2 Abakkolinso
12 Nnina okwewaana. Tekigasa, naye nja kwogera ku kwolesebwa+ n’okubikkulirwa kwa Mukama waffe.+ 2 Mmanyi omuntu nga muyigirizwa wa Kristo eyakwakkulibwa n’atwalibwa mu ggulu ery’okusatu emyaka 14 emabega—simanyi obanga yakwakkulibwa ng’ali mu mubiri oba nga tali mu mubiri; Katonda y’amanyi. 3 Yee, mmanyi omuntu ng’oyo—simanyi obanga yakwakkulibwa ng’ali mu mubiri obanga tali mu mubiri; Katonda y’amanyi— 4 eyakwakkulibwa n’atwalibwa mu lusuku lwa Katonda era n’awulira ebigambo ebitayogerekeka, omuntu by’atakkirizibwa kwogera. 5 Nja kwewaana olw’omuntu ng’oyo, naye sijja kwewaana olw’ebyo ebinkwatako, okuggyako olw’obunafu bwange. 6 Ne bwe mba nga njagala okwewaana, siba musirusiru kubanga njogera mazima. Naye nneewala okwewaana, waleme kubaawo andowoozaako ekisukka ku ekyo kye ndi oba ku ekyo ky’awulira okuva gye ndi, 7 olw’ebintu ebingi bye nnabikkulirwa.
N’olwekyo, olw’okunziyiza okwegulumiza ekisukkiridde, nnaweebwa eriggwa mu mubiri,+ malayika wa Sitaani okunkubanga, nneme okwegulumiza ekisukkiridde. 8 Emirundi esatu nneegayirira Mukama waffe linveemu, 9 naye n’aŋŋamba nti: “Ekisa kyange eky’ensusso kikumala; kubanga amaanyi gange gatuukirira mu bunafu.”+ N’olwekyo, nsanyuka nnyo okwewaana olw’obunafu bwange, amaanyi ga Kristo galyoke gambikkeko nga weema. 10 N’olwekyo, ku lwa Kristo nsanyukira obunafu, okuvumibwa, okubeera mu bwetaavu, okuyigganyizibwa, n’ebizibu. Kubanga bwe mbeera omunafu lwe mbeera ow’amaanyi.+
11 Nfuuse musirusiru gye muli. Singa mwali munsembye sandiwaliriziddwa kufuuka musirusiru. Tewali kintu na kimu abatume bammwe abakulu ennyo kye bansinga wadde nga sirina bwe ndi.+ 12 Mazima ddala, mwafuna obukakafu obulaga nti ndi mutume okuyitira mu bugumiikiriza,+ mu bubonero, mu byamagero, ne mu bikolwa eby’amaanyi.+ 13 Kiki ekyaviirako ebibiina ebirala okubasinga? Oboolyawo lwa kuba saali mugugu gye muli.+ Mbasaba munsonyiwe ensobi eyo.
14 Laba! Guno gwe mulundi ogw’okusatu nga ndi mwetegefu okujja gye muli, naye sijja kuba mugugu gye muli. Kubanga sinoonya bintu byammwe wabula nnoonya mmwe;+ kubanga abaana+ si be bateekeddwa okuteekerateekera abazadde wabula abazadde be basaanidde okuteekerateekera abaana baabwe. 15 Nja kusanyuka okuwaayo buli kintu era nange kennyini nkozesebwe mu bujjuvu olw’obulamu bwammwe.+ Bwe kiba nti mbaagala nnyo, mmwe temugwanidde kunjagala nga nze bwe mbaagala? 16 Ka kibe kityo, saabatikka mugugu.+ Naye mugamba nti, nnali “mukujjukujju” era nnabakwasa okuyitira mu “bulimba.” 17 Mu abo be nnatuma gye muli, mulimu gwe nnakozesa okwenoonyeza ebyange ku bwange okuva gye muli? 18 Nnagamba Tito okujja gye muli era ne mmusindika okujja n’ow’oluganda. Tito yali yeenoonyeza bibye ku bubwe bwe yali nammwe?+ Tetwatambulira mu mwoyo gwe gumu? Tetweyisa mu ngeri y’emu?
19 Mubadde mulowooza nti twewozaako gye muli? Twogera mu maaso ga Katonda ng’abagoberezi ba Kristo. Abaagalwa, ebintu byonna bye tukola, tubikola olw’okubazimba. 20 Naye ntya nti oboolyawo bwe ndijja gye muli, nnyinza okubasanga nga temuli nga bwe nnandyagadde mubeere era nange nnyinza obutabeera nga bwe mwandyagadde mbeere, naye oboolyawo wayinza okubaawo okuyomba, obuggya, obusungu, enkaayana ez’amaanyi, okugeya, eŋŋambo, okwegulumiza, n’akavuyo. 21 Oboolyawo bwe ndikomawo eyo nate, Katonda wange alintoowaza mu mmwe, ne nnakuwalira bangi ku abo abaayonoona naye ne bateenenya obutali bulongoofu bwabwe, obwenzi,* n’obugwagwa.*