Yobu
42 Awo Yobu n’ayanukula Yakuwa ng’agamba nti:
2 “Kaakano mmanyi ng’osobola okukola ebintu byonna,
Era nga buli ky’olowooza okukola tekiyinza kukulema.+
3 Wagambye nti, ‘Ani oyo aziyiza okubuulirira kwange mu butamanya?’+
N’olwekyo nnayogera, naye nga sitegeera,
Ku bintu eby’ekitalo bye simanyi.+
4 Wagambye nti, ‘Wuliriza njogere.
Nja kukubuuza ebibuuzo onziremu.’+
5 Amatu gange gaawulira ebikukwatako,
Naye kaakano nkulaba n’amaaso gange.
7 Yakuwa bwe yamala okwogera ne Yobu, Yakuwa n’agamba Erifaazi Omutemani nti:
“Nkusunguwalidde nnyo ggwe ne mikwano gyo ababiri,+ kubanga temunjogeddeeko bituufu+ ng’omuweereza wange Yobu. 8 Kaakano mutwale ente ennume musanvu n’endiga ennume musanvu eri omuweereza wange Yobu, muweeyo ssaddaaka eyokebwa era omuweereza wange Yobu ajja kubasabira.+ Ye gwe nnaawuliriza nneme okubabonereza olw’obusirusiru bwammwe, kubanga temunjogeddeeko bya mazima ng’omuweereza wange Yobu.”
9 Awo Erifaazi Omutemani ne Birudaadi Omusuuki ne Zofali Omunaamasi, ne bagenda ne bakola nga Yakuwa bwe yabagamba. Yakuwa n’akkiriza essaala ya Yobu.
10 Yobu bwe yamala okusabira mikwano gye,+ Yakuwa n’akomya okubonaabona kwa Yobu+ n’amuddizaawo eby’obugagga bye. Yakuwa n’amuwa ebintu ebikubisaamu emirundi ebiri ebyo bye yalina olubereberye.+ 11 Baganda ba Yobu bonna ne bannyina n’abo abaali mikwano gye+ ne bajja ne baliira wamu naye ekijjulo mu nnyumba ye. Ne bamusaasira era ne bamubudaabuda olw’ebizibu byonna Yakuwa bye yakkiriza okumutuukako. Buli omu ku bo n’amuwa ssente ng’ekirabo n’empeta eya zzaabu.
12 Yakuwa yawa Yobu emikisa mu kiseera ky’obulamu bwe ekyasembayo okusinga ekyasooka,+ Yobu n’aba n’endiga 14,000, eŋŋamira 6,000, emigogo gy’ente 1,000, n’endogoyi enkazi 1,000.+ 13 Era yafuna abaana ab’obulenzi abalala musanvu n’ab’obuwala basatu.+ 14 Omuwala eyasooka yamutuuma Yemima, ow’okubiri yamutuuma Keeziya, ate ow’okusatu n’amutuuma Kereni-kappuki. 15 Mu nsi yonna temwali bakazi balabika bulungi nga bawala ba Yobu, era kitaabwe yabawa obusika awamu ne bannyinaabwe.
16 Oluvannyuma lw’ebyo, Yobu yawangaala emyaka 140, n’alaba abaana be n’abazzukulu okutuukira ddala ku bannakasatwe. 17 Yobu n’afa ng’akaddiye era ng’amatidde ennaku z’obulamu bwe.