Okuba Abalamu Obulungi mu Mubiri
Bayibuli si kitabo kya bya bulamu. Naye erimu amagezi agatuyamba okuba abalamu obulungi. Lowooza ku gamu ku magezi agali mu Bayibuli agasobola okutuyamba okuba abalamu obulungi.
LABIRIRA BULUNGI OMUBIRI GWO
AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Tewali muntu yali akyaye mubiri gwe, naye aguliisa era agulabirira.”—Abeefeso 5:29.
KYE KITEGEEZA: Amagezi ga Bayibuli ago gatukubiriza okukola kyonna ekisoboka okulabirira omubiri gwaffe. Okunoonyereza okumu kulaga nti endwadde nnyingi ziva ku ebyo bye tukola mu bulamu. N’olwekyo bwe tukola ebintu ebirungi kituyamba okuba n’obulamu obulungi.
BY’OSOBOLA OKUKOLA:
Emmere. Ffaayo ku ndya yo, ng’olya emmere erimu ekiriisa era ng’onywa amazzi agamala.
Kola dduyiro. Okukola dduyiro kiyamba omubiri gwo, k’obe wa myaka emeka, oba k’obe ng’oliko obulemu, oba ng’olina obulwadde obw’olukonvuba. Wadde ng’ab’eŋŋanda zo, mikwano gyo, oba abasawo basobola okukuwa amagezi okukola dduyiro, ggwe kennyini olina okufuba okulaba nti okola dduyiro!
Weebake ekimala. Bw’omala ekiseera kiwanvu nga teweebaka kimala, kisobola okukuviirako okufuna endwadde ez’amaanyi. Abantu bangi tebeebaka kimala kubanga basalawo okukola ebintu ebitali bimu mu budde mwe balina okwebakira. Naye bw’ofuba okwebaka ekimala, oba n’obulamu obulungi.
WEEWALE EMIZE EMIBI
AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Ka twenaazeeko byonna ebyonoona omubiri n’omwoyo.”—2 Abakkolinso 7:1.
KYE KITEGEEZA: Tuba n’obulamu obulungi bwe twewala okukozesa ebintu ebyonoona emibiri, gamba nga ssigala, kubanga ebintu ebyo bimanyiddwa okuba nga bivaako endwadde nnyingi.
BY’OSOBOLA OKUKOLA: Ssaawo olunaku lw’ojja okuva ku ssigala era lulambe ku kalenda yo. Ng’olunaku olwo lunaatera okutuuka, weggyeeko ssigala yenna gw’olina, ebintu by’okozesa okumukoleeza, n’ebintu ebirala byonna ebirina akakwate n’omuze ogwo. Weewale okugenda mu bifo omuli abantu abeenyigira mu mize egifaananako n’ogwo. Buulira mikwano gyo n’ab’omu maka go ku ekyo ky’osazeewo, nabo basobole okukuyamba.
AMAGEZI AMALALA AGALI MU BAYIBULI
WEEWALE EBINTU EBIVAAKO OBUBENJE.
“Bw’ozimbanga ennyumba, waggulu ku nnyumba eyo oteekangako omuziziko, oleme kuleeta ku nnyumba yo musango gwa kuyiwa musaayi singa wabaawo awanukayo n’agwa.”—EKYAMATEEKA 22:8.
FUGA OBUSUNGU.
“Omuntu alwawo okusunguwala aba mutegeevu, naye atali mugumiikiriza ayoleka obusirusiru bwe.”—ENGERO 14:29.
WEEWALE OKULYA ENNYO.
“Tobanga mu abo . . . abeevuubiika ennyama.”—ENGERO 23:20.