1 Samwiri
8 Samwiri bwe yakaddiwa. n’alonda batabani be okuba abalamuzi ba Isirayiri. 2 Mutabani we omubereberye yali ayitibwa Yoweeri, ate ow’okubiri ng’ayitibwa Abiya;+ baali balamuzi mu Beeru-seba. 3 Naye batabani be tebaatambulira mu makubo ge; beefuniranga ebintu mu makubo amakyamu,+ baalyanga enguzi,+ era baasalirizanga nga basala emisango.+
4 Abakadde ba Isirayiri bonna baakuŋŋaana ne bagenda eri Samwiri e Laama. 5 Baamugamba nti: “Laba! Ggwe okaddiye, naye batabani bo tebatambulira mu makubo go. Kale kaakano tulondere kabaka atulamulenga nga bwe kiri mu mawanga amalala gonna.”+ 6 Naye tekyasanyusa* Samwiri bwe baamugamba nti: “Tuwe kabaka atulamulenga.” Awo Samwiri n’asaba Yakuwa, 7 era Yakuwa n’amugamba nti: “Wuliriza ebyo byonna abantu bye bakugamba, kubanga tebagaanye ggwe, wabula nze gwe bagaanye okuba kabaka waabwe.+ 8 Bakoze nga bwe bazze bakola okuva ku lunaku lwe nnabaggya e Misiri okutuusa leero; babadde banvaako+ ne baweereza bakatonda abalala,+ era ekyo naawe kye bakukoze. 9 Wuliriza kye bagamba. Naye balabule; babuulire ebyo kabaka anaabafuganga by’ajja okubeetaagisa.”
10 Awo Samwiri n’ategeeza abantu abaali bamusabye kabaka byonna Yakuwa bye yali ayogedde. 11 Yabagamba nti: “Bino kabaka anaabafuga by’ajja okubeetaagisa:+ Ajja kutwala batabani bammwe+ abateeke ku magaali ge+ era abafuule abasajja be abeebagala embalaasi,+ era abamu bajja kuddukiranga mu maaso g’amagaali ge. 12 Ate era ajja kwerondera abaami abakulira enkumi+ n’abaami abakulira ataano,+ era abamu bajja kumulimiranga+ era bamukungulirenga emmere ye,+ era bamuweesezenga eby’okulwanyisa n’ebintu eby’oku magaali ge.+ 13 Ajja kutwala bawala bammwe bakolenga amafuta ag’akaloosa, era bafumbenga emmere n’emigaati.+ 14 Ajja kutwala ebibanja byammwe ebisingayo obulungi, n’ennimiro zammwe ez’emizabbibu n’ez’emizeyituuni+ ezisingayo obulungi, abiwe abaweereza be. 15 Ajja kutwala ekimu eky’ekkumi eky’ennimiro zammwe ez’emmere ey’empeke n’eky’ennimiro zammwe ez’emizabbibu, era ajja kukiwa abakungu be ab’omu lubiri n’abaweereza be. 16 Ajja kutwala abaweereza bammwe abakazi n’abasajja n’amagana gammwe agasingayo obulungi, n’endogoyi zammwe, era ajja kubikozesa okukola emirimu gye.+ 17 Ajja kutwala ekimu eky’ekkumi eky’ebisibo byammwe,+ era nammwe mujja kufuuka baweereza be. 18 Ekiseera kijja lwe mulikaaba olwa kabaka gwe mwerondedde,+ naye Yakuwa talibaddamu.”
19 Naye abantu tebaawuliriza Samwiri, era baagamba nti: “Wadde kiri kityo, ffe twagala kuba na kabaka anaatufuganga. 20 Olwo naffe tujja kuba ng’amawanga amalala gonna, era kabaka waffe ajja kutulamulanga era ajja kutukulemberanga era atulwanire entalo zaffe.” 21 Samwiri bwe yamala okuwulira ebyo byonna abantu bye baayogera, n’abitegeeza Yakuwa. 22 Awo Yakuwa n’agamba Samwiri nti: “Wuliriza kye bagamba, obalondere kabaka abafuge.”+ Awo Samwiri n’agamba abantu b’omu Isirayiri nti: “Buli omu addeyo mu kibuga ky’ewaabwe.”