Eri akubiriza eby’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi. Nnabbi Nasani bwe yajja gy’ali, Dawudi bwe yali ng’amaze okwegatta ne Basuseba.+
51 Ai Katonda, nkwatirwa ekisa ng’okwagala kwo okutajjulukuka bwe kuli.+
Sangula okwonoona kwange ng’okusaasira kwo okungi bwe kuli.+
2 Nnaalizaako ddala ensobi yange,+
Nnaazaako ekibi kyange.+
3 Ebyonoono byange mbimanyi bulungi,
Era ekibi kyange kiri mu maaso gange buli kiseera.+
4 Okusingira ddala nnayonoona mu maaso go,+
Nnakola ekibi mu maaso go.+
N’olwekyo obeera mutuukirivu bw’oyogera,
Era osala omusango mu ngeri entuufu.+
5 Laba! Nnazaalibwa ndiko ekibi,
Era mu kwonoona mmange mwe yafunira olubuto lwange.+
6 Osanyukira amazima agali mu mutima;+
Yigiriza omutima gwange amagezi aga nnamaddala.
7 Nnaazaako ekibi kyange ng’okozesa ezobu, mbeere mulongoofu;+
Nnaaza mbeere mweru okusinga omuzira.+
8 Nsobozesa okuwulira amaloboozi ag’okusanyuka n’okujaguza,
Amagumba ge wabetenta gasanyuke.+
9 Totunuulira bibi byange,+
Era sangula ensobi zange zonna.+
10 Ntondaamu omutima omulongoofu, Ai Katonda,+
Era nteekaamu omwoyo omuggya,+ omunywevu.
11 Tongoba mu maaso go;
Era tonzigyaako mwoyo gwo omutukuvu.
12 Nziriza essanyu lye nnalina lwe wandokola;+
Nzisaamu omwoyo ogwagala okukugondera.
13 Nja kuyigiriza aboonoonyi amakubo go,+
Abakola ebibi basobole okudda gy’oli.
14 Ai Katonda, Katonda ow’obulokozi bwange,+ mponya omusango gw’okuyiwa omusaayi,+
Olulimi lwange lulyoke lulangirire n’essanyu obutuukirivu bwo.+
15 Ai Yakuwa, yasamya emimwa gyange,
Akamwa kange kalangirire ettendo lyo.+
16 Ssaddaaka si gy’oyagala—singa gy’oyagala nnandigikuwadde;+
Tosanyukira kiweebwayo ekyokebwa.+
17 Ssaddaaka ezisanyusa Katonda gwe mwoyo oguboneredde;
Omutima ogumenyese era oguboneredde toogugayenga,+ Ai Katonda.
18 Olw’obulungi bwo, kolera Sayuuni ebirungi;
Zimba bbugwe wa Yerusaalemi.
19 Awo lw’ojja okusanyukira ssaddaaka eziweebwayo mu butuukirivu,
Ssaddaaka ezookebwa era n’ebiweebwayo;
Awo ente ennume lwe zijja okuweebwayo ku kyoto kyo.+