1 Abassessalonika
5 Kaakano ab’oluganda, ku bikwata ku biseera n’ebiro, tekyetaagisa kubawandiikira kintu kyonna. 2 Kubanga mukimanyi bulungi nti olunaku lwa Yakuwa*+ lugenda kujja ng’omubbi bw’ajja ekiro.+ 3 Bwe baliba bagamba nti, “Mirembe n’obutebenkevu!” olwo okuzikiriza okw’amangu ne kulyoka kubajjira+ ng’ebisa bwe bijjira omukazi ali olubuto, era tebaliwona n’akatono. 4 Naye mmwe ab’oluganda, temuli mu kizikiza ne kiba nti olunaku olwo lulibagwako bugwi ng’obudde bwe bukya ng’ababbi tebamanyi, 5 kubanga mmwenna muli baana ba kitangaala era baana ba misana.+ Tetuli ba kiro oba ba kizikiza.+
6 N’olwekyo, tuleme kwebaka ng’abalala bwe bakola,+ naye tusigale nga tutunula+ era nga tutegeera bulungi.+ 7 Kubanga abo abeebaka beebaka kiro, n’abo abatamiira batamiira kiro.+ 8 Naye ffe ab’emisana, ka tusigale nga tutegeera bulungi era twambale eky’omu kifuba eky’okukkiriza n’okwagala, n’essuubi ery’obulokozi tulyambale nga sseppeewo,+ 9 kubanga Katonda teyatulonda kwolekezebwa busungu wabula okufuna obulokozi+ okuyitira mu Mukama waffe Yesu Kristo. 10 Yatufiirira,+ ne kiba nti ka tube nga tutunula oba nga twebase,* tulibeera wamu naye.+ 11 N’olwekyo, muzziŋŋanengamu amaanyi* era muzimbaganenga,+ nga bwe mukola.
12 Ab’oluganda, kaakano tubasaba okussa ekitiibwa mu abo abakola ennyo mu mmwe era abatwala obukulembeze mu Mukama waffe era abababuulirira; 13 mubaagale nnyo era mubalage ekisa olw’omulimu gwe bakola.+ Buli muntu abeere mu mirembe ne munne.+ 14 Ab’oluganda, ate era tubakubiriza okulabulanga* abatatambula bulungi,+ okubudaabuda abennyamivu,* okuyamba abanafu, n’okugumiikiriza bonna.+ 15 Mufube okulaba nti tewali n’omu ku mmwe akola omulala ekibi olw’okuba amukoze ekibi,+ naye buli omu aluubirirenga okukolera munne ebirungi era n’okubikolera abalala bonna.+
16 Musanyukenga bulijjo.+ 17 Musabenga obutayosa.+ 18 Mwebazenga olwa buli kintu kyonna.+ Kubanga kino Katonda ky’ayagala mukole mu Kristo Yesu. 19 Temuzikiza muliro ogw’omwoyo omutukuvu.+ 20 Temunyoomanga bunnabbi.+ 21 Mwekenneenyenga ebintu byonna okukakasa nti bituufu;+ munywererenga ku kirungi. 22 Mwewalenga ebintu ebibi ebya buli ngeri.+
23 Katonda ow’emirembe abatukulize ddala. Era omwoyo gwammwe n’obulamu bwammwe n’omubiri gwammwe bikuumibwe nga tebiriiko kya kunenyezebwa era bibeere biramu bulungi mu kubeerawo kwa Mukama waffe Yesu Kristo.+ 24 Oyo abayita mwesigwa, era ajja kukikola.
25 Ab’oluganda, mutusabirenga.+
26 Mulamuse ab’oluganda bonna n’okunywegera okutukuvu.
27 Mbakuutira mu Mukama waffe nti ebbaluwa eno esomerwe ab’oluganda bonna.+
28 Ekisa eky’ensusso ekya Mukama waffe Yesu Kristo kibeere nammwe.