Olubereberye
8 Naye Katonda n’ajjukira Nuuwa n’ensolo zonna ez’omu nsiko awamu n’ez’awaka ezaali naye mu lyato,+ Katonda n’akunsa empewo ku nsi amazzi ne gatandika okukendeera. 2 Ensulo z’oguyanja* n’ebituli eby’eggulu ne bizibikirwa, enkuba n’erekera awo okutonnya.*+ 3 Amazzi ne gatandika okukendeera mpolampola ku nsi, era oluvannyuma lw’ennaku 150, amazzi gaali gakendeeredde ddala. 4 Mu mwezi ogw’omusanvu ku lunaku olw’ekkumi n’omusanvu, eryato ne lituula ku nsozi za Alalati. 5 Amazzi ne geeyongera okukendeera okutuuka mu mwezi ogw’ekkumi. Mu mwezi ogw’ekkumi, ku lunaku olusooka, entikko z’ensozi ne zirabika.+
6 Ku nkomerero y’ennaku 40 Nuuwa n’aggulawo eddirisa+ lye yakola ku lyato. 7 N’asindika nnamuŋŋoona ebweru, nnamuŋŋoona n’abuuka mu bbanga ng’agenda bw’adda okutuusa amazzi lwe gaakalira ku nsi.
8 Oluvannyuma n’asindika ejjiba ebweru okulaba obanga amazzi gaali gakendedde ku nsi. 9 Ejjiba ne litafuna kifo wa kugwa,* bwe lityo ne lidda gy’ali mu lyato kubanga amazzi gaali gakyabisse ensi yonna.+ Bw’atyo n’afulumya omukono gwe ebweru n’alikwata n’aliyingiza mu lyato. 10 N’alinda ennaku endala musanvu, n’addamu n’asindika ejjiba okuva mu lyato. 11 Ejjiba bwe lyakomawo gy’ali nga bunaatera okuwungeera, Nuuwa n’alaba nga mu kamwa kaalyo mulimu akakoola k’omuzeyituuni akabisi, n’amanya nti amazzi gaali gakendedde ku nsi.+ 12 N’alinda ennaku endala musanvu, n’addamu n’asindika ejjiba, naye teryakomawo gy’ali nate.
13 Mu mwaka ogw’olukaaga mu ogumu+ ogw’obulamu bwa Nuuwa, mu mwezi ogusooka, ku lunaku olusooka, amazzi gaali gawedde ku nsi; Nuuwa n’aggyako ekisaanikira ky’eryato n’alaba nga kungulu ku ttaka kugenda kukala. 14 Mu mwezi ogw’okubiri, ku lunaku olw’abiri mu omusanvu ensi yali ekalidde ddala.
15 Katonda n’agamba Nuuwa nti: 16 “Fuluma mu lyato ggwe, ne mukazi wo, ne batabani bo, ne baka batabani bo.+ 17 Fuluma na buli kiramu ekya buli ngeri:+ ebibuuka, ensolo, n’ensolo ezeewalula* ez’oku nsi, byeyongere obungi mu nsi, bizaale era byale mu nsi.”+
18 Awo Nuuwa n’afuluma ne batabani be,+ ne mukazi we, ne baka batabani be. 19 Buli kiramu, buli nsolo eyeewalula, buli ekibuuka, na buli ekitambula ku nsi, ne bifuluma mu lyato okusinziira ku bika byabyo.+ 20 Awo Nuuwa n’azimbira Yakuwa ekyoto,+ n’atoola ku nsolo zonna ennongoofu, ne ku bibuuka byonna ebirongoofu+ n’aweerayo ku kyoto ebiweebwayo ebyokebwa.+ 21 Yakuwa n’awulira evvumbe eddungi; Yakuwa n’agamba mu mutima gwe nti: “Siriddamu nate kukolimira nsi+ olw’omuntu, kubanga ebirowoozo by’omu mutima gw’omuntu byekubidde ku kukola kibi okuva mu buto bwe;+ era siriddamu nate kuzikiriza biramu byonna nga bwe nkoze.+ 22 Okuva leero, okusiga ensigo n’okukungula, n’obunnyogovu n’ebbugumu, n’ekiseera eky’omusana n’eky’obutiti, n’emisana n’ekiro, tebirikoma kubaawo ku nsi.”+