Ekyabalamuzi
4 Ekudi bwe yamala okufa, Abayisirayiri ne baddamu okukola ebintu ebibi mu maaso ga Yakuwa.+ 2 Yakuwa n’abatunda mu mukono gwa Yabini kabaka wa Kanani+ eyali afugira mu Kazoli. Omukulu w’eggye lye yali ayitibwa Sisera, era yali abeera Kalosesi+ eky’amawanga.* 3 Abayisirayiri ne bakaabirira Yakuwa,+ kubanga Yabini yalina amagaali ag’olutalo 900 agaaliko ebyuma ebisala,*+ era yabanyigiriza nnyo+ okumala emyaka 20.
4 Debola nnabbi,+ muka Lapidosi, ye yali alamula Isirayiri mu kiseera ekyo. 5 Yatuulanga wansi w’olukindu lwa Debola wakati wa Laama+ ne Beseri+ mu kitundu kya Efulayimu eky’ensozi, era Abayisirayiri baagendanga gy’ali okubalamula. 6 Yatumya Balaka+ mutabani wa Abinowamu okuva mu Kedesi-nafutaali,+ n’amugamba nti: “Yakuwa Katonda wa Isirayiri akulagidde nti: ‘Genda* ku Lusozi Taboli, era twala abasajja ba Nafutaali n’aba Zebbulooni 10,000. 7 Nja kukuleetera Sisera, omukulu w’amagye ga Yabini, ku Kagga Kisoni,+ ng’ali n’amagaali ge ag’olutalo n’eggye lye, era nja kumuwaayo mu mukono gwo.’”+
8 Balaka n’amuddamu nti: “Bw’onoogenda nange, nja kugenda; naye bw’otoogende nange, sijja kugenda.” 9 N’amuddamu nti: “Mazima nja kugenda naawe. Naye olutabaalo luno lw’ogendamu terugenda kukuweesa kitiibwa, kubanga Sisera Yakuwa agenda kumuwaayo mu mukono gwa mukazi.”+ Awo Debola n’asituka n’agenda ne Balaka e Kedesi.+ 10 Balaka n’ayita Zebbulooni ne Nafutaali+ bajje e Kedesi, era abasajja 10,000 ne bamugoberera. Ne Debola yagenda naye.
11 Keberi Omukeeni yali yeeyawudde ku Bakeeni,+ abaana ba Kobabu, kitaawe wa muka Musa,+ era weema ye yali kumpi n’omuti omunene mu Zaanannimu ekiri mu Kedesi.
12 Awo ne babuulira Sisera nti Balaka mutabani wa Abinowamu yali ayambuse ku Lusozi Taboli.+ 13 Amangu ago Sisera n’akuŋŋaanya amagaali ge gonna ag’olutalo—amagaali 900 agaaliko ebyuma ebisala*—era n’eggye lyonna eryali naye okuva mu Kalosesi eky’amawanga okugenda ku Kagga Kisoni.+ 14 Awo Debola n’agamba Balaka nti: “Situka, kubanga leero Yakuwa lw’agenda okuwaayo Sisera mu mukono gwo. Yakuwa si y’akukulembeddemu?” Balaka n’aserengeta okuva ku Lusozi Taboli ng’abasajja 10,000 bamugoberera. 15 Yakuwa n’atabulatabula+ Sisera n’amagaali ge gonna ag’olutalo n’eggye lyonna, n’abazikiriza n’ekitala kya Balaka. Sisera n’ava ku ggaali lye n’addusa bigere. 16 Balaka n’awondera amagaali g’olutalo n’eggye okutuukira ddala e Kalosesi eky’amawanga, era eggye lya Sisera lyonna ne littibwa n’ekitala; tewali n’omu yasigalawo.+
17 Sisera n’addusa bigere n’agenda awaali weema ya Yayeeri+ muka Keberi+ Omukeeni, kubanga waaliwo emirembe wakati wa Yabini+ kabaka wa Kazoli n’ennyumba ya Keberi Omukeeni. 18 Yayeeri n’afuluma okusisinkana Sisera, n’amugamba nti: “Yingira mukama wange, yingira muno. Totya.” Awo n’ayingira mu weema ya Yayeeri, Yayeeri n’amubikka bulangiti. 19 Bwe waayita ekiseera Sisera n’amugamba nti: “Nkwegayiridde mpa ku tuzzi nnyweko kubanga ennyonta ennuma.” Awo Yayeeri n’asumulula ensawo ey’eddiba ey’amata n’amuwa n’anywa;+ olwamala n’addamu n’amubikka. 20 Sisera n’amugamba nti: “Yimirira ku mulyango gwa weema, era bwe wabaawo ajja n’akubuuza nti, ‘Muno mulimu omusajja?’ Ogamba nti, ‘Nedda!’”
21 Awo Sisera bwe yali yeebase era ng’akooye, Yayeeri muka Keberi n’akwata enninga ya weema n’ennyondo mu mukono gwe, n’agenda we yali ng’asooba, n’amukomerera enninga mu mutwe n’eyitamu n’eyingira mu ttaka. Bw’atyo n’afa.+
22 Awo Balaka n’ajja ng’awondera Sisera. Yayeeri n’agenda okumusisinkana n’amugamba nti: “Jjangu nkulage omusajja gw’onoonya.” N’ayingira naye, era n’alaba Sisera ng’ali awo wansi afudde, ng’enninga ya weema eri mu mutwe gwe.
23 Bw’atyo Katonda n’asobozesa Abayisirayiri okuwangula Yabini kabaka wa Kanani ku lunaku olwo.+ 24 Omukono gw’Abayisirayiri gweyongera okuba ogw’amaanyi ku Yabini kabaka wa Kanani+ okutuusa lwe baamuzikiriza.