Isaaya
61 Omwoyo gwa Yakuwa Mukama Afuga Byonna gundiko,+
Kubanga Yakuwa yanfukako amafuta okubuulira abawombeefu amawulire amalungi.+
Yantuma okusiba ebiwundu by’abo abalina emitima egimenyese,
Okulangirira nti abawambe bajja kuteebwa
Era nti n’amaaso g’abasibe gajja kuzibulirwa ddala,+
2 Okulangirira omwaka gw’okulagirwamu ekisa kya Yakuwa
N’olunaku lwa Katonda waffe olw’okuwoolerako eggwanga,+
Okubudaabuda abo bonna abakungubaga,+
3 Okuwa abo abakungubagira Sayuuni bye beetaaga,
Okubawa eky’oku mutwe mu kifo ky’evvu,
Amafuta ag’okusanyuka mu kifo ky’okukungubaga,
Ekyambalo eky’okutendereza mu kifo ky’omutima omunakuwavu.
4 Baliddamu okuzimba ebyayonooneka eby’edda;
Balizzaawo ebifo eby’edda ebyafuulibwa amatongo,+
Era balizzaawo ebibuga ebyayonoonebwa,+
Ebifo ebyasigala amatongo emyaka n’emyaka.+
5 “Bannaggwanga balijja ne balunda ebisibo byammwe,
Era abagwira+ balibalimira era balikola mu nnimiro zammwe ez’emizabbibu.+
7 Mu kifo ky’okukwatibwa ensonyi mulifuna emigabo gya mirundi ebiri,
Era mu kifo ky’okuswala balyogerera waggulu n’essanyu olw’omugabo gwabwe.
Balifuna emigabo gya mirundi ebiri mu nsi yaabwe.+
Essanyu lyabwe liriba lya lubeerera.+
Ndibeera mwenkanya ne mbawa empeera yaabwe,
Era ndikola nabo endagaano ey’olubeerera.+
Abo bonna abalibalaba balitegeera
Nti lye zzadde Yakuwa lye yawa omukisa.”+
10 Ndisanyukira nnyo mu Yakuwa.
Obulamu bwange bwonna bulijaganyiza mu Katonda wange.+