Engero
4 Baana bange, muwulirize kitammwe by’abayigiriza;+
Musseeyo omwoyo mufune okutegeera,
2 Kubanga nja kubayigiriza ebintu ebirungi;
4 Kitange yanjigirizanga n’aŋŋamba nti: “Omutima gwo gunywererenga ku bigambo byange.+
Kwatanga ebiragiro byange, obenga mulamu.+
5 Funa amagezi, funa okutegeera.+
Teweerabiranga bigambo byange, era tobivangako.
6 Tovanga ku magezi, gajja kukukuuma.
Gaagalenga, gajja kukuwonya emitawaana.
7 Amagezi kye kintu ekisinga obukulu,+ kale funa amagezi,
Era mu byonna by’ofuna, funa n’okutegeera.+
8 Amagezi gatwale nga ga muwendo nnyo, gajja kukugulumiza.+
Gajja kukuweesa ekitiibwa olw’okuba ogaagala.+
9 Gajja kukwambaza omuge ogulabika obulungi;
Gajja kukutikkira engule ekulabisa obulungi.”
10 Mwana wange wuliriza, era kkiriza ebigambo byange,
Olyoke owangaale emyaka mingi.+
11 Nja kukuyigiriza okutambulira mu kkubo ery’amagezi;+
Nja kukukulembera mu makubo ag’obutuukirivu.+
12 Bw’onoobanga otambula, tewali kineekiikanga mu kkubo lyo;
Bw’onoddukanga, teweesittalenga.
13 Nywerera ku ebyo ebikuyigiriziddwa; tobivangako.+
Bikuumenga, kubanga bwe bulamu bwo.+
16 Kubanga tebayinza kwebaka nga tebannakola bibi.
Tebafuna tulo okuggyako nga balina gwe baleetedde okugwa.
17 Ebikolwa ebibi n’ebikolwa eby’obukambwe,
Biringa emmere n’omwenge gye bali.
18 Naye ekkubo ly’abatuukirivu liringa ekitangaala ekibaawo ng’obudde bwakakya
Ekigenda kyeyongerayongera okutuusa obudde lwe butangaalira ddala.+
19 Ekkubo ly’ababi liringa ekizikiza;
Tebamanya kibaleetera kwesittala.
20 Mwana wange, ssaayo omwoyo ku bigambo byange;
Wuliriza bulungi* bye njogera.
21 Tobyerabiranga,
Bikuumire mu mutima gwo.+
22 Kubanga ebyo bwe bulamu eri abo ababizuula,+
Era bye bisobozesa omubiri gwabwe gwonna okuba omulamu obulungi.
24 Weesambe okwogera eby’obulimba,+
Era weewalire ddala ebigambo eby’obukuusa.
25 Amaaso go gatunulenga butereevu mu maaso.
Tomagamaganga.+
27 Toddanga ku mukono ogwa ddyo oba ogwa kkono.+
Ebigere byo biggye awali ebibi.