Ebikolwa
17 Awo ne bayita mu Anfipoli ne Apoloniya ne batuuka e Ssessalonika,+ awaali ekkuŋŋaaniro ly’Abayudaaya. 2 Pawulo n’agenda gye baali munda mu kkuŋŋaaniro nga bwe yakolanga,+ n’akubaganya nabo ebirowoozo ku Byawandiikibwa+ okumala ssabbiiti ssatu ez’omuddiriŋŋanwa, 3 ng’annyonnyola era ng’akozesa obukakafu obuli mu buwandiike okulaga nti Kristo yalina okubonaabona+ n’okuzuukizibwa mu bafu,+ ng’agamba nti: “Yesu oyo gwe mbabuulira ye Kristo.” 4 N’ekyavaamu, abamu ku bo baafuuka bakkiriza ne beegatta ku Pawulo ne Siira,+ n’Abayonaani bangi abaasinzanga Katonda era n’abakazi bangi ab’ebitiibwa nabo ne babeegattako.
5 Naye Abayudaaya ne bakwatibwa obuggya,+ ne bakuŋŋaanya abantu ababi abaali bakireereese mu katale, ne bakola ekibinja ne basasamaza ekibuga. Ne balumba ennyumba ya Yasooni nga banoonya Pawulo ne Siira babatwale eri ekibinja ky’abantu. 6 Bwe bataabasangayo, ne bawalaawala Yasooni awamu n’ab’oluganda abamu ne babatwala eri abafuzi b’ekibuga, nga bwe boogerera waggulu nti: “Abasajja bano abaleeta emitawaana buli wamu batuuse ne wano,+ 7 era Yasooni abasembezza. Abasajja bano bonna bawakanya amateeka ga Kayisaali nga bagamba nti waliwo kabaka omulala, Yesu.”+ 8 Ekibiina ky’abantu n’abafuzi b’ekibuga bwe baawulira ebyo ne bakyankalana; 9 bwe baamala okusasuza Yasooni ne banne ssente ez’okweyimirirwa, ne babata ne bagenda.
10 Obudde olwali okuziba, ab’oluganda ne basindika Pawulo ne Siira e Beroya. Bwe baatuukayo, ne bagenda mu kkuŋŋaaniro ly’Abayudaaya. 11 Ab’e Beroya baalina endowooza ennuŋŋamu okusinga ab’e Ssessalonika, kubanga bakkiriza mangu ekigambo, era buli lunaku beekenneenyanga n’obwegendereza Ebyawandiikibwa okulaba obanga ebyo bye baawulira byali bituufu. 12 N’olw’ekyo, bangi ku bo baafuuka bakkiriza, n’abakazi bangi Abayonaani ab’ebitiibwa baafuuka bakkiriza awamu n’abasajja abamu. 13 Naye Abayudaaya ab’omu Ssessalonika bwe baawulira nti Pawulo yali abuulira ekigambo kya Katonda ne mu Beroya, ne bagendayo okukuma omuliro mu bantu n’okubasasamaza.+ 14 Amangu ago ab’oluganda ne basindika Pawulo ku nnyanja,+ naye Siira ne Timoseewo ne basigala. 15 Abo abaawerekera Pawulo baamutuusa mu Asene, era bwe yamala okubalagira okugamba Siira ne Timoseewo+ okujja gy’ali amangu ddala nga bwe kisoboka, ne bavaayo.
16 Pawulo bwe yali ng’abalindirira mu Asene, n’ayisibwa bubi bwe yalaba ng’ekibuga kijjudde ebifaananyi. 17 N’atandika okukubaganya ebirowoozo n’Abayudaaya mu kkuŋŋaaniro n’abalala abaali basinza Katonda. Era buli lunaku yakubaganyanga ebirowoozo n’abo abaabanga mu katale. 18 Naye abamu ku bafirosoofo Abepikuliyo n’Abasutoyiiko ne batandika okumuwakanya, era abamu ne bagamba nti: “Ono ajoboja ayagala kutugamba ki?” Ate abalala ne bagamba nti: “Alabika abuulira bikwata ku bakatonda abatali ba kuno.” Baagamba bwe batyo olw’okuba Pawulo yali abuulira amawulire amalungi agakwata ku Yesu ne ku kuzuukira.+ 19 Awo ne bamukwata ne bamutwala mu Aleyopaago, nga bagamba nti: “Oyinza okutubuulira enjigiriza eno empya gy’oyogerako? 20 Kubanga ebintu by’oyogerako tetubiwulirangako, era twagala okumanya kye bitegeeza.” 21 Abaasene bonna n’abagwira abaabeerangayo* tebaakolanga kintu kirala wabula okuwuliriza n’okwogera ku bintu ebiggya. 22 Awo Pawulo n’ayimirira wakati mu Aleyopaago+ n’agamba nti:
“Abasajja b’omu Asene, nkirabye nti mutya nnyo bakatonda* okusinga abantu abalala bonna.+ 23 Ng’ekyokulabirako, bwe mbadde nga ntambulatambula nga nneetegereza ebintu bye musinza, ndabye ekyoto ekiwandiikiddwako nti, ‘Ekyoto kya Katonda Gwe Tutamanyi.’ N’olwekyo, oyo gwe musinza kyokka nga temumumanyi gwe mbabuulira. 24 Katonda eyakola ensi n’ebintu byonna ebigirimu ye Mukama w’eggulu n’ensi,+ era tabeera mu yeekaalu zikolebwa bantu;+ 25 teyeetaaga bantu kumuweereza nga gy’obeera nti alina kye yeetaaga kyonna,+ kubanga y’awa abantu bonna obulamu,+ omukka gwe bassa, n’ebintu byonna. 26 Yakola okuva mu muntu omu+ amawanga gonna ag’abantu okubeera ku nsi yonna,+ era yabateerawo ebiseera ebigereke n’ensalo ez’ebitundu omw’okubeera,+ 27 basobole okunoonya Katonda, bamuwammante, era bamuzuule,+ wadde nga tali wala wa buli omu ku ffe. 28 Ku bw’oyo tuli balamu, tutambula, era weetuli, era ng’abamu ku bayiiya b’ebitontome mu mmwe bwe bagamba nti, ‘Naffe tuli baana be.’*
29 “N’olwekyo, okuva bwe tuli abaana ba* Katonda,+ tetusaanidde kulowooza nti Katonda alinga zzaabu, ffeeza, oba ejjinja, oba ekintu ekyole abantu kye baakola okusinziira ku magezi gaabwe.+ 30 Kyo kituufu nti Katonda yabuusa amaaso ebiseera eby’obutamanya obwo,+ naye kaakano agamba abantu yonna gye bali nti beenenye. 31 Kubanga ataddewo olunaku lw’ajja okulamulirako+ ensi mu butuukirivu ng’ayitira mu muntu gw’alonze, era awadde abantu bonna obukakafu ng’amuzuukiza mu bafu.”+
32 Bwe baawulira ng’ayogera ku kuzuukira kw’abafu, abamu ne bamujerega,+ naye abalala ne bagamba nti: “Tujja kukuwuliriza n’omulundi omulala ng’oyogera ku nsonga eno.” 33 Awo Pawulo n’ava we baali, 34 naye abantu abamu ne bamwegattako ne bafuuka bakkiriza. Mu bano mwalimu Diyonusiyo eyali omulamuzi mu kkooti y’oku Aleyopaago, n’omukyala ayitibwa Damali, n’abalala.