Abeefeso
6 Abaana, mugonderenga bazadde bammwe+ mu Mukama waffe kubanga kino kya butuukirivu. 2 “Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa”+ kye kiragiro ekisooka ekiriko ekisuubizo nti: 3 “Osobole okubeera obulungi* era owangaale ku nsi.” 4 Nammwe bataata temunyiizanga baana bammwe,+ naye mubakulize mu kukangavvula+ ne mu kubuulirira kwa* Yakuwa.*+
5 Abaddu, mugonderenga bakama bammwe ab’oku nsi,*+ nga mubatya, nga mubassaamu ekitiibwa mu bwesimbu bw’emitima gyammwe, nga bwe mugondera Kristo, 6 si mu biseera ebyo byokka nga babalaba,+ olw’okwagala okusanyusa obusanyusa abantu, naye ng’abaddu ba Kristo, nga mukola Katonda ky’ayagala n’omutima gwammwe gwonna.+ 7 Muweereze bakama bammwe n’obunyiikivu nga mulinga abaweereza Yakuwa,*+ so si abantu, 8 kubanga mukimanyi nti ekirungi kyonna buli omu ky’akola, Yakuwa* alikimusasula,+ k’abeere nga muddu oba nga si muddu. 9 Era nammwe bakama b’abaddu, mubayisenga mu ngeri y’emu, nga temubatiisatiisa, kubanga mukimanyi nti Mukama waabwe era Mukama wammwe ali mu ggulu,+ era tasosola.
10 Eky’enkomerero, mweyongere okufuna amaanyi+ mu Mukama waffe ne mu maanyi ge amangi. 11 Mwambale eby’okulwanyisa byonna+ ebiva eri Katonda musobole okuba abanywevu nga muziyiza enkwe z’Omulyolyomi; 12 kubanga tetumeggana+ na musaayi na mubiri, wabula tumeggana n’obufuzi, n’obuyinza, n’abafuzi b’ensi ab’ekizikiza kino, n’emyoyo emibi+ egiri mu bifo eby’omu ggulu. 13 N’olw’ensonga eno, mwambale eby’okulwanyisa byonna ebiva eri Katonda,+ musobole okwerwanako ku lunaku olubi era oluvannyuma lw’okukola ebintu byonna musobole okuba abanywevu.
14 N’olwekyo, mube banywevu, nga mwesibye mu biwato byammwe+ olukoba olw’amazima, nga mwambadde eky’omu kifuba eky’obutuukirivu,+ 15 era nga munaanise engatto mu bigere byammwe nga muli beetegefu okubuulira amawulire amalungi ag’emirembe.+ 16 Ng’oggyeeko ebyo byonna, mukwate engabo ennene ey’okukkiriza+ ejja okubasobozesa okuzikiza obusaale bwonna obw’omuliro obw’omubi.+ 17 Ate era mukkirize sseppeewo ey’obulokozi+ n’ekitala eky’omwoyo, nga kino kye Kigambo kya Katonda.+ 18 Mu kiseera kye kimu, mweyongere okusaba+ buli kiseera mu mwoyo,+ nga muyitira mu kusaba n’okwegayirira okwa buli ngeri. N’olwekyo mutunulenga, buli kiseera nga mwegayirira ku lw’abatukuvu bonna. 19 Era nange munsabire, mpeebwe ebigambo bwe njasamya akamwa, nsobole okwogera n’obuvumu nga mmanyisa ekyama ekitukuvu eky’amawulire amalungi,+ 20 ge mpeerereza ng’omubaka+ nga ndi mu njegere, era nsobole okugoogerako n’obuvumu nga bwe kiŋŋwanidde.
21 Tukiko,+ ow’oluganda omwagalwa era omuweereza omwesigwa mu Mukama waffe ajja kubategeeza buli kimu musobole okumanya ebinkwatako ne bye nkola.+ 22 Olw’ekigendererwa ekyo kyennyini, mmutuma gye muli musobole okumanya ebintu ebitukwatako era ababudeebude.
23 Emirembe n’okwagala awamu n’okukkiriza okuva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bibeere n’ab’oluganda. 24 Ekisa eky’ensusso kibeere n’abo bonna abalina okwagala okw’olubeerera eri Mukama waffe Yesu Kristo.