Luusi
4 Awo Bowaazi n’agenda ku mulyango gw’ekibuga+ n’atuula eyo. Era laba! omununuzi Bowaazi gwe yali ayogeddeko+ yali ayitawo. Awo Bowaazi n’amugamba nti: “Gundi, kyama otuuleko wano.” N’akyama n’atuula. 2 Bowaazi n’ayita abakadde kkumi ab’omu kibuga+ n’abagamba nti: “Mutuule wano.” Bwe batyo ne batuula.
3 Awo n’agamba omununuzi oyo+ nti: “Nawomi eyadda okuva mu nsi ya Mowaabu+ atunda ekibanja ekyali ekya muganda waffe Erimereki.+ 4 Mbadde njagala okukutegeeza nti, ‘Kigulire mu maaso g’abantu ne mu maaso g’abakadde b’abantu bange.+ Bw’oba ng’onookinunula, kinunule; bw’oba nga tookinunule, mbuulira nkimanye, kubanga ggwe olina obuyinza obusooka obw’okukinunula nze ne nkuddirira.’” Awo n’agamba nti: “Nja kukinunula.”+ 5 Bowaazi n’amugamba nti: “Ku lunaku lw’onookigula ku Nawomi, era ojja kuba okiguze ne ku Luusi Omumowaabu nnamwandu w’omusajja eyafa, erinnya ly’omugenzi lisobole okuzzibwawo mu busika bwe.”+ 6 Awo omununuzi n’agamba nti: “Sijja kukinunula nneme okwonoona obusika bwange. Obuyinza mbukulekedde; ggwe kinunule kubanga nze sijja kukinunula.”
7 Edda mu Isirayiri eno ye yabanga empisa ku bikwata ku kununula n’okuwanyisiganya ebintu, okusobola okukakasa ekyo ekyabanga kikoleddwa: Omusajja yalinanga okuggyamu engatto ye+ n’agiwa munne; era mu Isirayiri eyo ye ngeri gye baakakasangamu endagaano eyabanga ekoleddwa. 8 Omununuzi bwe yagamba Bowaazi nti: “Ggwe kigule,” n’aggyamu engatto ye. 9 Bowaazi n’agamba abakadde n’abantu bonna nti: “Muli bajulizi+ olwa leero nti nguze ku Nawomi ebyo byonna ebyali ebya Erimereki ne Kiriyoni ne Maloni. 10 Ne Luusi Omumowaabu eyali muka Maloni naye mmututte abeere mukazi wange okusobola okuzzaawo erinnya ly’omugenzi mu busika bwe,+ erinnya ly’omugenzi lireme kusaanawo mu baganda be ne mu mulyango gw’ekibuga ky’ewaabwe. Muli bajulizi leero.”+
11 Awo abantu bonna abaali ku mulyango gw’ekibuga era n’abakadde ne bagamba nti: “Tuli bajulizi! Yakuwa awe omukisa omukazi ajja mu nnyumba yo, abeere nga Laakeeri ne Leeya, bannakazadde b’ennyumba ya Isirayiri.+ K’oyitimuke mu Efulaasa+ era okole erinnya eddungi* mu Besirekemu.+ 12 Ennyumba yo eneeva mu zzadde Yakuwa ly’anaakuwa mu mukazi ono+ k’ebeere ng’ennyumba ya Pereezi,+ Tamali gwe yazaalira Yuda.”
13 Awo Bowaazi n’atwala Luusi n’aba mukazi we, ne yeegatta naye. Yakuwa n’asobozesa Luusi okufuna olubuto, n’azaala omwana ow’obulenzi. 14 Abakazi ne bagamba Nawomi nti: “Yakuwa atenderezebwe, atalemye kukuwa mununuzi leero; erinnya lye ka lirangirirwe mu Isirayiri! 15 Muka mwana wo akwagala ennyo,+ era akusingira abaana ab’obulenzi omusanvu, azadde omwana; omwana oyo azzizzaawo obulamu bwo era ajja kukulabirira mu bukadde bwo.” 16 Nawomi n’asitula omwana n’amuteeka mu kifuba kye, era n’amulabiriranga.* 17 Awo abakazi ab’oku muliraano ne bamutuuma erinnya. Baagamba nti: “Nawomi bamuzaalidde omwana ow’obulenzi.” Omwana ne bamutuuma Obedi.+ Ye kitaawe wa Yese,+ taata wa Dawudi.
18 Luno lwe lunyiriri lwa* Pereezi:+ Pereezi yazaala Kezulooni;+ 19 Kezulooni n’azaala Laamu; Laamu n’azaala Amminadaabu;+ 20 Amminadaabu+ n’azaala Nakusoni; Nakusoni n’azaala Salumooni; 21 Salumooni n’azaala Bowaazi; Bowaazi n’azaala Obedi; 22 Obedi n’azaala Yese;+ Yese n’azaala Dawudi.+