Eby’Abaleevi
19 Yakuwa era n’ayogera ne Musa n’amugamba nti: 2 “Yogera n’ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri obagambe nti, ‘Mubenga batukuvu kubanga nze Yakuwa Katonda wammwe ndi mutukuvu.+
3 “‘Buli omu ku mmwe assengamu nnyina ne kitaawe ekitiibwa*+ era mukwatenga ssabbiiti zange.+ Nze Yakuwa Katonda wammwe. 4 Temukyukanga ne mudda eri bakatonda abatalina mugaso,+ era temwekoleranga bakatonda ab’ebyuma.+ Nze Yakuwa Katonda wammwe.
5 “‘Bwe munaawangayo ssaddaaka ey’emirembe eri Yakuwa,+ munaagiwangayo mu ngeri eneebasobozesa okusiimibwa Katonda.+ 6 Eneeriibwanga ku lunaku lwennyini lwe munaagiwangayo ne ku lunaddirira, naye ekinaabanga kisigaddewo okutuusa ku lunaku olw’okusatu kinaayokebwanga mu muliro.+ 7 Bwe kinaaliibwanga ku lunaku olw’okusatu, kinaabanga kya muzizo era tekikkirizibwenga. 8 Oyo anaakiryangako anaabonerezebwanga, kubanga ajja kuba ajolonze ekintu kya Yakuwa ekitukuvu, era annattibwanga.
9 “‘Bwe munaakungulanga ebirime by’omu nsi yammwe, temukungulanga byonna ebiri ku nsalosalo z’ennimiro zammwe, era temulondereranga ebiba bisigalidde nga mumaze okukungula.+ 10 Ate era temukuŋŋaanyanga ebibala by’ezzabbibu ebisigaddewo mu nnimiro zammwe ez’emizabbibu era temulondereranga ebibala by’ezzabbibu ebikunkumuse mu nnimiro zammwe ez’emizabbibu. Mubirekeranga abaavu*+ n’abagwira. Nze Yakuwa Katonda wammwe.
11 “‘Temubbanga+ era temulimbanga,+ era tewabangawo n’omu akuusakuusa munne. 12 Temulayiranga bya bulimba mu linnya lyange+ bwe mutyo ne muvvoola erinnya lya Katonda wammwe. Nze Yakuwa. 13 Tokumpanyanga munno,+ era tonyaganga.+ Empeera y’omupakasi togiremeranga ekiro kyonna okutuusa enkeera.+
14 “‘Tokolimiranga kiggala wadde okuteeka enkonge mu maaso ga muzibe,+ era otyanga Katonda wo. Nze Yakuwa.+
15 “‘Temusalanga musango mu ngeri etali ya bwenkanya. Teweekubiiranga ku ludda lw’omwavu oba olw’omugagga.+ Olamulanga munno mu bwenkanya.
16 “‘Togendanga ng’owaayiriza abalala mu bantu bo.+ Tossanga obulamu* bwa munno mu kabi.*+ Nze Yakuwa.
17 “‘Tokyawanga muganda wo mu mutima gwo.+ Onenyanga munno,+ oleme okubaako ekibi nga ye.
18 “‘Towooleranga ggwanga+ wadde okusibira abaana b’abantu bo ekiruyi; era oyagalanga munno nga bwe weeyagala.+ Nze Yakuwa.
19 “‘Mukwatenga ebiragiro byange: Temuwakisanga nsolo zammwe ez’awaka ez’ebika ebibiri eby’enjawulo. Temusiganga mu nnimiro zammwe ensigo ez’ebika ebibiri ebitafaanagana,+ era temwambalanga byambalo ebirukiddwa mu wuzi ez’ebika ebibiri eby’enjawulo.+
20 “‘Omusajja bwe yeegattanga n’omuzaana eyalagaana okufumbiriganwa n’omusajja omulala era ng’omuzaana oyo tanunulwanga era nga taweebwanga ddembe, babonerezebwanga. Naye tebattibwanga kubanga omuzaana oyo yali tannaweebwa ddembe. 21 Omusajja oyo anaatwalanga eri Yakuwa ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu endiga ennume ey’ekiweebwayo olw’omusango.+ 22 Kabona anaamutangiriranga n’endiga ennume ey’ekiweebwayo olw’omusango mu maaso ga Yakuwa olw’ekibi ky’akoze, era anaasonyiyibwanga ekibi ky’akoze.
23 “‘Bwe mutuukanga mu nsi ne musimba emiti gy’ebibala egya buli ngeri, ebibala byagyo mubitwalanga okuba ebitali birongoofu era ebitakkirizibwa. Temukkirizibwa kubiryako okumala emyaka esatu. 24 Naye mu mwaka ogw’okuna, ebibala byagyo byonna binaabanga bitukuvu, era kinaabanga kiseera kya kusanyuka mu maaso ga Yakuwa.+ 25 Mu mwaka ogw’okutaano munaalyanga ku bibala byagyo era gijja kubala nnyo. Nze Yakuwa Katonda wammwe.
26 “‘Temulyanga kintu kyonna ekirimu omusaayi.+
“‘Temukolanga bya bulaguzi,* era temukolanga bya bufuusa.+
27 “‘Temusalangako kakoba wammwe era temusalanga ku birevu byammwe.*+
28 “‘Temwesalanga misale ku mibiri gyammwe olw’omuntu afudde,+ era temweyolangako bifaananyi. Nze Yakuwa.
29 “‘Toweebuulanga muwala wo ng’omufuula malaaya,+ ensi ereme okwenda n’okujjula empisa ez’obugwenyufu.+
30 “‘Mukwatenga ssabbiiti zange+ era ekifo kyange ekitukuvu mukiwenga ekitiibwa.* Nze Yakuwa.
31 “‘Togendanga mu basamize,+ era teweebuuzanga ku balaguzi+ n’ofuuka atali mulongoofu. Nze Yakuwa Katonda wammwe.
32 “‘Oyimukanga mu maaso g’ow’envi,+ era akaddiye omussangamu ekitiibwa+ era otyanga Katonda wo.+ Nze Yakuwa.
33 “‘Bwe wabangawo omugwira abeera nammwe mu nsi yammwe, temumuyisanga bubi.+ 34 Omugwira abeera nammwe anaabanga ng’enzaalwa mu mmwe;+ era mumwagalanga nga bwe mweyagala, kubanga nammwe mwali bagwira mu nsi ya Misiri.+ Nze Yakuwa Katonda wammwe.
35 “‘Temukozesanga bipimo bitali bituufu okupima obuwanvu bw’ebintu, obuzito bw’ebintu, n’obungi bw’ebintu.+ 36 Mukozesanga minzaani entuufu, amayinja ag’okupimisa amatuufu, efa* entuufu ne yini* entuufu.+ Nze Yakuwa Katonda wammwe eyabaggya mu nsi ya Misiri. 37 Kale mukwatenga amateeka gange gonna n’ebiragiro byange.+ Nze Yakuwa.’”