Isaaya
31 Zibasanze abo abagenda e Misiri okufunayo obuyambi,+
Abo abeesiga embalaasi,+
Abeesiga amagaali g’olutalo olw’okuba mangi,
Era abeesiga embalaasi z’olutalo* olw’okuba za maanyi.
Naye tebeesiga Mutukuvu wa Isirayiri,
Era tebanoonya Yakuwa.
2 Kyokka naye mugezi era alireeta akabi,
Era talikyusa mu bigambo bye.
Alibonereza ennyumba y’abakozi b’ebibi
Awamu n’abo abayamba abakozi b’ebibi.+
3 Abamisiri nabo bantu buntu, si Katonda;
Embalaasi zaabwe mibiri bubiri so si myoyo.+
Yakuwa bw’aligolola omukono gwe,
Buli aliba ayamba alyesittala,
Na buli aliba ayambibwa aligwa;
Bonna balisaanawo lumu.
4 Kubanga bw’ati Yakuwa bw’aŋŋambye:
“Ng’empologoma bw’efugula, ng’empologoma envubuka ey’amaanyi bw’efugula ng’erina omuyiggo,
Ng’ekibinja ky’abasumba kiyitiddwa okugirumba,
N’etatya maloboozi gaabwe
Wadde okwekanga olw’oluyoogaano lwabwe,
Ne Yakuwa ow’eggye bw’atyo bw’aliba ng’akka okulwanirira
Olusozi Sayuuni n’entikko yaalwo.
5 Ng’ekinyonyi bwe kikka embiro okulwanirira abaana baakyo, ne Yakuwa ow’eggye bw’atyo bw’alirwanirira Yerusaalemi.+
Alikirwanirira era alikiwonya.
Alikitaasa era alikinunula.”
6 “Mudde eri Oyo gwe mwajeemera ennyo, mmwe abantu ba Isirayiri.+ 7 Ku lunaku olwo buli muntu alireka bakatonda be aba ffeeza abatalina mugaso ne bakatonda be aba zzaabu abatalina mugaso, be mwakola n’emikono gyammwe ne mwonoona.
8 Omwasuli alittibwa na kitala, naye si eky’abantu;
Ekitala ekitali kya bantu kirimusaanyaawo.+
Alidduka olw’ekitala,
Era abavubuka be balikozesebwa emirimu egy’obuddu.
9 Olwazi lwe lulivaawo olw’okutya,
N’abaami be balitya nnyo olw’ekikondo,” Yakuwa bw’agamba,
Nnannyini kitangaala ekiri* mu Sayuuni, n’ekyokero ekiri mu Yerusaalemi.