Isaaya
30 “Zisanze abaana abajeemu,”+ Yakuwa bw’agamba,
“Abagoberera enteekateeka ezitali zange,+
Abakola emikago naye nga tebagoberera bulagirizi bwa mwoyo gwange,
Okwongera ekibi ku kibi.
2 Bagenda e Misiri+ nga tebanneebuuzizzaako,*+
Okufuna obukuumi okuva eri Falaawo,*
N’okufuna obuddukiro mu kisiikirize kya Misiri!
3 Naye obukuumi bwa Falaawo bulibakwasa ensonyi,
N’obuddukiro bw’ekisiikirize kya Misiri bulibaleetera okuswala.+
4 Kubanga abaami be bali mu Zowani,+
N’ababaka be batuuse e Kanesi.
5 Bonna baliswazibwa
Abantu abatabagasa,
Abatalina kye bayinza kubayamba wadde okubagasa,
Okuggyako okubaswaza n’okubaweebuula.”+
6 Obubaka obukwata ku nsolo ez’ebukiikaddyo:
Bayita mu nsi ey’obuyinike era ey’ebizibu,
Omuli empologoma, empologoma ewuluguma,
Omuli omusota ogw’obusagwa n’omusota ogubuuka ogw’omuliro,*
Batikka eby’obugagga byabwe ku ndogoyi
N’ebintu byabwe ku mabango g’eŋŋamira.
Naye ebintu ebyo tebirigasa bantu.
7 Obuyambi bwa Misiri tebugasa n’akamu.+
Ono kyenvudde mmuyita: “Lakabu+ atuula awo obutuuzi.”
8 “Kaakano genda okiwandiike ku kipande nga balaba,
Era kiwandiike mu kitabo,+
Kisobole okuba obujulizi obw’olubeerera
Mu kiseera eky’omu maaso.+
10 Bagamba abo abafuna okwolesebwa nti, ‘Temufuna kwolesebwa,’
Ne bannabbi nti, ‘Temutubuulira kwolesebwa kutuufu.+
Mutubuulire ebitunyumira; muteebereze ebintu eby’obulimba.+
11 Muve mu luguudo; muwabe okuva mu kkubo.
Mulekere awo okussa Omutukuvu wa Isirayiri mu maaso gaffe.’”+
12 Omutukuvu wa Isirayiri kyava agamba nti:
“Okuva bwe mugaanye ekigambo kino+
Ne mwesiga obukumpanya n’obulimba,
Era ne mussa obwesige mu ebyo,+
13 Gye muli okwonoona kuno kuliba ng’ekisenge ekirimu enjatika,
Ng’ekisenge ekiwanvu ekizzeemu ekibuto era ekiri okumpi okugwa.
Kirimenyekamenyeka mangu nnyo, mu kaseera buseera.
14 Kirimenyeka ng’ensumbi y’omubumbi ennene,
Kulimenyekeramenyekera ddala ne watabaawo kabajjo kasigalawo
Ke bayinza okutoozesa omuliro mu kyoto,
Oba ke bayinza okusenesa amazzi mu kitaba.”*
15 Kubanga bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna, Omutukuvu wa Isirayiri, bw’agamba:
“Bwe mulikomawo gye ndi ne muwummula, mulirokolebwa;
Amaanyi gammwe galiba mu kusigala nga muli bakkakkamu era nga munneesiga.”+
Naye temwakyagala.+
16 Mu kifo ky’ekyo mwagamba nti: “Nedda, tuliddukira ku mbalaasi!”
Kale muliziddukirako.
“Era tulyebagala embalaasi ezidduka ennyo!”+
Naye n’abaliba babagoba baliba badduka nnyo.+
17 Omuntu omu alitiisa abantu lukumi ne bakankana;+
Abantu bataano balibatiisa ne mudduka
Okutuusa abo abalisigalawo ku mmwe lwe baliba ng’omulongooti oguli waggulu ku ntikko y’olusozi,
Ng’ekikondo ekiri ku kasozi.+
Kubanga Yakuwa Katonda wa bwenkanya.+
Balina essanyu abo bonna abamulindirira.+
19 Abantu bwe balibeera mu Sayuuni, mu Yerusaalemi,+ tolikaaba.+ Alikukwatirwa ekisa ng’awulidde okuwanjaga kwo; alikwanukula amangu ddala nga yaakakuwulira.+ 20 Wadde nga Yakuwa alikuwa obuyinike ng’emmere era n’okunyigirizibwa ng’amazzi,+ Omuyigiriza wo Asingiridde talikwekweka nate, era amaaso go galiraba Omuyigiriza wo+ Asingiridde. 21 Bw’onoowabanga n’okyama ku mukono ogwa ddyo oba ku gwa kkono,+ amatu go ganaawuliranga ekigambo ekikuvaako emabega nga kigamba nti, “Lino lye kkubo.+ Mulitambuliremu.”
22 Olyonoona ffeeza eyabikkibwa ku bifaananyi byo ebyole ne zzaabu eyabikkibwa ku bifaananyi byo eby’ekyuma.*+ Olibisuula eri ng’asuula ekiwero omukazi ky’akozesezza ng’ali mu nsonga, n’obigamba nti, “Mugendere ddala!”*+ 23 Era alikuwa enkuba okufukirira ensigo z’olisiga mu ttaka,+ n’emmere ettaka gye liribaza eriba nnyingi nnyo era nga nnungi nnyo.+ Ku lunaku olwo ensolo zo ziririira mu malundiro amanene.+ 24 Era ente n’endogoyi ezirima mu nnimiro zirirya emmere etabuddwa obulungi, gye baawewa n’ekitiiyo n’ekkabi. 25 Emigga n’emyala girikulukutira+ ku buli lusozi oluwanvu na ku buli kasozi akawanvu, ku lunaku olulibaako okutta okw’amaanyi, eminaala lwe girigwa. 26 Era ekitangaala ky’omwezi ogw’eggabogabo kiriba ng’eky’enjuba; ekitangaala ky’enjuba kiryeyongera emirundi musanvu;+ kiriba ng’ekitangaala eky’ennaku omusanvu, ku lunaku Yakuwa lw’alisiba abantu be abamenyese+ era n’awonya ebiwundu ebinene by’aliba abatuusizzaako ng’abakuba.+
27 Laba! Erinnya lya Yakuwa lijja nga liva wala nnyo,
Lijja n’obusungu bwe obubuubuuka n’ebire ebikutte ennyo.
Emimwa gye gijjudde ekiruyi,
N’olulimi lwe lulinga omuliro ogusaanyaawo.+
28 Omwoyo* gwe gulinga omugga ogwanjaala ne gutuukira ddala mu bulago,
Okukuŋŋunta amawanga mu kakuŋŋunta ak’okuzikiriza;*
Era amawanga galiba gasibiddwa mu mba zaago+ enkoba ezigawabya.
29 Naye oluyimba lwo luliba ng’olwo oluyimbibwa ekiro
Era omutima gwo gulisanyuka ng’ogw’oyo
Atambula n’endere
Ng’agenda ku lusozi lwa Yakuwa, ku Lwazi lwa Isirayiri.+
30 Yakuwa alireetera abantu okuwulira eddoboozi lye ery’ekitiibwa+
Era alyolesa omukono gwe+ nga gukka n’obusungu obungi,+
Awamu n’olulimi lw’omuliro ogusaanyaawo,+
32 Era buli Yakuwa lw’aligalula omuggo gwe
Okubonereza Bwasuli
Ng’obugoma n’entongooli bivuga,+
Bw’aligolola omukono gwe mu lutalo okubalwanyisa.+
Atuumye enku nnyingi mu kinnya ekiwanvu era ekigazi;
Mulimu omuliro mungi nnyo n’enku nnyingi.
Omukka gwa Yakuwa, nga gulinga omugga gw’omuliro,*
Guligikumako omuliro.