Isaaya
64 Singa wayuzaamu eggulu n’okka wansi,
Ensozi ne zikankanira mu maaso go,
2 Ne kiba ng’omuliro bwe gukwata obuku ne bwaka,
Ne gweseza amazzi,
Abalabe bo banditegedde erinnya lyo,
Era amawanga gandikankanidde mu maaso go!
3 Bwe wakola ebintu ebiwuniikiriza bye twali tutasuubira,+
Wakka wansi, ensozi ne zikankanira mu maaso go.+
4 Okuva edda tewali yali awulidde oba eyali ategedde,
Oba eriiso eryali lirabye Katonda omulala okuggyako ggwe,
5 Ozze eri abo abasanyukira okukola ekituufu,+
Abo abakujjukira ne batambulira mu makubo go.
Laba! Wasunguwala bwe twali twonoona,+
Twayonoona okumala ekiseera kiwanvu.
Kati olwo tugwanidde okulokolebwa?
6 Ffenna tufuuse ng’omuntu atali mulongoofu,
Era ebikolwa byaffe byonna eby’obutuukirivu biringa ekiwero omukazi ali mu nsonga ky’akozesezza.+
Ffenna tujja kuwotoka ng’ekikoola,
Era ensobi zaffe zijja kututwala ng’abatwalibwa embuyaga.
7 Tewali n’omu akoowoola linnya lyo,
Tewali n’omu yeekubiriza kukwekwatako,
Kubanga otukwese obwenyi bwo,+
8 Naye kaakano, Ai Yakuwa, ggwe Kitaffe.+
Ffe tuli bbumba, era ggwe Mubumbi waffe;*+
Ffenna tuli mulimu gwa mikono gyo.
9 Ai Yakuwa, tosunguwala nnyo,+
Era tojjukira nsobi zaffe mirembe na mirembe.
Tukwegayiridde, tutunuulire, kubanga ffenna tuli bantu bo.
10 Ebibuga byo ebitukuvu bifuuse ddungu.
Sayuuni kifuuse ddungu,
Yerusaalemi kifuuse matongo.+
11 Ennyumba* yaffe entukuvu era ey’ekitiibwa,*
Bajjajjaffe mwe baakutendererezanga,
Yayokebwa omuliro,+
Era n’ebintu byonna bye twali tutwala nga bya muwendo byayonoonebwa.
12 Ai Yakuwa, toobeeko ky’okolawo wadde ng’ebyo byonna byaliwo?
Onoosigala osirise busirisi n’otuleka okubonaabona ennyo bwe tuti?+