Ebikolwa
10 Mu Kayisaliya mwalimu omusajja ayitibwa Koluneeriyo eyali omukulu* w’ekibinja ky’abasirikale mu kibinja ekyali kiyitibwa eky’Abayitale.* 2 Ye n’ab’omu nnyumba ye bonna baali batya Katonda; yakoleranga abaavu ebintu ebirungi era yasabanga Katonda bulijjo. 3 Ku ssaawa nga mwenda+ ez’emisana yalaba malayika wa Katonda mu kwolesebwa ng’ajja gy’ali, n’amugamba nti: “Koluneeriyo!” 4 Awo Koluneeriyo n’amutunuulira ng’atidde, n’agamba nti: “Kiki Mukama wange?” N’amuddamu nti: “Okusaba kwo n’ebintu ebirungi by’okolera abaavu byambuse eri Katonda era bikkiriziddwa ng’ekijjukizo mu maaso ge.+ 5 Kale tuma abantu e Yopa bakuyitire Simooni ayitibwa Peetero. 6 Omusajja oyo yakyazibwa Simooni omuwazi w’amaliba alina ennyumba eriraanye ennyanja.” 7 Amangu ddala nga malayika eyayogera naye yaakamala okugenda, yayita abaweereza be ab’omu nnyumba babiri n’omusirikale omu eyali atya Katonda okuva mu abo abaamuweerezanga, 8 n’ababuulira buli kimu era n’abatuma e Yopa.
9 Ku lunaku olwaddako, bwe baali ku lugendo lwabwe nga banaatera okutuuka mu kibuga, Peetero n’agenda waggulu ku nnyumba ku ssaawa nga mukaaga ez’emisana okusaba. 10 Naye enjala n’emuluma nnyo n’ayagala okulya. Bwe baali bateekateeka eky’okulya, n’afuna okwolesebwa,+ 11 n’alaba eggulu nga libikkuse era ekintu ekiringa ekitambaala ekinene nga kikwatiddwa ku nsonda zaakyo ennya ne kissibwa wansi; 12 mu kyo mwalimu ensolo ez’amagulu ana eza buli ngeri, n’ebyewalula ku nsi, n’ebinyonyi eby’omu bbanga. 13 Eddoboozi ne limugamba nti: “Peetero, situka osale olye!” 14 Naye Peetero n’amugamba nti: “Nedda Mukama wange, kubanga siryangako kintu ekitali kirongoofu era ekitali kiyonjo.”+ 15 Eddoboozi ne limugamba omulundi ogw’okubiri nti: “Ebintu Katonda by’alongoosezza lekera awo okubiyita ebitali birongoofu.” 16 Eddoboozi ne liddamu omulundi ogw’okusatu, era amangu ago ekintu ekyo ne kizzibwayo mu ggulu.
17 Peetero bwe yali akyasobeddwa olw’okwolesebwa okwo era nga yeebuuza kye kutegeeza, abasajja Koluneeriyo be yatuma ne babuuza ennyumba ya Simooni w’eri era ne bayimirira ku mulyango.+ 18 Ne bayita nnannyini nnyumba ne bamubuuza obanga Simooni ayitibwa Peetero yali akyaziddwa mu kifo ekyo. 19 Peetero bwe yali akyalowooza ku kwolesebwa, omwoyo+ ne gumugamba nti: “Laba! Abasajja basatu bakunoonya. 20 Situka okke wansi ogende nabo nga tobuusabuusa, kubanga nze mbatumye.” 21 Peetero n’akka n’agenda eri abasajja n’abagamba nti: “Nzuuno gwe munoonya. Nsonga ki ebaleese?” 22 Ne bamugamba nti: “Koluneeriyo+ omukulu w’ekibinja ky’abasirikale, omusajja omutuukirivu, atya Katonda, era ayogerwako obulungi mu ggwanga ly’Abayudaaya lyonna, Katonda yamulagidde ng’ayitira mu malayika omutukuvu okukutumya ogende mu nnyumba ye awulire by’onoogamba.” 23 Awo n’abayingiza mu nju ng’abagenyi be.
Enkeera n’agenda nabo awamu n’ab’oluganda abamu okuva mu Yopa. 24 Ku lunaku olwaddirira yayingira mu Kayisaliya, era Koluneeriyo yali abasuubira, ng’ayise ab’eŋŋanda ze ne mikwano gye egy’oku lusegere. 25 Peetero bwe yali agenda okuyingira, Koluneeriyo n’amusisinkana, n’agwa ku bigere bye n’amuvunnamira. 26 Naye Peetero n’amuyimusa ng’agamba nti: “Yimuka; nange ndi muntu buntu.”+ 27 Awo n’ayingira nga bw’anyumya naye, n’asanga abantu bangi nga bakuŋŋaanye. 28 N’abagamba nti: “Mumanyi bulungi nti tekikkirizibwa mu Mateeka g’Abayudaaya Omuyudaaya okukolagana n’omuntu ow’eggwanga eddala+ oba okumusemberera; naye Katonda andaze nti sirina kutwala muntu yenna nti si mulongoofu oba nti si muyonjo.+ 29 N’olwekyo, bwe nnayitiddwa saagaanye kujja. Kale mumbuulire ensonga entumizza.”
30 Koluneeriyo n’agamba nti: “Ennaku nnya emabega, nnali mu nnyumba yange nga nsaba ku ssaawa nga mwenda; mu kiseera ekyo omusajja eyali mu lugoye olumasamasa n’ayimirira mu maaso gange 31 n’aŋŋamba nti, ‘Koluneeriyo, okusaba kwo kuwuliddwa, n’ebintu ebirungi by’okolera abaavu Katonda abijjukidde. 32 Kale tumya e Yopa bakuyitire Simooni ayitibwa Peetero. Omusajja oyo yakyazibwa mu nnyumba ya Simooni omuwazi w’amaliba, abeera okumpi n’ennyanja.’+ 33 Awo ne ndyoka nkutumya amangu ddala, era okoze bulungi okujja wano. Mu kiseera kino ffenna tuli wano mu maaso ga Katonda okuwulira ebintu byonna Yakuwa* by’akulagidde okwogera.”
34 Awo Peetero n’agamba nti: “Mazima ddala ntegedde nti Katonda tasosola,+ 35 naye mu buli ggwanga omuntu amutya n’akola ekituufu amukkiriza.+ 36 Yaweereza abaana ba Isirayiri obubaka ng’ababuulira amawulire amalungi ag’emirembe+ okuyitira mu Yesu Kristo: oyo ye Mukama w’abantu bonna.+ 37 Mumanyi ekyayogerwako mu Buyudaaya bwonna, okutandikira e Ggaliraaya+ nga Yokaana amaze okubuulira ebikwata ku kubatizibwa; 38 ekyo ekyayogerwako kikwata ku Yesu ow’e Nazaaleesi, engeri Katonda gye yamufukako omwoyo omutukuvu+ era n’amuwa amaanyi, n’agenda mu bitundu byonna ng’akola ebintu ebirungi era ng’awonya abo bonna abaali batawaanyizibwa Omulyolyomi,+ kubanga Katonda yali naye.+ 39 Tuli bajulirwa b’ebintu byonna bye yakola mu nsi y’Abayudaaya ne mu Yerusaalemi; naye baamutta nga bamuwanika ku muti. 40 Katonda yamuzuukiza ku lunaku olw’okusatu+ era n’akkiriza alabibwe, 41 si bantu bonna, wabula ffe abajulirwa Katonda be yalonda edda, abaalya era abaanywa naye ng’amaze okuzuukira mu bafu.+ 42 Ate era yatulagira okubuulira abantu n’okuwa obujulirwa mu bujjuvu+ nti oyo Katonda gwe yassaawo okuba omulamuzi w’abalamu n’abafu.+ 43 Oyo bannabbi bonna gwe baawaako obujulirwa+ nti buli muntu yenna amukkiririzaamu asonyiyibwa ebibi okuyitira mu linnya lye.”+
44 Peetero bwe yali akyayogera ku bintu ebyo, omwoyo omutukuvu ne gukka ku abo bonna abaali bawulira ekigambo.+ 45 Abakkiriza* abajja ne Peetero abaali abakomole ne beewuunya, olw’okuba ekirabo ky’omwoyo omutukuvu kyaweebwa n’ab’amawanga. 46 Kubanga baabawulira nga boogera mu nnimi ez’enjawulo era nga bagulumiza Katonda.+ Awo Peetero n’agamba nti: 47 “Waliwo ayinza okugaana abantu bano okubatizibwa n’amazzi+ nga bamaze okufuna omwoyo omutukuvu nga ffe?” 48 Awo n’alagira babatizibwe mu linnya lya Yesu Kristo.+ Ne bamusaba asigale nabo okumala ennaku.