amaanyi zaabanga za Yakobo.+
43 Yakobo n’agaggawala nnyo, n’aba n’ebisibo bingi, n’abaweereza abakazi n’abasajja, n’eŋŋamira, n’endogoyi.+