Omubuulizi
5 Weegenderezanga buli lw’ogenda mu nnyumba ya Katonda ow’amazima;+ okugenda okuwuliriza+ kisinga okuwaayo ssaddaaka ng’abasirusiru bwe bakola,+ kubanga tebamanyi nti kye bakola kibi.
2 Topapanga kwogera, era omutima gwo tegwanguyirizanga kwogera mu maaso ga Katonda ow’amazima,+ kubanga Katonda ow’amazima ali mu ggulu, naye ggwe oli ku nsi. Eyo ye nsonga lwaki ebigambo byo bisaanidde okuba ebitono.+ 3 Ebintu ebiteganya omuntu bye bimuviirako okuloota,+ era okwogera ennyo kuleetera omuntu okwogera eby’ekisirusiru.+ 4 Buli lw’obaako kye weeyamye eri Katonda, tolwangawo kukituukiriza;+ kubanga Katonda tasanyukira basirusiru.+ Kye weeyama okituukirizanga.+ 5 Waakiri oleme okweyama, okusinga okweyama n’ototuukiriza.+ 6 Toganyanga kamwa ko kukuleetera* kwonoona,+ era toyogeranga mu maaso ga malayika* nti tewagenderedde.+ Lwaki osunguwaza Katonda ow’amazima olw’ebyo by’oyogera, n’azikiriza emirimu gy’emikono gyo?+ 7 Ng’okutegana ennyo bwe kuviirako omuntu okuloota,+ n’ebigambo ebingi nabyo butaliimu. Otyanga Katonda ow’amazima.+
8 Bw’olabanga ow’obuyinza ng’anyigiriza omwavu era ng’akola ebitali bya bwenkanya n’ebitali bya butuukirivu mu ssaza lyo, teweewuunyanga.+ Kubanga ow’obuyinza oyo wabaawo amusingako amutunuulidde, era abo bombi wabaawo ababasingako.
9 Ate era ebiva mu ttaka bonna babigabana; ne kabaka by’alya biva mu nnimiro.+
10 Omuntu ayagala ennyo ssente tayinza kumatira ssente, n’omuntu ayagala ennyo eby’obugagga tayinza kuba mumativu n’ebyo by’afuna.+ Ekyo nakyo butaliimu.+
11 Ebintu ebirungi bwe byeyongera obungi, n’ababirya beeyongera.+ Kati olwo bigasa ki nnannyini byo, okuggyako okubitunuulira obutunuulizi n’amaaso ge?+
12 Otulo tw’omuntu akolera abalala tumuwoomera, k’abe ng’alya bitono oba bingi, naye ebintu ebingi omugagga by’aba nabyo tebimuganya kwebaka.
13 Waliwo ekintu eky’ennaku kye* ndabye wansi w’enjuba: eby’obugagga ebyaterekebwa nnyini byo ne yeerumya yekka. 14 Eby’obugagga ebyo byasaanawo olw’ekizibu ekyagwawo, era omwana gw’azaala aba talina kya kumuwa ng’obusika.+
15 Ng’omuntu bwe yava mu lubuto lwa nnyina ng’ali bwereere, bw’atyo bw’aligenda.+ Tasobola kugenda na kintu na kimu ku ebyo byonna bye yateganira.+
16 Kino nakyo kikwasa ennaku:* Nga bwe yajja bw’atyo bw’aligenda; kati olwo omuntu akola ennyo naye ng’alinga agoba empewo kimugasa ki?+ 17 Ate era bulijjo tawoomerwa by’alya,* era aba munakuwavu nnyo, mulwadde, era musunguwavu.+
18 Nnalaba nga kino kye kirungi era nga kye kisaana: omuntu okunywa n’okulya n’okusanyuka olw’ebyo by’aba afubye+ okukola mu kiseera ekitono Katonda ow’amazima ky’aba amuwadde, kubanga eyo ye mpeera ye.*+ 19 Ate era Katonda ow’amazima bw’awa omuntu eby’obugagga+ era n’amusobozesa okubyeyagaliramu, omuntu oyo asaanidde akkirize empeera* emuweereddwa era asanyuke olw’ebyo by’afubye okukola. Ekyo kye kirabo ekiva eri Katonda.+ 20 Kubanga tajja na kukiraba* nti ennaku z’obulamu ziyita mangu, olw’okuba Katonda ow’amazima ajjuzza omutima gwe essanyu.+