Isaaya
63 Ani oyo ava mu Edomu,+
Ava mu Bozula+ ng’ayambadde ebyambalo ebya langi enkyamufu,
Ayambadde engoye ez’ekitiibwa,
Atambuza amaanyi amangi?
“Ye nze, ayogera eby’obutuukirivu,
Alina amaanyi amangi okulokola.”
2 Lwaki engoye zo mmyufu,
Era lwaki ebyambalo byo biringa eby’omuntu asambirira ezzabbibu mu ssogolero?+
3 “Nnasambirira ezzabbibu mu ssogolero* nga ndi bw’omu.
Tewali muntu yenna yali nange.
Nnabasambirira mu busungu bwange,
Era nnabalinnyirira mu kiruyi kyange.+
Omusaayi gwabwe gwasammuka ku byambalo byange,
Era engoye zange zonna zijjudde amabala.
4 Kubanga olunaku olw’okuwoolerako eggwanga luli mu mutima gwange,+
N’omwaka gwe banaanunulibwamu gutuuse.
5 Nnatunula, naye tewaali annyamba;
Nneewuunya nti tewali n’omu yannyamba.
6 Nnasambirira amawanga mu busungu bwange,
Nnabatamiiza n’ekiruyi kyange+
Ne ngiwa omusaayi gwabwe ku ttaka.”
7 Nja kwogera ku bikolwa bya Yakuwa eby’okwagala okutajjulukuka,
Ebikolwa bya Yakuwa eby’ettendo,
Olw’ebyo byonna Yakuwa by’atukoledde,+
Ebintu ebirungi ebingi by’akoledde ennyumba ya Isirayiri,
Olw’okusaasira kwe n’olw’okwagala kwe okungi okutajjulukuka.
8 Kubanga yagamba nti: “Mazima ddala bantu bange, baana abatalirema kubeera beesigwa.”+
Kyeyava abeera Omulokozi waabwe.+
9 Mu kubonaabona kwabwe kwonna yalumwanga.+
Mu kwagala kwe ne mu kusaasira kwe, yabanunula,+
N’abayimusa era n’abasitula mu nnaku zonna ez’edda.+
10 Naye baajeema+ ne banakuwaza omwoyo gwe omutukuvu.+
11 Awo ne bajjukira ennaku ez’edda,
Ennaku za Musa omuweereza we, ne bagamba nti:
“Ali ludda wa Oyo eyabayisa mu nnyanja+ nga muli wamu n’abasumba b’ekisibo kye?+
Ali ludda wa Oyo eyamussaamu omwoyo gwe omutukuvu,+
12 Oyo eyatambuliza omukono gwe ogw’ekitiibwa awamu n’omukono gwa Musa ogwa ddyo,+
Oyo eyayawulamu amazzi mu maaso gaabwe+
Asobole okwekolera erinnya ery’olubeerera,+
13 Oyo eyabayisa mu mazzi agaali geetuumye,
Ne batambula nga tebeesittadde,
Ng’embalaasi bw’etambulira ku ttale?*
14 Ng’ebisibo bwe biba nga bigenze mu lusenyi,
Omwoyo gwa Yakuwa gwabawummuza.”+
15 Tunula wansi ng’oyima mu ggulu olabe
Ng’oyima mu kifo kyo ky’obeeramu ekitukuvu era eky’ekitiibwa.*
Lwaki tokyafaayo? Lwaki tokyakozesa maanyi go?
Ekisa kyo ekyefukuta+ era n’okusaasira kwo biri ludda wa?+
Tebindagiddwa.
16 Ggwe Kitaffe;+
Wadde nga Ibulayimu ayinza obutatumanya
Era nga ne Isirayiri ayinza obutatutegeera,
Ggwe, Ai Yakuwa, ggwe Kitaffe.
Omununuzi waffe ow’edda lye linnya lyo.+
17 Ai Yakuwa, lwaki otuleka ne tuva mu makubo go?
Lwaki oleka emitima gyaffe okuguba, ne tuba nga tetukutya?+
Komawo ku lw’abaweereza bo,
Ebika by’obusika bwo.+
18 Abantu bo abatukuvu baabeera mu nsi okumala ekiseera kitono.
Abalabe baffe balinnyiridde ekifo kyo ekitukuvu.+
19 Okumala ekiseera kiwanvu tubadde ng’abo b’otofugangako,
Tubadde ng’abo abatayitibwangako linnya lyo.