Mikka
7 Zinsanze, kubanga nfuuse ng’oyo
Atasanga kirimba kya zzabbibu ky’ayinza kulya,
Oba ettiini erisooka okwengera lye njagala ennyo,
Ng’okukungula kw’ebibala eby’omu kiseera eky’omusana
N’okw’ezzabbibu kuwedde.
Bonna bateega abantu okuyiwa omusaayi.+
Buli muntu ayigga muganda we n’ekitimba.
3 Emikono gyabwe mikugu mu kukola ebintu ebibi;+
Omwami asaba okubaako ky’aweebwa,
Omulamuzi alamulira mpeera,+
Omukulu ayogera kye yeegomba,+
Era bonna bateeseza wamu.*
4 Mu bo asingayo obulungi alinga amaggwa,
Ate asingayo okuba omwesimbu mu bo mubi okusinga olukomera olw’amaggwa.
Olunaku abakuumi bo lwe baayogerako, olunaku lw’obuyinike lujja.+
Era mujja kusoberwa.+
5 Temwesiga banywanyi bammwe,
Temwesiga mikwano gyammwe egy’oku lusegere.+
Weegendereze by’oyogera n’oyo eyeebase mu kifuba kyo.
6 Omwana ow’obulenzi anyooma kitaawe,
Omwana ow’obuwala akikinala ku nnyina,+
Muka mwana akikinala ku nnyazaala we;+
Abalabe b’omuntu be bantu ab’omu nnyumba ye.+
7 Naye nze Yakuwa gwe nnaatunuuliranga.+
Nnaalindiriranga n’obugumiikiriza Katonda ow’obulokozi bwange.+
Katonda wange ajja kumpulira.+
8 Ggwe omulabe* wange, tosanyuka olw’obuzibu bwe ndimu.
Wadde nga ngudde, nja kuyimuka;
Wadde nga ndi mu nzikiza, Yakuwa ajja kuba kitangaala gye ndi.
9 Nja kugumiikiriza obusungu bwa Yakuwa
—Kubanga nsobezza gy’ali+—
Okutuusa lw’anampolereza, ne ndagibwa obwenkanya.
Ajja kundeeta mu kitangaala,
Nja kutunuulira obutuukirivu bwe.
10 Omulabe wange eyali aŋŋamba nti:
“Yakuwa Katonda wo aliwa?”+
Ajja kukiraba aswale nnyo.
Amaaso gange gajja kumutunuulira.
Ajja kulinnyirirwa ng’ebisooto by’omu nguudo.
11 Luliba lunaku lwa kuzimba bbugwe wo ow’amayinja,
Ku lunaku olwo, ensalo eryongezebwayo.*
12 Ku lunaku olwo balijja gy’oli
Nga bava mu Bwasuli ne mu bibuga by’e Misiri,
Okuva e Misiri okutuukira ddala ku Mugga;*
Okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja, n’okuva ku lusozi okutuuka ku lusozi.+
13 Ensi erifuuka matongo olw’abo abagibeeramu,
Olw’ebyo bye bakoze.*
14 Lunda abantu bo ng’okozesa omuggo gwo; lunda ekisibo ky’obusika bwo,+
Abo abaali babeera bokka mu kibira—wakati mu nnimiro y’emiti egy’ebibala.
Ka balye ku by’e Basani n’eby’e Gireyaadi+ nga bwe kyali mu biseera eby’edda.
15 “Nga bwe kyali nga muva mu nsi ya Misiri,
Ndibalaga ebintu eby’ekitalo.+
16 Amawanga galiraba ne gakwatibwa ensonyi wadde nga ga maanyi nnyo.+
Balikwata ku mimwa gyabwe;
Baliziba amatu.
17 Balirya enfuufu ng’emisota;+
Okufaananako ebyewalula eby’omu nsi, balijja nga bakankana okuva mu bigo byabwe.
Balijja eri Yakuwa Katonda waffe nga batidde,
Era balimutya.”+
Tolisunguwala mirembe na mirembe,
Kubanga osanyukira okwagala okutajjulukuka.+
19 Oliddamu okutusaasira,+ era olirinnyirira* ebisobyo byaffe.
Ebibi byabwe byonna olibisuula ebuziba mu nnyanja.+
20 Oliba mwesigwa eri Yakobo,
Oliraga Ibulayimu okwagala okutajjulukuka.
Nga bwe walayirira bajjajjaffe mu nnaku ez’edda.+