Ekyamateeka
3 “Awo ne tuweta ne tukwata ekkubo erigenda e Basani. Ogi kabaka wa Basani n’ajja n’abantu be bonna okulwana naffe e Edereyi.+ 2 Yakuwa n’aŋŋamba nti, ‘Tomutya kubanga ŋŋenda kumuwaayo mu mukono gwo, ye n’abantu be bonna n’ensi ye; era ojja kumukola nga bwe wakola Sikoni kabaka w’Abaamoli eyabeeranga mu Kesuboni.’ 3 Bw’atyo Yakuwa Katonda waffe n’awaayo ne Ogi kabaka wa Basani n’abantu be bonna mu mukono gwaffe, ne tugenda nga tubatta okutuusa lwe wataasigalawo muntu we n’omu. 4 Mu kiseera ekyo twawamba ebibuga bye byonna. Tewali kibuga na kimu kye tutaabaggyaako. Twatwala ebibuga 60, ekitundu kyonna ekya Alugobu, obwakabaka bwa Ogi mu Basani.+ 5 Ebibuga ebyo byonna byali bizimbiddwako bbugwe omuwanvu, era nga biriko enzigi ezirina ebisiba, awamu n’obubuga obulala bungi nnyo obw’omu byalo. 6 Naye twabizikiriza+ nga bwe twakola Sikoni kabaka wa Kesuboni bwe twazikiriza ebibuga byonna n’abasajja n’abakazi n’abaana.+ 7 Twatwala ensolo zonna n’omunyago gwe twaggya mu bibuga.
8 “Mu kiseera ekyo twatwala ensi ya bakabaka Abaamoli+ ababiri abaali mu kitundu kya Yoludaani, okuva ku Kiwonvu Alunoni okutuukira ddala ku Lusozi Kerumooni+ 9 (olusozi Abasidoni lwe baayitanga Siriyooni, ate Abaamoli lwe baayitanga Seniri), 10 ebibuga byonna eby’omu kitundu eky’omuseetwe ne Gireyaadi yonna ne Basani yonna okutuukira ddala e Saleka n’e Edereyi,+ ebibuga ebyali mu bwakabaka bwa Ogi mu Basani. 11 Ogi kabaka wa Basani ye yali asigaddewo ku Baleefa. Ekitanda* kye kyali kya kyuma, era kikyali mu Labba eky’Abaamoni. Obuwanvu kya mikono* mwenda ate obugazi kya mikono ena okusinziira ku kipimo ekya bulijjo. 12 Era kino kye kitundu kye twatwala mu kiseera ekyo: okuva e Aloweri+ ekiri okumpi n’Ekiwonvu Alunoni, n’ekimu kya kubiri eky’ekitundu ky’e Gireyaadi eky’ensozi, era ebibuga byakyo mbiwadde Abalewubeeni n’Abagaadi.+ 13 Ekitundu kya Gireyaadi ekyasigalawo era ne Basani yonna, obwakabaka bwa Ogi, mbiwadde ekitundu ekimu eky’okubiri eky’ekika kya Manase.+ Ekitundu kyonna ekya Alugobu eky’omu Basani kyali kimanyiddwa ng’ensi y’Abaleefa.
14 “Yayiri+ mutabani wa Manase yatwala ekitundu kyonna ekya Alugobu+ okutuukira ddala ku nsalo y’Abagesuli n’Abamaakasi,+ era ebyalo ebyo eby’omu Basani yabituuma Kavosu-yayiri*+ ng’abibbula mu linnya lye, era bikyayitibwa bityo n’okutuusa leero. 15 Makiri+ mmuwadde Gireyaadi. 16 Ate Abalewubeeni n’Abagaadi+ mbawadde okuva e Gireyaadi okutuuka ku Kiwonvu Alunoni, nga mu makkati g’ekiwonvu ye nsalo, era n’okutuukira ddala ku Kiwonvu Yabboki, ensalo y’Abaamoni; 17 ne Alaba ne Yoludaani n’ensalo, okuva ku Kinneresi okutuuka ku Nnyanja y’omu Alaba, Ennyanja ey’Omunnyo,* wansi wa Pisuga ku luuyi olw’ebuvanjuba.+
18 “Mu kiseera ekyo nnabalagira nti: ‘Yakuwa Katonda wammwe abawadde ensi eno mugitwale ebeere yammwe. Abasajja bammwe bonna abazira bajja kukwata eby’okulwanyisa basomoke mu maaso ga baganda bammwe Abayisirayiri.+ 19 Naye bakazi bammwe n’abaana bammwe n’ensolo zammwe (nkimanyi nti mulina ensolo nnyingi) bye bijja okusigala mu bibuga bye mbawadde, 20 okutuusa Yakuwa lw’anaawa baganda bammwe ekiwummulo nga nammwe bw’akibawadde, era okutuusa nabo lwe banaatwala ensi Yakuwa Katonda wammwe gy’anaabawa emitala wa Yoludaani. Oluvannyuma mujja kudda buli omu ku butaka bwe bwe mbawadde.’+
21 “Mu kiseera ekyo nnalagira Yoswa+ nti: ‘Amaaso go galabye ebyo byonna Yakuwa Katonda wammwe by’akoze bakabaka bano ababiri. Bw’atyo Yakuwa bw’ajja okukola obwakabaka bwonna gye munaasomoka okugenda.+ 22 Temubatya kubanga Yakuwa Katonda wammwe y’abalwanirira.’+
23 “Mu kiseera ekyo nneegayirira Yakuwa ankwatirwe ekisa nga ŋŋamba nti, 24 ‘Ai Yakuwa Mukama Afuga Byonna, otandise okulaga omuweereza wo obuyinza bwo n’omukono gwo ogw’amaanyi;+ eriyo katonda mu ggulu oba ku nsi akola ebikolwa eby’amaanyi nga ggwe by’okola?+ 25 Nkwegayiridde, nzikiriza nsomoke ndabe ensi ennungi eri emitala wa Yoludaani, ekitundu ekyo ekirungi eky’ensozi ne Lebanooni.’+ 26 Naye Yakuwa yali akyansunguwalidde olw’okubeera mmwe+ era teyampuliriza; era Yakuwa yaŋŋamba nti, ‘Ekyo kimala! Toddangamu okwogera nange ku nsonga eyo. 27 Yambuka ku ntikko ya Pisuga+ otunule ebugwanjuba n’ebukiikakkono n’ebukiikaddyo n’ebuvanjuba olabe ensi n’amaaso go, kubanga tojja kusomoka Yoludaani ono.+ 28 Fuula Yoswa omukulembeze,+ omuzzeemu amaanyi era omugumye, kubanga y’agenda okukulemberamu abantu bano okusomoka,+ era y’agenda okubakulemberamu okutwala ensi eyo gy’ogenda okulaba.’ 29 Bino byonna byaliwo nga tuli mu kiwonvu ekiri mu maaso ga Besu-pyoli.+