Makko
16 Ssabbiiti+ bwe yaggwa, Maliyamu Magudaleena, Maliyamu+ maama wa Yakobo, ne Saalome, ne bagula eby’akaloosa bagende babimusiige.+ 2 Awo ku makya ennyo ng’enjuba evuddeyo, ku lunaku olusooka mu wiiki, ne bagenda ku ntaana.+ 3 Ne beebuuzaganya nti: “Ani anaatuyiringisiza ejjinja okuliggya ku mulyango gw’entaana?” 4 Naye bwe beetegereza obulungi, ne balaba ng’ejjinja lyaggiddwawo, wadde nga lyali ddene nnyo.+ 5 Bwe baayingira mu ntaana, ne balaba omuvubuka ng’atudde ku mukono ogwa ddyo, ng’ayambadde olugoye oluwanvu olweru, ne beewuunya nnyo. 6 N’abagamba nti: “Temwewuunya.+ Mmanyi nti munoonya Yesu Omunnazaaleesi eyakomererwa ku muti. Yazuukiziddwa,+ taliiwo wano. Mulabe! Kino kye kifo we baamuteeka.+ 7 Naye mugende mutegeeze abayigirizwa be ne Peetero nti, ‘Agenze Ggaliraaya.+ Eyo gye munaamulabira nga bwe yabagamba.’”+ 8 Bwe baava mu ntaana ne badduka kubanga baali bakwatiddwa ensisi era nga bawuniikiridde. Era tebaabuulirako muntu yenna kubanga baali batidde nnyo.*+