Abaruumi
9 Njogera mazima mu Kristo; sirimba, kubanga omuntu wange ow’omunda awa obujulirwa okuyitira mu mwoyo omutukuvu, 2 nti mu mutima gwange nnina ennaku nnyingi n’obulumi obutasalako. 3 Kubanga nnandyagadde waakiri nze njawulibwe ku Kristo ng’omukolimire ku lwa baganda bange, ab’eŋŋanda zange mu mubiri, 4 nga bano be Bayisirayiri Katonda be yafuula abaana be,+ abaaweebwa ekitiibwa, endagaano,+ Amateeka,+ obuweereza obutukuvu,+ n’ebisuubizo.+ 5 Be bazzukulu ba bajjajjaffe,+ era abo Kristo be yasibukamu mu mubiri.+ Katonda afuga byonna, atenderezebwe emirembe n’emirembe. Amiina.
6 Kyokka tekiri nti ekigambo kya Katonda kyalemererwa. Kubanga si bonna abava mu Isirayiri nti Bayisirayiri ddala.+ 7 Era eky’okuba nti bali zzadde lya Ibulayimu bonna tekibafuula baana,+ naye kyawandiikibwa nti: “Eririyitibwa ezzadde lyo liriyitira mu Isaaka.”+ 8 Kino kitegeeza nti abaana ba Ibulayimu ab’omubiri si be baana ba Katonda aba ddala,+ naye abaana abazaalibwa olw’ekisuubizo+ be babalibwa ng’ezzadde. 9 Kubanga Katonda yasuubiza nti: “Nja kukomawo mu kiseera nga kino omwaka ogujja era Saala ajja kuba alina omwana ow’obulenzi.”+ 10 Kyokka Saala si ye yekka eyasuubizibwa, naye ne Lebbeeka bwe yafuna olubuto olw’abalongo mu jjajjaffe Isaaka;+ 11 kubanga bwe baali nga tebannazaalibwa wadde okukola ekintu kyonna ekirungi oba ekibi, ekigendererwa kya Katonda ekikwata ku kulonda okusobola okusigala nga kyesigamye ku Oyo ayita so si ku bikolwa, 12 Lebbeeka yagambibwa nti: “Omukulu aliba muddu wa muto.”+ 13 Nga bwe kyawandiikibwa nti: “Nnayagala Yakobo naye ne nkyawa Esawu.”+
14 Kale tugambe ki? Katonda si mwenkanya? N’akatono!+ 15 Kubanga agamba Musa nti: “Nja kusaasira oyo yenna gwe nnaasaasira era nja kulaga ekisa oyo yenna gwe nnaalaga ekisa.”+ 16 N’olwekyo, okulondebwa tekwesigama ku kwagala kw’omuntu oba ku kufuba kwe,* wabula ku Katonda omusaasizi.+ 17 Kubanga mu Kyawandiikibwa Katonda agamba Falaawo nti: “Nkulese ng’okyali mulamu, nsobole okukukozesa okulaga amaanyi gange, era erinnya lyange lisobole okulangirirwa mu nsi yonna.”+ 18 N’olwekyo, gw’ayagala okusaasira gw’asaasira, naye abalala abaleka ne baba bakakanyavu.+
19 Naye ojja kuŋŋamba nti: “Lwaki akyanenya abantu?* Ani ayinza okuziyiza ky’asazeewo?” 20 Kale ggwe ani addamu Katonda?+ Ekintu ekyabumbibwa kiyinza okugamba eyakibumba nti, “Lwaki wammumba bw’oti?”+ 21 Tokimanyi nti omubumbi alina obuyinza ku bbumba?+ Nti, mu kitole kye kimu ayinza okukolamu ekibya eky’ekitiibwa n’ekitali kya kitiibwa? 22 Wadde nga Katonda yali ayagala okwoleka obusungu bwe n’okumanyisa amaanyi ge, yagumiikiriza ebibya eby’obusungu ebigwanidde okuzikirizibwa. 23 Era kino yakikola asobole okumanyisa ekitiibwa kye ekingi ennyo eri ebibya eby’okusaasirwa+ bye yateekerateekera edda ekitiibwa, 24 era ng’ebibya ebyo ye ffe be yayita, si okuva mu Bayudaaya bokka naye era n’okuva mu b’amawanga.+ 25 Era kiringa bwe yagamba mu Koseya nti: “Abatali bantu bange+ ndibayita ‘abantu bange’ n’oyo eyali tayagalibwa, ndimuyita ‘omwagalwa’;+ 26 era mu kifo gye baagambirwanga nti, ‘Temuli bantu bange,’ eyo gye baliyitibwa ‘abaana ba Katonda omulamu.’”+
27 Ate era ku bikwata ku Isirayiri, Isaaya ayogerera waggulu nti: “Wadde ng’abaana ba Isirayiri bayinza okuba abangi ng’omusenyu gw’ennyanja, walisigalawo batono nnyo abalirokolebwa.+ 28 Kubanga Yakuwa* ajja kusala omusango ku nsi, agumalirize awatali kulwa.”+ 29 Era nga Isaaya bwe yayogera edda nti: “Singa Yakuwa* ow’eggye teyatulekerawo zzadde, twandibadde nga Sodomu era twandifaananye nga Ggomola.”+
30 Kati olwo tugambe ki? Nti wadde ng’ab’amawanga baali tebafuba kunoonya butuukirivu, baatuuka ku butuukirivu,+ obutuukirivu obuva mu kukkiriza;+ 31 naye wadde nga Isirayiri yali afuba okugoberera amateeka ag’obutuukirivu, teyatuuka ku kigendererwa ky’amateeka. 32 Lwaki? Kubanga teyagagoberera nga yeesigama ku kukkiriza wabula nga yeesigama ku bikolwa. Beesittala ku “jjinja ery’esittalwako”;+ 33 nga bwe kyawandiikibwa nti: “Laba! Nteeka mu Sayuuni ejjinja+ ery’esittalwako n’olwazi oluviirako okugwa, naye oyo alwesigamyako okukkiriza kwe taliswala.”+