2 Abassessalonika
2 Naye ab’oluganda, ku bikwata ku kubeerawo kwa Mukama waffe Yesu Kristo+ ne ku kukuŋŋaanyizibwa kwaffe gy’ali,+ tubasaba 2 obutaleka ndowooza yammwe kutabulwatabulwa mangu, n’obutacamuukirira lwa kigambo ekiruŋŋamiziddwa*+ oba obubaka obuli mu bigambo, oba ebbaluwa eyinza okulabika ng’evudde gye tuli, nga mutegeezebwa nti olunaku lwa Yakuwa*+ lutuuse.
3 Tewabangawo omuntu n’omu abawabya* mu ngeri yonna, kubanga terulijja okutuusa ng’obwewagguzi+ bumaze okubaawo era nga n’omujeemu,+ omwana ow’okuzikirizibwa, amaze okulabika.+ 4 Alwanyisa era yeeguluumiriza ku buli ayitibwa “katonda” ne ku buli kintu kyonna ekisinzibwa, era ekivaamu, atuula mu yeekaalu ya Katonda ne yeeraga mu lujjudde okuba katonda. 5 Temujjukira nti bwe nnali nkyali nammwe nnababuuliranga ebintu bino?
6 Era kaakano mumanyi ekimuziyiza okulabika, okutuusa ekiseera lwe kirituuka n’alabika. 7 Kyo kituufu nti kaakano obujeemu buno obuli mu kyama weebuli bukola+ era bujja kusigala nga buli mu kyama okutuusa ng’ekiziyiza kivuddewo. 8 Olwo omujeemu ajja kulabika, Mukama waffe Yesu gw’alitta n’omwoyo gw’omu kamwa ke+ era amuzikirize n’okulabisibwa+ kw’okubeerawo kwe. 9 Naye okubeerawo kw’omujeemu kuwagirwa Sitaani+ ng’akozesa buli kikolwa eky’amaanyi, obubonero obw’obulimba, ebyamagero,+ 10 n’obutali butuukirivu era n’obulimba+ obwa buli ngeri eri abo abazikirizibwa, era nga kino kye kibonerezo kyabwe kubanga teebayagala mazima agandibalokodde. 11 Eyo ye nsonga lwaki Katonda abaleka okubuzaabuzibwa bakkirize obulimba,+ 12 bonna basalirwe omusango kubanga tebakkiriza mazima naye baasanyukira obutali butuukirivu.
13 Naye bulijjo tulina okwebaza Katonda ku lwammwe ab’oluganda Yakuwa* b’ayagala, kubanga Katonda yabalonda+ okuva ku ntandikwa musobole okufuna obulokozi. Yabatukuza+ n’omwoyo gwe olw’okuba mwakkiriza amazima. 14 Yabayitira ekyo okuyitira mu mawulire amalungi ge tubuulira, musobole okufuna ekitiibwa kya Mukama waffe Yesu Kristo.+ 15 N’olwekyo ab’oluganda, mube banywevu,+ era munywerere ku bintu bye mwayigirizibwa+ ka bibe mu bigambo oba mu bbaluwa gye twabawandiikira. 16 Ate era, Mukama waffe Yesu Kristo ne Katonda Kitaffe, eyatwagala+ n’atuwa okubudaabuda okw’olubeerera n’essuubi eddungi+ okuyitira mu kisa kye eky’ensusso, 17 ka babudaabudde emitima gyammwe era babanyweze mu buli kikolwa ekirungi ne mu buli kigambo ekirungi.