Ekyamateeka
19 “Yakuwa Katonda bw’anaazikiriza amawanga gannannyini nsi Yakuwa Katonda wo gy’akuwa, n’ogyeddiza era n’otandika okubeera mu bibuga byabwe ne mu mayumba gaabwe,+ 2 ojja kulonda ebibuga bisatu mu nsi yo Yakuwa Katonda wo gy’akuwa.+ 3 Ensi Yakuwa Katonda wo gy’akuwa ojja kugyawulamu ebitundu bisatu, era okole amakubo agagenda mu bibuga ebyo, oyo yenna anaabanga asse omuntu anaayitanga omwo n’addukira eyo.
4 “Bwe kiti bwe kinaabanga ku muntu asse omuntu n’addukira omwo asobole okusigala nga mulamu: Bw’anattanga munne mu butanwa ng’abadde teyamukyawa,+ 5 okugeza, bw’agendanga ne munne mu kibira okutema emiti, n’agalula embazzi okutema omuti, embazzi n’ewanguka mu muyini n’ekuba munne n’afa, oyo anaabanga asse anaddukiranga mu kimu ku bibuga ebyo asobole okusigala nga mulamu.+ 6 Naye singa wabaawo olugendo luwanvu okutuuka mu kibuga, oyo awoolera eggwanga+ ayinza okumugoba olw’obusungu,* n’amutuukako era n’amutta, so ng’abadde tagwanira kufa, kubanga abadde teyakyawa munne.+ 7 Eno ye nsonga lwaki nkulagira nti: ‘Ojja kulonda ebibuga bisatu.’
8 “Yakuwa Katonda wo bw’aligaziya ekitundu kyo nga bwe yalayirira bajjajjaabo,+ n’akuwa ensi yonna gye yasuubiza okuwa bajjajjaabo,+ 9 —bw’oliba okutte ebiragiro bino byonna bye nkuwa leero, okwagalanga Yakuwa Katonda wo n’okutambuliranga mu makubo ge bulijjo+—awo ku bibuga bino ebisatu olyongerako ebirala bisatu.+ 10 Olwo tewaliba musaayi gutaliiko musango guliyiibwa+ mu nsi yo Yakuwa Katonda wo gy’akuwa okuba obusika, era tolibaako musango gwa kuyiwa musaayi.+
11 “Naye singa omuntu anaabanga yakyawa munne,+ n’amuteega n’amukolako akabi n’amutta era n’addukira mu kimu ku bibuga ebyo, 12 abakadde b’omu kibuga kye banaamutumyanga ne bamuggyayo ne bamuwaayo mu mukono gw’oyo awoolera eggwanga, n’attibwa.+ 13 Tomusaasiranga,* era oggyanga mu Isirayiri omusango gw’okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango,+ olyoke obeerenga bulungi.
14 “Bw’onoofuna obusika mu nsi Yakuwa Katonda wo gy’agenda okukuwa, tojjululanga bubonero obulamba ensalo ya muliraanwa wo+ bajjajjaabo bwe baliba bataddewo.
15 “Omujulizi omu taalumirizenga muntu olw’ensobi yonna oba olw’ekibi kyonna omuntu ky’anaabanga akoze.+ Ensonga eneekakasibwanga nga waliwo obujulizi bwa* bantu babiri oba basatu.+ 16 Omujulizi ow’ettima bw’anaalumirizanga omuntu nti aliko ekibi kye yakoze,+ 17 abantu abo bombi abanaabanga n’enkaayana banaayimiringa mu maaso ga Yakuwa, mu maaso ga bakabona n’abalamuzi abaliba baweereza mu kiseera ekyo.+ 18 Abalamuzi banaanoonyerezanga n’obwegendereza,+ era omujulizi bw’anaabanga ow’obulimba nga by’alumiriza muganda we bya bulimba, 19 munaamukoleranga ddala ekyo ky’abadde ayagala okukola muganda we,+ era oggyangawo ekibi mu mmwe.+ 20 Awo abanaabanga basigaddewo banaakiwuliranga ne batya, era tebaliddamu kukola kibi ng’ekyo mu mmwe.+ 21 Tomusaasiranga:*+ Obulamu bunaaweebwangayo olw’obulamu, eriiso olw’eriiso, erinnyo olw’erinnyo, omukono olw’omukono, ekigere olw’ekigere.+