Omubuulizi
8 Ani alinga omuntu ow’amagezi? Ani amanyi engeri y’okugonjoolamu ekizibu? Amagezi galabisa bulungi omuntu mu maaso, era n’entunula ye embi erongooka.
2 Ŋŋamba nti: “Gondera ebiragiro bya kabaka+ olw’ekirayiro ekyalayirwa mu maaso ga Katonda.+ 3 Toyanguyirizanga kuva mu maaso ge.+ Teweenyigiranga mu kintu kibi;+ kubanga asobola okukola kyonna ky’ayagala, 4 era ekigambo kya kabaka kiba kya nkomeredde;+ ani ayinza okumubuuza nti, ‘Okola ki?’”
5 Oyo akwata ebiragiro tajja kutuukibwako kabi,+ era ow’omutima ogw’amagezi ajja kumanya ekiseera ekituufu n’enkola entuufu.+ 6 Wadde ng’abantu balina ebibatawaanya bingi, buli kintu kirina ekiseera kyakyo n’engeri gye kikolebwamu.+ 7 Okuva bwe kiri nti tewali amanyi kinaabaawo, olwo ani ayinza okumubuulira engeri gye kinaabaawo?
8 Nga bwe watali muntu alina buyinza ku mwoyo* oba asobola kuguziyiza, n’olunaku lw’okufa tewali alulinako buyinza.+ Ng’omusirikale bw’atakkirizibwa kuva mu lutalo, n’ebikolwa ebibi tebisobola kukkiriza abo ababikola okubireka.*
9 Ebyo byonna mbirabye, era omutima gwange ne gulowooza ku ebyo byonna ebikoleddwa wansi w’enjuba, mu kiseera omuntu w’abeeredde n’obuyinza ku munne n’amuyisa bubi.*+ 10 Ababi abaayingiranga era ne bafuluma mu kifo ekitukuvu, nnabalaba nga baziikibwa, naye mangu ddala beerabirwa mu kibuga mwe baakoleranga ebibi.+ Ekyo nakyo butaliimu.
11 Olw’okuba abantu abakola ebibi tebabonerezebwa mangu,+ omutima gw’omuntu kyeguva gumalirira okukola ebintu ebibi.+ 12 Omwonoonyi ne bw’akola ebibi emirundi kikumi era n’awangaala nnyo, nkimanyi nti abo abatya Katonda ow’amazima binaabagenderanga bulungi, olw’okuba bamutya.+ 13 Naye omubi tebijja kumugendera bulungi+ era tajja kwongera ku nnaku ze eziringa ekisiikirize,+ olw’okuba tatya Katonda.
14 Waliwo ekintu ekimalamu amaanyi ekibaawo ku nsi: Abatuukirivu okuyisibwa ng’abakozi b’ebibi,+ n’ababi okuyisibwa ng’abakola eby’obutuukirivu.+ Ŋŋamba nti ekyo nakyo butaliimu.
15 N’olwekyo nnasemba eky’okusanyuka,+ kubanga eri omuntu teri kisinga kulya, kunywa, na kusanyuka; ebyo binaabangawo mu kutegana kwe mu kiseera ky’obulamu+ Katonda ow’amazima bwe yamuwa wansi w’enjuba.
16 Nnamalirira okufuna amagezi n’okulaba byonna ebikolebwa ku nsi,+ nga n’okwebaka seebaka emisana n’ekiro.* 17 Nnalowooza ku byonna Katonda ow’amazima by’akola, ne nkiraba nti omuntu tasobola kutegeera bikolebwa wansi w’enjuba.+ Abantu ne bwe bagezaako batya, tebayinza kubitegeera. Ne bwe bagamba nti basobola okubimanya olw’okuba bagezi nnyo, tebasobola kubitegeera.+