Abebbulaniya
8 Eno ye nsonga enkulu mu ebyo bye twogerako: Tulina kabona asinga obukulu bw’atyo,+ era atudde ku mukono ogwa ddyo ogw’entebe ey’Ow’Ekitiibwa mu ggulu,+ 2 omuweereza* w’omu kifo ekitukuvu+ ne mu weema yennyini eyateekebwawo Yakuwa,* so si muntu. 3 Kubanga buli kabona asinga obukulu alondebwa okuwaayo ebirabo ne ssaddaaka; n’olwekyo, ono naye kyali kimwetaagisa okubaako ky’awaayo.+ 4 Singa yali ku nsi, teyandibadde kabona,+ kubanga waliwo abantu abawaayo ebirabo ng’Amateeka bwe galagira. 5 Abantu abo bakola emirimu gy’obuweereza obutukuvu, era obuweereza obwo kifaananyi era kisiikirize+ ky’ebintu eby’omu ggulu;+ nga Katonda bwe yawa Musa ekiragiro ng’anaatera okukola omulimu ogw’okuzimba weema. Yamugamba nti: “Kakasa nti okola ebintu byonna ng’ogoberera pulaani ekulagiddwa ku lusozi.”+ 6 Naye kaakano Yesu aweereddwa obuweereza obusingawo obulungi kubanga ye mutabaganya+ w’endagaano esingako obulungi,+ eyeesigamiziddwa ku bisuubizo ebisinga obulungi+ era ng’eteekeddwawo mu mateeka.
7 Singa endagaano eyasooka teyaliiko kya kunenyezebwa, ey’okubiri yandibadde teyeetaagisa.+ 8 Kubanga anenya abantu bw’agamba nti: “‘Laba! Ennaku zijja,’ Yakuwa* bw’agamba, ‘lwe ndikola endagaano empya n’ennyumba ya Isirayiri era n’ennyumba ya Yuda. 9 Teriba ng’endagaano gye nnakola ne bajjajjaabwe ku lunaku lwe nnabakwata ku mukono okubaggya mu nsi ya Misiri,+ kubanga baamenya endagaano yange, nange ne ndekera awo okubafaako,’ Yakuwa* bw’agamba.
10 “‘Eno ye ndagaano gye ndikola n’ennyumba ya Isirayiri oluvannyuma lw’ennaku ezo,’ Yakuwa* bw’agamba. ‘Nditeeka amateeka gange mu birowoozo byabwe, era ndigawandiika mu mitima gyabwe.+ Ndibeera Katonda waabwe era nabo baliba bantu bange.+
11 “‘Era buli muntu aliba takyayigiriza mutuuze munne, era buli omu aliba takyayigiriza muganda we ng’agamba nti: “Manya Yakuwa!”* Kubanga bonna balimmanya, okuva ku muto okutuuka ku mukulu. 12 Kubanga ndibasonyiwa ebikolwa byabwe ebitali bya butuukirivu, era siriddamu kujjukira bibi byabwe.’”+
13 Bw’ayogera ku “ndagaano empya,” eyo eyasooka aba agidibizza.+ Bwe kityo, eyo edibiziddwa era ekaddiye eneetera okuggwaawo.+