Makko
7 Awo Abafalisaayo n’abamu ku bawandiisi abaali bavudde e Yerusaalemi ne bajja ne bakuŋŋaanira w’ali.+ 2 Ne balaba ng’abamu ku bayigirizwa be balya emmere n’engalo ezitali nnongoofu, kwe kugamba, ze batanaabye.* 3 (Kubanga Abafalisaayo n’Abayudaaya bonna tebaalyanga okuggyako nga banaabye engalo zaabwe okutuukira ddala ku nkokola, nga bagoberera obulombolombo bwa bajjajjaabwe; 4 era bwe baavanga mu katale tebaalyanga okuggyako nga bamaze kunaaba. Era waliwo n’obulombolombo obulala bungi bwe baagobereranga, gamba ng’okunnyika ebikopo, ensumbi, n’ebibya eby’ebikomo.)+ 5 Awo Abafalisaayo n’abawandiisi ne bamubuuza nti: “Lwaki abayigirizwa bo tebagoberera bulombolombo bwa bajjajjaffe naye ne balya emmere n’engalo ezitali nnongoofu?”+ 6 N’abagamba nti: “Isaaya bye yayogera ku mmwe bannanfuusi bituufu, nga bwe kyawandiikibwa nti, ‘Abantu bano banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa, naye emitima gyabwe gindi wala.+ 7 Batawaanira bwereere okunsinza, kubanga bayigiriza biragiro bya bantu.’+ 8 Muleka amateeka ga Katonda ne mugoberera obulombolombo bw’abantu.”+
9 Era n’ayongera n’abagamba nti: “Mukozesa olukujjukujju okuleka amateeka ga Katonda musobole okugoberera obulombolombo bwammwe.+ 10 Ng’ekyokulabirako, Musa yagamba nti, ‘Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa,’+ era nti, ‘Oyo avuma kitaawe oba nnyina attibwenga.’+ 11 Naye mmwe mugamba nti, ‘Omuntu bw’agamba kitaawe oba nnyina nti: “Kyonna kye nnandikuwadde okukuyamba ye kolubaani (kwe kugamba, kirabo ekiweereddwayo eri Katonda),”’ 12 era temumukkiriza kubaako kintu kyonna ky’akolera kitaawe oba nnyina.+ 13 Bwe mutyo mudibya ekigambo kya Katonda olw’obulombolombo bwe mwateekawo,+ era mukola n’ebirala bingi ebiri ng’ebyo.”+ 14 Awo n’addamu nate okuyita ekibiina ky’abantu, n’abagamba nti: “Mumpulirize mmwe mmwenna, era mutegeere amakulu g’ebigambo byange.+ 15 Tewali kintu ekiyingira mu muntu ekiyinza okumwonoona, wabula ebyo ebiva mu muntu bye bimwonoona.”+ 16 *—
17 Bwe yava awali ekibiina ky’abantu, n’ayingira mu nju, abayigirizwa be ne bamubuuza ebikwata ku kyokulabirako ekyo.+ 18 N’abagamba nti: “Nammwe temutegedde nga bo? Temumanyi nti tewaliiwo kiyingira mu muntu ekisobola okumwonoona? 19 Ky’alya tekiyita mu mutima gwe, wabula kiyita mu lubuto ne kifuluma” Mu ngeri eyo yakiraga nti eby’okulya byonna birongoofu. 20 Era n’ayongera n’abagamba nti: “Ekyo ekiva mu muntu kye kimwonoona.+ 21 Kubanga munda mu mitima gy’abantu+ mwe muva ebirowoozo ebibi; ebikolwa eby’obugwenyufu,* obubbi, obutemu, 22 obwenzi, okwegomba, ebikolwa ebibi, obulimba, obugwagwa,* eriiso ery’obuggya, okuvvoola, amalala, n’obusirusiru. 23 Ebintu ebyo byonna ebibi biva munda ne byonoona omuntu.”
24 Bwe yava awo n’agenda mu kitundu ky’e Ttuulo n’eky’e Sidoni.+ Bwe yatuuka eyo n’ayingira mu nnyumba era n’atayagala muntu yenna kukimanya. Kyokka abantu baakitegeera. 25 Amangu ago omukazi eyalina muwala we omuto eyaliko omwoyo omubi n’awulira ebyogerwa ku Yesu, era n’ajja n’avunnama mu maaso ge.+ 26 Omukazi yali Muyonaani, ng’ava mu Foyiniikiya eky’omu Busuuli; awo n’amwegayirira agobe dayimooni ku muwala we. 27 Naye n’amugamba nti: “Leka abaana bamale okukkuta, kubanga tekiba kituufu okuddira emmere y’abaana n’ogisuulira obubwa obuto.”+ 28 Omukazi n’amuddamu nti: “Kituufu ssebo, naye obubwa obuba wansi w’emmeeza bulya obukunkumuka obuva ku mmere y’abaana.” 29 Awo Yesu n’amugamba nti: “Olw’okuba oyogedde bw’otyo, genda; dayimooni evudde ku muwala wo.”+ 30 Omukazi n’agenda ewuwe n’asanga ng’omwana agalamidde ku kitanda nga dayimooni emuvuddeko.+
31 Bwe yakomawo okuva mu bitundu by’e Ttuulo, n’ayita mu Sidoni ne mu bitundu by’e Dekapoli* n’atuuka ku nnyanja y’e Ggaliraaya.+ 32 Ng’ali eyo, ne bamuleetera omusajja eyali kiggala era nga tasobola kwogera bulungi;+ ne bamwegayirira amusseeko emikono. 33 Awo n’amuggya mu bantu n’amuzza ebbali. N’ateeka engalo ze mu matu g’omusajja, era bwe yamala okuwanda amalusu n’akwata ku lulimi lwe.+ 34 N’atunula waggulu, n’assa ekikkowe n’amugamba nti: “Efasa,” ekitegeeza nti, “Zibuka.” 35 Awo amatu ge ne gazibuka+ n’olulimi lwe ne lusumulukuka n’atandika okwogera obulungi. 36 Awo n’abakuutira obutabuulirako muntu n’omu;+ naye gye yakomya okubakuutira gye baakoma okukibuulira abalala.+ 37 Baawuniikirira nnyo+ ne bagamba nti: “Byonna by’akola byewuunyisa. Asobozesa ne bakiggala okuwulira, n’abatayogera okwogera.”+