Matayo
17 Oluvannyuma lw’ennaku mukaaga, Yesu yatwala Peetero, Yakobo ne muganda we Yokaana, n’abambusa ku lusozi oluwanvu ne babeera eyo bokka.+ 2 Awo n’afuusibwa nga balaba; n’ayakaayakana mu maaso ng’enjuba, ebyambalo bye eby’okungulu ne byakaayakana* ng’ekitangaala.+ 3 Era laba! Musa ne Eriya ne babalabikira nga banyumya ne Yesu. 4 Amangu ago Peetero n’agamba Yesu nti: “Mukama wange, kirungi ffe okubeera wano. Bw’oba oyagala, nja kusimba wano weema ssatu, ng’emu yiyo, endala nga ya Musa, ate endala nga ya Eriya.” 5 Bwe yali ng’akyayogera, laba! ekire ekimasamasa ne kijja ne kibasiikiriza, era eddoboozi ne liva mu kire ne ligamba nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa, gwe nsiima.+ Mumuwulire.”+ 6 Abayigirizwa bwe baawulira ekyo ne batya nnyo ne beeyala wansi. 7 Yesu n’abasemberera, n’abakwatako, n’abagamba nti: “Temutya, muyimuke.” 8 Bwe baayimusa amaaso gaabwe, ne batalaba muntu n’omu okuggyako Yesu. 9 Era bwe baali bava ku lusozi, Yesu n’abagamba nti: “Temubaako yenna gwe mubuulira ku kwolesebwa kuno okutuusa Omwana w’omuntu lw’alizuukira mu bafu.”+
10 Awo abayigirizwa be ne bamubuuza nti: “Lwaki abawandiisi bagamba nti Eriya y’alina okusooka okujja?”+ 11 N’abaddamu nti: “Mazima ddala, Eriya ajja era ajja kuzzaawo ebintu byonna.+ 12 Naye mbagamba nti Eriya yajja dda naye tebaamutegeera era baamukola byonna bye baayagala.+ N’Omwana w’omuntu bw’atyo bw’ajja okubonyaabonyezebwa.”+ 13 Abayigirizwa ne bakitegeera nti yali ayogera ku Yokaana Omubatiza.
14 Bwe baatuuka awali ekibiina ky’abantu,+ omusajja n’ajja w’ali n’afukamira wansi n’amugamba nti: 15 “Mukama wange, saasira omwana wange kubanga agwa ensimbu era ali mu mbeera mbi nnyo. Atera okugwa mu muliro ne mu mazzi.+ 16 Nnamuleese eri abayigirizwa bo naye ne batasobola kumuwonya.” 17 Yesu n’abagamba nti: “Mmwe ab’omulembe guno ogutalina kukkiriza era ogwakyama,+ ndibeera nammwe kutuusa ddi? Ndimala nammwe kiseera kyenkana wa nga mbagumiikiriza? Mumundeetere.” 18 Awo Yesu n’aboggolera dayimooni n’emuvaako, era omulenzi n’awona mu kiseera ekyo.+ 19 Awo abayigirizwa ne bajja eri Yesu nga bali bokka ne bamubuuza nti: “Lwaki twalemereddwa okugigoba?” 20 N’abagamba nti: “Kubanga okukkiriza kwammwe kutono. Mazima mbagamba nti singa muba n’okukkiriza okwenkana akaweke ka kalidaali, mujja kugamba olusozi luno nti, ‘Va wano odde wali,’ era lujja kuvaawo, era tewali kijja kubalema.”+ 21 *—
22 Bwe baali e Ggaliraaya, Yesu n’abagamba nti: “Omwana w’omuntu agenda kuliibwamu olukwe aweebweyo mu mikono gy’abantu,+ 23 era bamutte, naye ku lunaku olw’okusatu azuukizibwe.”+ Ne banakuwala nnyo.
24 Bwe baatuuka e Kaperunawumu, abasajja abaali basolooza omusolo gwa yeekaalu* ne batuukirira Peetero ne bamubuuza nti: “Omuyigiriza wammwe asasula omusolo gwa yeekaalu?”+ 25 N’abaddamu nti: “Asasula.” Naye bwe yayingira mu nnyumba, Yesu n’amwesooka n’amubuuza nti: “Olowooza otya Simooni? Bakabaka b’ensi empooza oba omusolo babiggya ku baani? Ku baana baabwe oba ku bantu abalala?” 26 Bwe yagamba nti: “Ku bantu abalala,” Yesu n’amugamba nti: “Bwe kiba bwe kityo, abaana tebasasula musolo. 27 Naye olw’obutabeesittaza,+ genda ku nnyanja osuule eddobo, era ekyennyanja ky’onoosooka okukwasa, bw’onooyasamya akamwa kaakyo ojja kusangamu ssente eya ffeeza.* Ojja kugitwala ogibawe osasulire nze naawe.”