Yokaana
12 Bwe waali wabulayo ennaku mukaaga embaga ey’Okuyitako etuuke, Yesu n’atuuka e Bessaniya awaali Laazaalo+ gwe yali azuukizza mu bafu. 2 Awo ne bamutegekera eyo ekyeggulo; Maliza yali abaweereza+ era nga Laazaalo yali omu ku abo abaali balya* naye. 3 Awo Maliyamu n’addira laatiri* y’amafuta ag’akaloosa agayitibwa naludo, ag’omuwendo omungi, agaali gatatabuddwamu kintu kyonna, n’agafuka ku bigere bya Yesu era n’abisiimuula ng’akozesa enviiri ze, ennyumba n’ejjula akaloosa k’amafuta ago.+ 4 Naye Yuda Isukalyoti,+ omu ku bayigirizwa be, eyali anaatera okumulyamu olukwe n’agamba nti: 5 “Lwaki amafuta ago ag’akaloosa tegaatundiddwa ddinaali* 300 ne ziweebwa abaavu?” 6 Kino yakyogera, si lwa kuba nti yali alumirirwa abaavu, naye olw’okuba yali mubbi. Ye yalina akasanduuko omwaterekebwanga ssente, era yabbanga ssente ezaateekebwangamu. 7 Awo Yesu n’agamba nti: “Mumuleke akole bw’atyo ng’ateekerateekera olunaku olw’okunziika.+ 8 Abaavu mubeera nabo bulijjo,+ naye nze temujja kuba nange bulijjo.”+
9 Mu kiseera ekyo Abayudaaya bangi baategeera nti yali ali Bessaniya, ne bajja, si lwa Yesu yekka, naye era balabe ne Laazaalo gwe yazuukiza mu bafu.+ 10 Bakabona abakulu ne beekobaana okutta ne Laazaalo, 11 kubanga ku lulwe Abayudaaya bangi baali bagendayo era nga bakkiririza mu Yesu.+
12 Ku lunaku olwaddirira, ekibiina ky’abantu abaali bazze ku mbaga ne bawulira nti Yesu yali agenda kujja e Yerusaalemi. 13 Awo ne bakwata amatabi g’enkindu ne bagenda okumusisinkana era ne batandika okwogerera waggulu nti: “Tukusaba, olokole! Aweereddwa omukisa oyo ajjira mu linnya lya Yakuwa,*+ era Kabaka wa Isirayiri!”+ 14 Yesu bwe yasanga endogoyi ento, n’agituulako,+ nga bwe kyawandiikibwa nti: 15 “Totya ggwe muwala wa Sayuuni. Laba! Kabaka wo ajja ng’atudde ku mwana gw’endogoyi.”+ 16 Okusooka abayigirizwa be tebaategeera bintu ebyo, naye Yesu bwe yamala okugulumizibwa+ ne bajjukira nti ebintu ebyo byamuwandiikibwako, era nti baabimukolera.+
17 Abantu abaali naye bwe yayita Laazaalo okuva mu ntaana*+ n’amuzuukiza mu bafu, beeyongera okumuwaako obujulirwa.+ 18 Era eyo ye nsonga lwaki ekibiina ky’abantu kyagenda okumusisinkana, kubanga baawulira nti yakola ekyamagero ekyo. 19 Awo Abafalisaayo ne bagambagana nti: “Mukiraba nti tuteganira bwereere? Laba! Ensi yonna emugoberedde.”+
20 Mu abo abaali bazze ku mbaga okusinza mwalimu Abayonaani. 21 Abo ne batuukirira Firipo+ eyali ow’e Besusayida eky’e Ggaliraaya ne bamugamba nti: “Ssebo twagala kulaba Yesu.” 22 Firipo n’agenda n’abuulira Andereya. Andereya ne Firipo ne babuulira Yesu.
23 Yesu n’abaddamu nti: “Ekiseera kituuse Omwana w’omuntu agulumizibwe.+ 24 Mazima ddala mbagamba nti empeke y’eŋŋaano bw’etegwa ku ttaka n’efa, esigala eri emu; naye bw’efa+ ebala ebibala bingi. 25 Oyo ayagala obulamu bwe abuzikiriza, naye oyo akyawa obulamu bwe+ mu nsi eno ajja kubukuuma asobole okufuna obulamu obutaggwaawo.+ 26 Oyo yenna ayagala okumpeereza angoberere, era gye nnaabeera n’omuweereza wange gy’anaabeera.+ Oyo yenna ayagala okumpeereza, Kitange alimuwa ekitiibwa. 27 Kaakano ndi mweraliikirivu nnyo;+ era njogere ki? Kitange, ndokola okuva mu kaseera kano.+ Wadde kiri kityo, nnina okwolekagana n’akaseera kano. 28 Kitange, gulumiza erinnya lyo.” Awo eddoboozi+ ne liva mu ggulu ne ligamba nti: “Ndigulumizza era nja kuligulumiza nate.”+
29 Ekibiina ky’abantu abaali bayimiridde awo bwe baaliwulira ne bagamba nti eggulu libwatuse. Abalala ne bagamba nti: “Malayika ayogedde naye.” 30 Yesu n’abagamba nti: “Eddoboozi lino teriwuliddwa ku lwange, wabula ku lwammwe. 31 Kaakano ensi eno esalirwa omusango, era omufuzi w’ensi eno+ ajja kugoberwa ebweru.+ 32 Era bwe nnaayimusibwa okuva ku nsi,*+ nja kusika abantu aba buli kika okubazza gye ndi.” 33 Kino yakyogera okulaga engeri gye yali agenda okufaamu.+ 34 Awo ekibiina ky’abantu ne kimugamba nti: “Twawulira mu Mateeka nti Kristo wa kubeerawo emirembe n’emirembe.+ Oyinza otya okugamba nti Omwana w’omuntu agenda kuwanikibwa?+ Omwana w’omuntu oyo y’ani?” 35 Yesu n’abagamba nti: “Ekitangaala kijja kuba nammwe okumala akaseera katono. Mutambule nga mukyalina ekitangaala, ekizikiza kireme okubasinza amaanyi; oyo atambulira mu kizikiza tamanya gy’agenda.+ 36 Mukkiririze mu kitangaala nga mukyakirina musobole okubeera abaana b’ekitangaala.”+
Yesu bwe yamala okwogera ebyo, n’agenda n’abeekweka. 37 Wadde nga yali akoze ebyamagero bingi nga balaba, tebaamukkiririzaamu, 38 ebigambo bya nnabbi Isaaya bisobole okutuukirira, ebigamba nti: “Yakuwa,* ani akkiririzza mu kigambo kye twawulira?+ Era ani abikkuliddwa omukono gwa Yakuwa?”*+ 39 Era Isaaya yalaga ensonga lwaki tebakkiriza bwe yagamba nti: 40 “Azibye amaaso gaabwe era akakanyazza emitima gyabwe, baleme okulaba n’amaaso gaabwe era n’emitima gyabwe gireme okutegeera bakyuke mbawonye.”+ 41 Isaaya yayogera ebintu ebyo kubanga yalaba ekitiibwa kye era n’amwogerako.+ 42 Kyokka bangi ku bafuzi baamukkiririzaamu,+ naye olw’Abafalisaayo tebaakiraga, baleme okugobebwa mu kkuŋŋaaniro;+ 43 kubanga baayagala nnyo ekitiibwa ky’abantu n’okusinga ekya Katonda.+
44 Kyokka Yesu n’ayogerera waggulu nti: “Oyo anzikiririzaamu aba takkiririza mu nze nzekka, naye era aba akkiririza ne mu oyo eyantuma;+ 45 era n’oyo andaba aba alaba n’Oyo eyantuma.+ 46 Nnajja ng’ekitangaala mu nsi,+ buli anzikiririzaamu aleme okusigala mu kizikiza.+ 47 Naye singa omuntu yenna awulira ebigambo byange n’atabikolerako simusalira musango; kubanga sajja kusalira nsi musango wabula okugirokola.+ 48 Oyo aŋŋaana era n’atakkiriza bigambo byange, waliwo ajja okumusalira omusango. Ekigambo kye njogedde kye kijja okumusalira omusango ku lunaku olw’enkomerero. 49 Kubanga soogedde ku bwange, naye Kitange kennyini eyantuma ye yandagira bye nteekwa okwogera.+ 50 Era mmanyi nti ekiragiro kye bwe bulamu obutaggwaawo.+ N’olwekyo, bye njogera mbyogera nga Kitange bwe yaŋŋamba.”+