1 Abakkolinso
6 Omuntu yenna mu mmwe bw’abaako ky’avunaana munne+ amutwala mu kkooti eri abantu abatali batuukirivu, n’atamutwala eri abatukuvu? 2 Oba temumanyi nti abatukuvu be bajja okusalira ensi omusango?+ Bwe kiba nti mmwe mugenda okusalira ensi omusango, temusobola kusala musango mu busonga obutono? 3 Temumanyi nti tujja kusalira bamalayika omusango?+ Kati olwo lwaki tetusala misango egy’omu bulamu buno? 4 Bwe muba n’emisango egy’omu bulamu buno,+ mugitwala eri abo abanyoomebwa ekibiina? 5 Njogera kubakwasa nsonyi. Tewali muntu mugezi mu mmwe asobola okulamula baganda be, 6 ow’oluganda alyoke atwale muganda we mu kkooti eri abatali bakkiriza?
7 Bwe muloopagana mu kkooti kiba kiraga nti muwanguddwa. Lwaki temumala gakkiriza ne muyisibwa obubi?+ Lwaki temumala gakkiriza ne mukumpanyizibwa? 8 Naye muyisa bubi baganda bammwe era mubakumpanya.
9 Temumanyi nti abatali batuukirivu tebalisikira Bwakabaka bwa Katonda?+ Temubuzaabuzibwanga. Abagwenyufu,*+ abasinza ebifaananyi,+ abenzi,+ abasajja abeewaayo okuliibwa ebisiyaga,+ abalya ebisiyaga,*+ 10 ababbi, ab’omululu,+ abatamiivu,+ abavumi, n’abanyazi, tebalisikira Bwakabaka bwa Katonda.+ 11 Abamu ku mmwe mwali ng’abo. Naye kaakano munaaziddwa,+ mutukuziddwa,+ era muyitiddwa batuukirivu+ mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo era n’omwoyo gwa Katonda waffe.
12 Ebintu byonna bikkirizibwa gye ndi, naye si byonna nti bigasa.+ Ebintu byonna bikkirizibwa gye ndi, naye sijja kukkiriza kufugibwa kintu kyonna. 13 Emmere ya lubuto, n’olubuto lwa mmere; naye byombi Katonda ajja kubiggyawo.+ Omubiri si gwa bikolwa bya bugwenyufu* wabula gwa Mukama waffe,+ ne Mukama waffe wa mubiri. 14 Naye Katonda yazuukiza Mukama waffe+ era naffe ajja kutuzuukiza+ okuyitira mu maanyi ge.+
15 Temumanyi nti emibiri gyammwe bitundu bya Kristo?+ Kati olwo nnyinza okuddira ebitundu bya Kristo ne mbigatta ku malaaya? N’akatono! 16 Temumanyi nti oyo eyeegatta ku malaaya bombi baba omubiri gumu? Kubanga Katonda agamba nti, “Ababiri bajja kuba omubiri gumu.”+ 17 Naye oyo eyeegatta ku Mukama waffe, bombi baba omu mu mwoyo.+ 18 Muddukenga ebikolwa eby’obugwenyufu.*+ Buli kibi omuntu ky’akola kiba bweru wa mubiri gwe, naye oyo eyenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu aba akola ekibi ku mubiri gwe.+ 19 Temumanyi nti omubiri gwammwe ye yeekaalu+ y’omwoyo omutukuvu oguli mu mmwe, gwe mwafuna okuva eri Katonda?+ Era temwerinaako bwannannyini,+ 20 kubanga mwagulwa omuwendo munene.+ Kale mugulumize Katonda+ mu mibiri gyammwe.+