Okuva
2 Mu kiseera ekyo, omusajja omu ow’omu nnyumba ya Leevi yawasa muwala wa Leevi.+ 2 Omukazi oyo n’aba olubuto n’azaala omwana ow’obulenzi. Bwe yalaba ng’omwana alabika bulungi, n’amukweka okumala emyezi esatu.+ 3 Bwe yalaba nga takyayinza kumukweka,+ n’afuna ekibaya eky’ebitoogo* n’akisiigako envumbo n’amuteekamu, n’akiteeka mu kisaalu ku mabbali g’Omugga Kiyira. 4 Naye mwannyina+ w’omwana oyo n’ayimirira walako, asobole okulaba ekinaamutuukako.
5 Muwala wa Falaawo bwe yajja ku Mugga Kiyira okunaaba, abaweereza be abakazi nga batambulira ku mabbali ga Kiyira, n’alaba ekibaya mu kisaalu. Amangu ago n’atuma omuzaana we akireete.+ 6 Bwe yakibikkula n’alaba omwana ng’akaaba, n’amukwatirwa ekisa, naye n’agamba nti: “Ono y’omu ku baana b’Abebbulaniya.” 7 Mwannyina w’omwana n’agamba muwala wa Falaawo nti: “Ŋŋende nkuyitire omu ku bakazi Abebbulaniya anaayonsa omwana era anaakuyamba okumulabirira?” 8 Muwala wa Falaawo n’amugamba nti: “Genda!” Amangu ago omuwala n’agenda n’ayita nnyina w’omwana.+ 9 Muwala wa Falaawo n’amugamba nti: “Twala omwana ono omuyonse era omulabirire, nja kukusasula.” Bw’atyo omukazi n’atwala omwana n’amulabirira. 10 Omwana bwe yakula, n’amutwalira muwala wa Falaawo, n’afuuka mutabani we.+ N’amutuuma Musa,* era n’agamba nti: “Kubanga nnamuggya mu mazzi.”+
11 Mu nnaku ezo, Musa bwe yali ng’akuze,* yagenda eri baganda be okulaba engeri gye baali bakozesebwamu emirimu egy’amaanyi,+ n’alaba Omumisiri ng’akuba Omwebbulaniya, omu ku baganda be. 12 N’amagamaga n’alaba nga tewali amulaba, n’atta Omumisiri n’amukweka mu musenyu.+
13 Ku lunaku olwaddirira yaddayo n’asanga abasajja babiri Abebbulaniya nga balwana. N’agamba eyali mu nsobi nti: “Lwaki okuba munno?”+ 14 Awo omusajja oyo n’amuddamu nti: “Ani yakulonda okutufuga era okuba omulamuzi waffe? Oyagala kunzita nga bwe wasse Omumisiri?”+ Musa n’atya, n’agamba nti: “Mazima ddala kye nnakoze kimanyise!”
15 Falaawo bwe yakiwulira, n’ayagala okutta Musa, naye Musa n’adduka Falaawo n’agenda abeere mu nsi ya Midiyaani.+ Bwe yatuuka eyo n’atuula okumpi n’oluzzi. 16 Mu Midiyaani+ waaliyo kabona eyalina abawala musanvu. Abawala abo bajja okusena amazzi n’okujjuza ebyesero okuwa endiga za kitaabwe amazzi. 17 Naye nga bwe kyabanga bulijjo, abasumba bajja ne babagobawo. Awo Musa n’asituka n’ayamba* abawala abo era n’awa endiga zaabwe amazzi. 18 Bwe baddayo eka eri kitaabwe Leweri,*+ n’ababuuza nti: “Kizze kitya okuba nti leero mukomyewo mangu awaka?” 19 Ne bamuddamu nti: “Waliwo Omumisiri+ atuyambye n’atuwonya abasumba, n’atusenera amazzi era n’awa n’endiga amazzi.” 20 N’agamba bawala be nti: “Kati olwo ye ali ludda wa? Lwaki temuzze naye? Mugende mumuyite alye naffe emmere.” 21 Musa n’akkiriza okubeera n’omusajja oyo, era omusajja oyo n’addira muwala we Zipola+ n’amuwa Musa. 22 Oluvannyuma, Zipola n’azaala omwana ow’obulenzi, Musa n’agamba nti: “Nja kumutuuma Gerusomu,*+ kubanga ndi mugwira mu nsi eno.”+
23 Nga wayiseewo ekiseera kiwanvu,* kabaka wa Misiri yafa,+ naye Abayisirayiri beeyongera okusinda olw’obuddu n’okukaaba olw’ennaku, era okukaaba kwabwe olw’obuddu ne kutuuka eri Katonda ow’amazima.+ 24 Awo Katonda n’awulira okusinda kwabwe,+ era n’ajjukira endagaano gye yakola ne Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo.+ 25 Katonda n’alaba okubonaabona kw’Abayisirayiri, n’abakwatirwa ekisa.