2 Abakkolinso
10 Kaakano nze Pawulo kennyini mbeegayirira olw’obukkakkamu n’ekisa kya Kristo,+ wadde ndabika ng’anyoomebwa bwe mba mu mmwe,+ mba wa maanyi bwe siba nammwe.+ 2 N’olwekyo nsaba nti bwe ndiba nammwe, nneme kukozesa maanyi nga bwe nsuubira okugakozesa eri abamu abakitwala nti tutambula okusinziira ku ekyo kye tuli mu mubiri. 3 Wadde nga tuli bantu ba mubiri, tetulwana okusinziira ku ekyo kye tuli mu mubiri. 4 Kubanga eby’okulwanyisa bye tukozesa mu lutalo lwaffe si bya mubiri,+ naye bya kulwanyisa eby’amaanyi Katonda by’atuwadde+ okusiguukulula ebintu ebyasimba amakanda. 5 Kubanga tusiguukulula endowooza enkyamu na buli kintu ekigulumivu ekiwakanya okumanya okukwata ku Katonda,+ era tuwangula buli kirowoozo ne tukifuula kiwulize eri Kristo; 6 era amangu ddala nga mumaze okukiraga nti muli bawulize ddala, tuli beetegefu okubonereza omuntu yenna ajeema mu ngeri yonna.+
7 Ebintu mubitunuulira okusinziira ku ndabika yaabyo. Singa omuntu yenna yeekakasa nti wa Kristo, k’alowooze nate ku nsonga eno: Nga bw’ali owa Kristo, naffe tuli ba Kristo. 8 Ne bwe nnandyenyumirizza ekisukkiridde olw’obuyinza Mukama waffe bwe yatuwa okubazimba so si okubasuula,+ sandiswaziddwa. 9 Kubanga saagala kulabika ng’abatiisatiisa n’ebbaluwa zange. 10 Kubanga abamu bagamba nti: “Ebbaluwa ze nzito era za maanyi, naye ye kennyini bw’aba naffe talabika nga wa maanyi era by’ayogera tebibaamu nsa.” 11 Omuntu ng’oyo akimanye nti kye twogera mu mabaluwa nga tetuliiwo era kye tujja okukola nga tuli nammwe.+ 12 Kubanga tetugezaako kwessa mu ttuluba lye limu n’abamu oba okwegeraageranya n’abo abeetendereza.+ Mazima ddala, bwe beekebera nga basinziira ku mitindo gyabwe era ne beegeraageranya bokka na bokka, baba tebategeera.+
13 Naye ffe tetujja kwenyumiririza bweru wa kitundu kyaffe ekyatuweebwa, wabula tujja kwenyumiririza mu kitundu Katonda kye yatugerera, era mu kitundu ekyo nammwe mwe muli.+ 14 Mazima ddala tetwasukka kitundu ekyatuweebwa nga gy’obeera nti temwali mu kitundu ekyo, kubanga ffe twasooka okutuuka gye muli nga tubuulira amawulire amalungi agakwata ku Kristo.+ 15 Tetwenyumiririza bweru wa kitundu kyaffe mu mulimu gw’omulala, naye tusuubira nti okukkiriza kwammwe bwe kunaagenda kweyongera, omulimu gwe tukoze gujja kweyongera mu kitundu kyaffe. Olwo tujja kweyongera 16 okubuulira amawulire amalungi okusukka ekitundu kyammwe, tuleme kwenyumiririza mu ekyo ekyamala edda okukolebwa mu kitundu ky’omulala. 17 “Naye oyo eyeenyumiriza, yeenyumiririze mu Yakuwa.”*+ 18 Kubanga oyo eyeetendereza si y’asiimibwa+ wabula oyo Yakuwa* gw’atendereza.+