OLUGERO 39
Omuggo gwa Alooni Gumerako Ebimuli
LABA ebimuli n’amaloozi amengevu ebimeze ku muggo guno. Guno gwe muggo gwa Alooni. Ebimuli bino n’ebibala ebyengevu byamera ku muggo gwa Alooni mu kiro kimu kyokka! Ka tulabe lwaki.
Kaakano Abaisiraeri babadde mu ddungu okumala ekiseera. Abantu abamu tebalowooza nti Musa asaanide okubeera omukulembeze waabwe, oba nti Alooni asaanidde okubeera kabona omukulu. Koola y’omu ku balowooza bwe batyo, wamu ne Dasani, Abiraamu n’abakulembeze abalala 250. Bano bonna bajja eri Musa ne bamugamba: ‘Lwaki otwekulumbalizaako?’
Musa agamba Koola n’abagoberezi be: ‘Enkya ku makya muteeke obubaane mu byoterezo. Olwo mulyoke mujje mu weema ya Yakuwa. Tunaalaba ani Yakuwa gw’anaalonda.’
Enkeera Koola n’abagoberezi be 250 bajja mu weema. N’abalala bangi bajja okuwagira abasajja bano. Yakuwa musunguwavu nnyo. ‘Muve mu weema z’abantu bano ababi,’ ‘bw’atyo Musa bw’agamba. ‘Temukwata ku kintu kyabwe kyonna.’ Abantu bawuliriza, era ne bava mu weema ya Koola, Dasani ne Abiraamu.
Awo Musa n’agamba: ‘Ku kino kwe munaalabira oyo Yakuwa gw’alonze. Ettaka ligenda kwasama limire abasajja bano ababi.’
Amangu ddala nga Musa yaakamala okwogera ebigambo ebyo, ettaka lyasama. Weema ya Koola n’ebintu bye byonna era ne Dasani ne Abiraamu ne bonna abaali nabo bakka wansi, ettaka ne libasaanikira. Abantu bwe bawulira okukaaba kw’abo abagwa wansi mu ttaka, bawogana: ‘Mudduke! Ettaka naffe liyinza okutumira!’
Koola n’abagoberezi be 250 bakyayimiridde okumpi ne weema. N’olwekyo Yakuwa asindika omuliro, ne gubookya bonna. Awo Yakuwa n’agamba Eriyazaali mutabani wa Alooni atwale ebyoterezo by’abasajja abafudde babifuule eky’okubikka ku kyoto. Eky’okubika ku kyoto kino kijja kuba kya kulabula eri Abaisiraeri nti tewali n’omu ateekwa kukola nga kabona wa Yakuwa okuggyako Alooni ne batabani be.
Naye Yakuwa ayagala okukiragira ddala nti Alooni ne batabani be b’alonze okuba bakabona. N’olwekyo agamba Musa: ‘Gamba buli mukulu wa kika mu Isiraeri aleete omuggo gwe. Mu kika kya Leevi, gamba Alooni aleete omuggo gwe. Oluvannyuma oteeke emiggo gino gyonna mu weema mu maaso g’essanduuko ey’endagaano. Omuggo gw’omusajja gwe nnaalonda okuba kabona gujja kumerako ebimuli.’
Musa bw’atunulayo enkeera, asanga omuggo gwa Alooni nga gumezeeko ebimuli n’amaloozi amengevu! Kati otegeera lwaki Yakuwa yameza ebimuli ku muggo gwa Alooni?
Okubala 16:1-49; 17:1-11; 26:10.