Abebbulaniya
1 Edda ennyo Katonda yayogeranga ne bajjajjaffe emirundi mingi era mu ngeri nnyingi, ng’ayitira mu bannabbi.+ 2 Mu kiseera kino* ayogedde gye tuli ng’ayitira mu Mwana we+ gwe yalonda okuba omusika w’ebintu byonna,+ era mu ye mwe yayitira okukola ebintu byonna.*+ 3 Oyo y’ayoleka ekitiibwa kya Katonda,+ era ye kye kifaananyi kye kyennyini,+ era abeesaawo ebintu byonna okuyitira mu kigambo ky’amaanyi ge. Bwe yamala okutunaazaako ebibi+ n’atuula ku mukono ogwa ddyo ogw’Ow’Ekitiibwa mu ggulu.+ 4 N’olwekyo, afuuse mukulu okusinga bamalayika+ okuva bw’afunye* erinnya erisinga agaabwe.+
5 Ng’ekyokulabirako, malayika ki Katonda ggwe yali agambye nti: “Oli mwana wange;+ olwa leero nfuuse kitaawo”? Era nti: “Ndiba kitaawe, era naye aliba mwana wange”?+ 6 Naye ayogera bw’ati ku kiseera lw’aliddamu okuleeta Omubereberye+ we ku nsi: “Era bamalayika ba Katonda bonna ka bamuvunnamire.”
7 Era ayogera bw’ati ku bamalayika: “Bamalayika be abafuula myoyo, n’abaweereza be+ abafuula nnimi za muliro.”+ 8 Kyokka bw’aba ayogera ku Mwana we agamba bw’ati: “Katonda ye ntebe yo ey’obwakabaka+ emirembe n’emirembe, era ddamula y’Obwakabaka bwo ya bwenkanya. 9 Wayagala obutuukirivu n’okyawa obujeemu. Eyo ye nsonga lwaki Katonda, Katonda wo, yakufukako amafuta+ ag’okusanyuka okusinga banno.”+ 10 Era nti: “Ggwe ai Mukama, ku lubereberye wassaawo emisingi gy’ensi, n’eggulu nalyo mulimu gwa mikono gyo. 11 Birisaanawo naye ggwe olisigalawo; byonna birikaddiwa ng’olugoye, 12 olibizingako ng’olugoye; birikyusibwa ng’ekyambalo. Naye ggwe tokyuka, era emyaka gyo tegirikoma.”+
13 Naye ani ku bamalayika gwe yali agambye nti: “Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo okutuusa lwe ndifuula abalabe bo ng’entebe y’ebigere byo”?+ 14 Bonna si myoyo egiweereza mu buweereza obutukuvu,+ egitumibwa okuweereza abo abagenda okusikira obulokozi?