147 Mutendereze Ya!
Kirungi okuyimba ennyimba ezitendereza Katonda waffe;
Kisanyusa nnyo era kisaana okumutendereza!+
2 Yakuwa azimba Yerusaalemi;+
Akuŋŋaanya wamu abantu ba Isirayiri abaasaasaana.+
3 Awonya abamenyese omutima;
Asiba ebiwundu byabwe.
4 Abala emmunyeenye;
Zonna aziyita amannya gaazo.+
5 Mukama waffe mukulu era alina amaanyi mangi nnyo;+
Amagezi ge tegaliiko kkomo.+
6 Yakuwa ayimusa abawombeefu,+
Naye ababi abasuula ku ttaka.
7 Muyimbire Yakuwa ennyimba ez’okwebaza;
Muyimbire Katonda waffe ennyimba ezimutendereza nga musunirako entongooli;
8 Muyimbire Oyo abikka eggulu ebire,
Awa ensi enkuba,+
Ameza omuddo+ ku nsozi.
9 Awa ensolo emmere,+
Ne bannamuŋŋoona abato abagikaabira.+
10 Amaanyi g’embalaasi tegamuwuniikiriza,+
N’amagulu g’omuntu ag’amaanyi tegamwewuunyisa.+
11 Yakuwa asanyukira abo abamutya,+
Asanyukira abo abalindirira okwagala kwe okutajjulukuka.+
12 Gulumiza Yakuwa ggwe Yerusaalemi.
Tendereza Katonda wo ggwe Sayuuni.
13 Anyweza ebisiba by’enzigi z’ekibuga kyo;
Awa abaana bo omukisa.
14 Aleeta emirembe mu kitundu kyo;+
Akukkusa eŋŋaano esingayo obulungi.+
15 Aweereza ekiragiro kye ku nsi;
Ekigambo kye kidduka mbiro.
16 Aweereza omuzira ne guba ng’ebyoya by’endiga;+
Asaasaanya omuzira ne guba ng’evvu.+
17 Asuula amayinja g’omuzira ng’obukunkumuka bw’omugaati.+
Ani ayinza okugumira obunnyogovu bwe?+
18 Atuma ekigambo kye ne bisaanuuka.
Akunsa embuyaga ye,+ amazzi ne gakulukuta.
19 Alangirira ekigambo kye eri Yakobo,
Alangirira amateeka ge n’ennamula ye eri Isirayiri.+
20 Tewali ggwanga ddala ly’akoledde ekyo;+
Tebalina kye bamanyi ku nnamula ye.
Mutendereze Ya!+